bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 13
Matthew 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
1
Ku lunaku olwo Yezu yava mu nnyumba, n'agenda n'atuula ku mabbali g'ennyanja.
2
Ebibiina binene ne bimukuŋŋaanirako, ye kwe kusaabala mu lyato n'atuula omwo, ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama,
3
n'ababuulira bingi mu ngero; n'agamba nti: “Omusizi yafuluma okusiga ensigo.
4
Yali asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku kkubo, ebinyonyi by'omu bbanga ne bijja ne bizirya.
5
Endala ne zigwa ku luyinjayinja we zitaalina ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu;
6
enjuba bwe yavaayo, ne ziwotoka; olw'obutaba na mirandira, ne zikala.
7
Endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gaduuma, ne gazifuuwa.
8
Endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zissaako ebirimba: ekimu nga kirimu kikumi, ekirala nkaaga n'ekirala asatu.
9
Alina amatu awulire.”
10
Awo abayigirizwa be ne basembera w'ali, ne bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11
Ye n'ayanukula nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka obw'omu ggulu; naye bali tekyabaweebwa,
12
kubanga buli alina alyongerwako n'aba na biyitirivu; naye atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako.
13
Kyenva njogera nabo mu ngero, kubanga balaba, naye tebalaba; bawulira, naye tebawulira wadde okutegeera.
14
Yisaaya kye yalanga kituukiridde bulungi ku bo, bwe yagamba nti: “ ‘Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera; n'okulaba muliraba, naye temulyetegereza;
15
kubanga omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibuwaliddwa okuwulira, n'amaaso gaabwe bagazibirizza; baleme kulaba n'amaaso gaabwe, na kuwulira n'amatu gaabwe, baleme na kutegeera na mutima gwabwe, ne badda ne mbawonya.’
16
Naye amaaso agammwe geesiimye kubanga galaba, n'amatu gammwe kubanga gawulira.
17
Mazima mbagamba nti bangi abalanzi n'abantu abatuukirivu beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.
18
Kale nno mmwe muwulire olugero lw'omusizi:
19
“Buli awulira ekigambo ky'obwakabaka n'atakitegeera, omubi ajja n'akwakkula ekisigiddwa mu mutima gwe; oyo ye nsigo eyagwa ku kkubo.
20
Naye eyasigibwa mu luyinjayinja; y'oyo awulira ekigambo n'akikkiriza mangu n'essanyu,
21
kyokka talina mu ye mirandira, abeerawo akabanga katono; naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, yeesittala mangu.
22
Ate eyasigibwa mu maggwa, y'oyo awulira ekigambo, naye nno okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, bituga ekigambo ne kitabala.
23
Eyasigibwa mu ttaka eddungi, y'oyo awulira ekigambo n'akitegeera; oyo nno abalira ddala ebibala, n'aleeta mu kimu kikumi, ne mu kirala nkaaga, ne mu kirala amakumi asatu.”
24
N'abaleetera n'olugero olulala: n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyirizibwa omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye.
25
Abantu bwe baali beebase, omulabe we n'ajja, n'amansa zizaniya mu ŋŋano, n'agenda.
26
Eŋŋano bwe yagenda ekula, ng'essizzaako n'ebirimba, zizaniya nayo n'erabika.
27
Abaweereza ba nnannyinimu ne bajja, ne bamugamba nti: ‘Ssebo, mu nnimiro tewasigamu nsigo nnungi, ate erina etya zizaniya?’
28
Ye n'abagamba nti: ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaweereza ne bamugamba nti: ‘Oyagala tugende tugikuŋŋaanyeemu?’
29
Ye n'agamba nti: ‘Nedda; kubanga mu kukuŋŋaanyaamu zizaniya, mwandikuuliramu n'eŋŋano.
