bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 7
Matthew 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
1
“Temulamulanga, muleme kulamulibwa.
2
Kubanga nga bwe mulamula, nammwe bwe munaalamulibwanga; n'ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.
3
“Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo?
4
Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga mu liryo mulimu kisiki?
5
Mukuusa ggwe, sooka weggye ekisiki mu liiso lyo, awo lw'onoolaba obulungi n'oggya akasubi mu liiso lya muganda wo.
6
“Ebitukuvu temubiwanga mbwa; n'amalulu gammwe temugasuuliranga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira n'ebigere byazo ate ne zibakyukira ne zibataagulataagula.
7
“Musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone, muliggulirwawo.
8
kubanga buli asaba afuna, buli anoonya azuula, na buli akonkona aliggulirwawo.
9
Kale ani mu mmwe awa mutabani we ejjinja ng'amusabye omugaati?
10
Obanga amusabye ekyennyanja, n'amuwa omusota?
11
Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinzaawo okuwa ebirungi ababa bamusabye?
12
“Kale nno kyonna kye mwagala abantu babakolere, nammwe kye mubanga mubakolera. Anti eryo lye Tteeka n'Abalanzi.
13
“Muyingirire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi n'ekkubo lyangu eritwala mu kuzikirira, n'abo abalikwata bangi.
14
Naye omulyango ogutwala mu bulamu gwa kanyigo, n'ekkubo erituusaayo zzibu, n'abaliggukamu batono.
15
“Mwerinde abalanzi ab'obulimba abajja gye muli mu byambalo eby'endiga, sso nga munda gye misege emikwakkuzi.
16
Ku bibala byabwe kwe mulibategeerera. Kazzi emizabbibu baginoga ku maggwa n'emikunyu ku matovu?
17
Anti omuti omulungi, gubala ebibala birungi, n'omuti omubi gubala ebibala bibi.
18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, era ng'omuti omubi bwe gutayinza kubala bibala birungi.
19
Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gukanyugwa mu muliro.
20
Bwe kityo nno, ku bibala byabwe kwe mulibategeerera.
21
“Si buli muntu aŋŋamba nti: ‘Mukama, Mukama,’ y'aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu ky'ayagala.
22
“Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama, Mukama, tetwalanganga mu linnya lyo, tetwagobanga emyoyo emibi mu linnya lyo, tetwakolanga ebikolwa eby'amaanyi bingi mu linnya lyo?’
23
Ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako n'akamu; munnyamuke mmwe abakola ebibi.’
24
“Buli awulira ebigambo byange bino n'abissa mu nkola, alifaanaanyirizibwa omuntu omugezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi;
25
enkuba yafukumuka, mukoka n'ajja, kibuyaga n'akunta, ne byebundula ku nnyumba eyo, sso n'etegwa, kubanga yali ezimbiddwa ku lwazi.
26
“Ate buli awulira ebigambo byange bino n'atabissa mu nkola, alifaanaanyirizibwa omuntu omusiru eyazimba ennyumba ye ku musenyu;
27
enkuba yafukumuka, mukoka n'ajja, kibuyaga n'akunta, ne byebundula ku nnyumba eyo, n'egwa, ate ekigwo kyayo ne kiba kinene.”
28
Yezu bwe yamala okwogera ebyo, ebibiina ne biwuniikirira olw'enjigiriza ye,
29
kubanga yali abayigiriza ng'alina obuyinza, sso si ng'abawandiisi baabwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28