bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 18
Matthew 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
1
Mu kaseera ako, abayigirizwa bajja eri Yezu, ne bagamba nti: “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?”
2
Awo Yezu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza mu makkati gaabwe,
3
n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti bwe muteefuula ne mufaanana ng'abaana abato, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.
4
Awo nno buli eyeetoowaza ng'omwana ono omuto, y'asinga obukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5
Ate era, buli ayaniriza omwana omuto ng'ono mu linnya lyange, aba ayanirizza nze.
6
“Kyokka buli eyeesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo olunene okusibibwa mu bulago bwe n'abbikibwa mu ddubi mu nnyanja.
7
Ensi zigisanze olw'ebyesittazo! Weewaawo ebyesittazo tebirema kujja, naye zimusanze oyo eyeesittaza!
8
Obanga omukono gwo gukwesittaza, yadde ekigere kyo, bitemeko, obisuule wala; waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa kikuggu, mulema, n'otosuulibwa mu muliro ogutazikira ng'olina emikono gyombi n'ebigere byombi.
9
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu olikasuke eri, waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu lukonko olw'omuliro ng'olina amaaso gombi.
10
Mwegendereze obutagayanga n'omu ku bato bano; ka mbabuulire, mu ggulu bamalayika baabwe ennaku zonna balaba amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
12
“Mmwe mulowooza mutya? Omuntu bw'abeera n'endiga ekikumi, emu ku zo n'ewaba, taleka awo ku nsozi ekyenda mu omwenda, n'agenda anoonya ebuze?
13
Ate singa agizuuula, mazima ka mbabuulire, agisanyukira okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaawaba.
14
Bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tayagalangako omu ku bato bano azikirire.
15
“Muganda wo bw'abangako ky'akusobezzaamu, genda omukomeko, nga muli bwababiri mwekka. Bw'akuwuliranga, muganda wo oliba omuzzizza.
16
Naye bw'atakuwuliranga, ddira munno omu oba babiri ogende nabo, anti buli kigambo kyonna kikakasibwa n'obujulizi bw'abajulizi babiri oba basatu.
17
Abo bw'agaana okubawulira, n'olyoka obuulira Ekleziya. N'Ekleziya bw'atagiwulira, mutwalenga ng'omukafiiri oba ng'omusolooza w'omusolo.
18
“Mazima mbagamba nti byonna bye munaasibanga ku nsi, ne mu ggulu nga bisibiddwa; era byonna bye munaasumululanga ku nsi, ne mu ggulu nga bisumuluddwa.
19
Era mazima mbagamba nti ababiri mu mmwe bwe munassanga ekimu ku nsi okusaba ekintu, Kitange ali mu ggulu agendanga kukibakolera,
20
kubanga ababiri oba abasatu we bakuŋŋaanira mu linnya lyange, nange mbeerawo mu makkati gaabwe.”
21
Awo Petero n'amusemberera, n'amugamba nti: “Mukama, muganda wange anansobyanga emirundi emeka nga musonyiwa? Kutuusa ku mirundi musanvu?”
22
Yezu n'amugamba nti: “Sikugamba nti kutuusa ku mirundi musanvu, naye kutuusa ku nsanvu emirundi musanvu.
23
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa omuntu kabaka eyayagala okutereeza ebibye n'abaweereza be.
24
Yali asoose okubawozesa, ne bamuleetera omu alina ebbanja lye lya talenta kakumi.
25
Naye kubanga yali tasobola kuzisasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we n'abaana be na byonna by'alina, alyoke asasulibwe.
26
Omuweereza n'avunnama mu maaso ge n'amugamba nti: ‘Nkwata mpola; ndikusasula byonna.’
27
Mukama w'omuweereza n'akwatibwa ekisa, n'amuta, n'amusonyiwa n'ebbanja.
28
“Naye omuweereza ye omu bwe yafuluma, n'asanga muweereza munne eyamulinako ebbanja lya dinaari kikumi. N'amukwata, n'amukka mu bulago ng'agamba nti: ‘Nsasula ebbanja’
29
Muweereza munne n'avunnama, n'amwegayirira n'agamba nti: ‘Nkwata mpola, ndikusasula.’
30
Ye n'agaana, n'agenda amuggalira mu kkomera okutuusa lw'alimusasula ebbanja.
31
“Baweereza banne bwe baalaba ekibaddewo, ne banakuwala nnyo; banne ne bajja babuulira mukama waabwe byonna ebifuddeyo.
32
Mukama we n'amuyita, n'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi! Nakusonyiye ebbanja lyonna, kubanga wanneegayiridde,
33
kale naawe obadde tolagiddwa okusaasira muweereza munno nga nze bwe nakusaasidde?’
34
Mukama we n'akalala, n'amukwasa abakuumi b'ekkomera okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lye lyonna.
35
Ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola atyo obanga buli omu tasonyiwa munne na mutima gwonna.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28