bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 20
Matthew 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
1
“Kale nno obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'omuntu ssemaka eyakeera ku makya okupakasisa abakozi bakole mu mizabbibu gye.
2
Bwe yamala okuteesa n'abakozi okubawa dinaari emu ng'olunaku luwedde, n'abasindika mu mizabbibu gye.
3
Nafuluma ate ku ssaawa eyookusatu, n'alaba abalala abayimiridde mu mbuga nga balendera bulendezi,
4
n'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu, nnaabawa kyonna ekinaaba kigwanidde.’ Ne bagenda.
5
N'afuluma era nga ku ssaawa eyoomukaga n'eyoomwenda, n'akola kye kimu.
6
N'afuluma era ku ssaawa nga kkumi n'emu, n'asangayo abalala abayimiridde, n'abagamba nti: ‘Ekibayimirizza awo omusana gwonna, nga mulendera bulendezi kiki?’
7
Ne bamugamba nti: ‘Kubanga tewali atupakasizza.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’
8
“Naye obudde bwe bwawungeera, nnannyini mizabbibu nagamba nnampala nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe ng'osookera ku bazze oluvannyuma okutuusa ku baasoose.’
9
Abajja nga ku ssaawa ey'ekkumi n'emu bwe baatuuka, ne bafuna dinaari emu buli omu.
10
Abaasooka okukola bwe baasembera, ne balowooza nga banaafuna ekisingako; naye era nabo ne bafuna dinaari emu.
11
Bwe baagifuna, ne beemulugunyiza ssemaka,
12
ne bagamba nti: ‘Ab'oluvannyuma bano abakoledde essaawa emu yokka obenkanyizza naffe abattunse n'omulimu olunaku lwonna n'olubabu lw'omusana?’
13
N'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikukoze bubi; kale tetwalagaanye naawe dinaari emu?
14
Kwako ekikyo ogende. Njagadde okuwa ono omuvannyuma nga ggwe bwe nkuwadde.
15
Ebyange sikkirizibwa kukola nabyo nga bwe njagala? Nandiki nze okubeera omulungi kye kikuleetera eriiso ebbi?’
16
Ab'oluvannyuma bwe balibeera batyo ab'olubereberye, n'ab'olubereberye ne baba ab'oluvannyuma.”
17
Yezu bwe yali ayambuka e Yeruzaalemu n'azza ebbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri bokka, ku kkubo n'abagamba nti:
18
“Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu; Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira ogw'okufa,
19
ne bamuwaayo mu b'amawanga okuduulirwa, okuswanyuulibwa, n'okukomererwa ku musaalaba; ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
20
Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja w'ali n'abaana be, n'amuvunnamira, n'abaako ky'amusaba.
21
Ye n'amugamba nti: “Oyagala ki?” N'amugamba nti: “Lagira abaana bange bano bombi batuule omu ku mukono gwo ogwa ddyo n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono mu bwakabaka bwo.”
22
Naye Yezu n'addamu nti: “Kye musaba temukimanyi. Muyinza okunywa ekikompe kye ŋŋenda okunywa?” Ne bamugamba nti: “Tuyinza”
23
N'abagamba nti: “Weewaawo, ekikompe kyange mulikinywa, naye okutuula ku mukono ogwa ddyo oba ku mukono gwange ogwa kkono okukibawa si mulimu gwange; wabula ky'abo be kyategekerwa Kitange.”
24
Ekkumi bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda abo bombi.
25
Awo Yezu n'abayita w'ali, n'agamba nti: “Mumanyi abakulembera amawanga bagalaga obuyinza, n'abakulu baabwe babafuza maanyi.
26
Sso mu mmwe si bwe kiriba; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe abeere muweereza wammwe,
27
na buli ayagala okubeera omubereberye mu mmwe, abeere muweereza wammwe.
28
N'omwana w'Omuntu bw'atyo, teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango ku lw'abangi.”
29
Bwe baafuluma e Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera.
30
Laba, bamuzibe babiri baali batudde ku kkubo, ne bawulira nga Yezu ayita, ne bakoowoola nga bagamba nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi!”
31
Ekibiina ne kibakomako basirike; naye bo ne baleekaana n'okusingawo nti: “Mukama, Omwana wa Dawudi, tusaasire!”
32
Yezu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti: “Mwagala mbakolere ki?”
33
Bo ne bagamba nti: “Mukama, amaaso gaffe gazibulwe.”
34
Yezu n'akwatibwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe; amangu ago ne baddamu okulaba, ne bamugoberera.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28