bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 3
Matthew 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
1
Mu nnaku ezo Yowanna Batista n'ajja ng'ayigiriza mu ddungu ly'e Buyudaaya,
2
ng'agamba nti: “Mubonerere kubanga obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”
3
Anti ono ye wuuyo eyayoogerwako Yisaaya omulanzi nti: “Eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama, muluŋŋamye obukubo bwe.’ ”
4
Kati nno Yowanna yalina ekyambalo eky'ebyoya by'eŋŋamiya n'omusipi ogw'olukoba mu kiwato kye; emmere ye yabanga nzige n'omubisi gw'enjuki ogw'oku ttale.
5
Yeruzaalemu ne Buyudaaya yenna n'ensi yonna ekoota Yorudani ne bagendanga gy'ali,
6
n'ababatiza mu mugga Yorudani nga baatula ebibi byabwe.
7
Bwe yalaba nga bangi mu Bafarisaayo ne mu Basaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'amasalambwa, ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja?
8
Kale nno mulage ebibala ebiva mu kubonerera kwammwe.
9
Temulowooza nga mwegamba nti: ‘Tulina kitaffe Yiburayimu,’ kubanga, ka mbabuulire, mu mayinja gano gennyini Katonda ayinza okuggyiramu Yiburayimu abaana.
10
Na kati embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti. Buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11
Weewaawo nze mbatiza na mazzi olw'okwenenya, naye oyo ananziririra y'ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kukwatira ngatto ze; oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu n'omuliro.
12
Olugali lwe lumuli mu ngalo, ajja okulongoosa egguuliro lye, eŋŋano ye agikuŋŋaanyize mu byagi bye, byo ebisusunku abyokye n'omuliro ogutayinza kuzikira.”
13
Awo Yezu n'ava mu Galilaaya n'agenda ku Yorudani eri Yowanna amubatize.
14
Yowanna yali amutangira, ng'agamba nti: “Nze nsaanye ggwe ombatize; ate ggwe n'ojja gye ndi?”
15
Yezu n'ayanukula n'amugamba nti: “Mala gakkiriza kati; kubanga tugwanye okutuukiriza buli butuukirivu bwonna.” Awo n'amuleka.
16
Yezu olwamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi. Awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akkirira ng'enjiibwa, n'amukkako.
17
Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe neesiimiramu.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28