30
Muleke byombi bikulire wamu okutuusa ku makungula. Kale nno ku makungula, ndigamba abakunguzi nti: “Musooke mukuŋŋaanyeemu zizaniya, mugisibe ebinywa, egende eyokebwe; yo eŋŋano mugikuŋŋaanyize mu byagi byange.” ’ ”
31
N'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'empeke ya kaladaali, omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye.
32
Weewaawo ntono okusinga ensigo zonna, naye bw'ekula eba mpanvu okusinga emiddo gyonna, efuuka muti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bijja ne bisula mu matabi gaagwo.”
33
N'abaleetera n'olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekizimbulukusa omukazi kye yaddira n'akitabula mu bipimo by'obutta bisatu, okutuusa bwonna lwe bwazimbulukuka.”
34
Ebyo byonna Yezu yabibuulira ebibiina mu ngero; teyabagambanga kintu wabula mu ngero.
35
Omulanzi kye yayogera kituukirire nti: “Nzija kwasamya akamwa kange mu ngero; ndyatula ebyakisibwa okuva ensi lwe yabangibwawo.”
36
Awo Yezu n'asiibula ekibiina, n'ayingira mu nnyumba; abayigirizwa be ne basembera w'ali ne bamugamba nti: “Tuvvuunule olugero lwa zizaniya ey'omu nnimiro.”
37
Ye n'ayanukula n'abagamba nti: “Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'Omuntu;
38
ate ennimiro ye nsi; ensigo ennungi be baana b'obwakabaka; zizaniya be baana b'omubi;
39
omulabe asiga zizaniya ye Sitaani; amakungula ye nkomerero y'ensi; abakunguzi be bamalayika.
40
“Awo nno, nga zizaniya bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa omuliro, bwe guliba ne ku nkomerero y'ensi.
41
Omwana w'Omuntu alituma bamalayika be, ne bakuŋŋaanyaamu mu bwakabaka bwe ebyesittazo byonna n'abo bonna abakola ebibi,
42
ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.
43
Bo abatuukirivu baliyakaayakana ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.
44
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekyobugagga ekikusike mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, akikweka; ate olw'essanyu, agenda n'atunda byonna by'aba nabyo, n'agula ennimiro eyo.
45
“Era obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'omuntu omusuubuzi anoonya amalulu amalungi;
46
bw'asanga eddulu erimu ery'omuwendo omunene, agenda n'atunda byonna by'alina, n'aligula.
47
“Era obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekiragala ekisuulibwa mu nnyanja, ne kikukumbiriza ebyennyanja ebya buli ngeri.
48
Bwe kimala okujjula, ne bakisika, ne batuula ku lubalama, ne balondamu ebirungi nga babissa mu nkanga, naye ebibi ne babisuula ebbali.
49
Bwe guliba gutyo ne ku nkomerero y'emirembe; bamalayika balijja ne baawula ababi mu batuukirivu,
50
ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.
51
“Ebyo byonna mubitegedde?” Ne bamugamba nti “Yee.”
52
N'abagamba nti: “Awo nno buli muwandiisi atendekeddwa mu by'obwakabaka obw'omu ggulu afaanana nga nnannyinimu aggya mu tterekero lye ebiggya n'ebikadde.”
53
Yezu bwe yamala okusirissa engero ezo, n'ava awo;
54
n'ajja mu nsi yaboobwe, nabayigiriza mu sinaagooga zaabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Omuntu ono yaggya wa amagezi gati, n'ebikolwa bino eby'amaanyi?
55
Ono si ye mutabani w'omubazzi? Nnyina tayitibwa Mariya? Baganda be si ye Yakobo ne Yozefu, ne Simoni ne Yuda?
56
Bannyina bonna tebali kwaffe? Ebyo byonna kale yabiggya wa?”
57
Ne bamwesittalako. Naye Yezu n'abagamba nti: “Omulanzi tabulwa kitiibwa, wabula mu kyalo kyaboobwe ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
58
Eyo teyakolerayo bikolwa bya maanyi bingi olw'obutakkiriza bwabwe.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28