bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 11
Matthew 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
1
Awo Yezu bwe yamala okukuutira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo, n'agenda okusomesa n'okuyigiriza mu bibuga byabwe.
2
Yowanna bwe yali mu kkomera, n'awulira Kristu by'akola; n'ayita mu bayigirizwa be be yatuma
3
n'amugamba nti: “Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?”
4
Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Muddeeyo mubuulire Yowanna bye muwulira ne bye mulaba:
5
Bamuzibe baddamu okulaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa n'abaavu babuulirwa amawulire amalungi.
6
Yeesiimye oyo atanneesittalako.”
7
Awo bwe baali bagenda, Yezu n'asooka okugamba abantu ku Yowanna nti: “Mwagenda mu ddungu kulaba ki? Olumuli oluyuuyuzibwa empewo?
8
Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde ebitonnya? Mbadde abayambala ebitonnya baba mu nnyumba za bakabaka.
9
Awo nno mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Weewaawo! Ka mbabuulire, n'okusinga asinga omulanzi.
10
Ye wuuyo eyawandiikibwako nti: “ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, anaakutegekera ekkubo lyo mu maaso go.’
11
Mazima, mbagamba nti mu baali bazaaliddwa abakazi temusibukangamu akira Yowanna Batista; kyokka asinga obutene mu bwakabaka obw'omu ggulu amukira.
12
Okuva mu biro bya Yowanna Batista okutuusa kati, obwakabaka obw'omu ggulu bukwasiddwa na lyanyi, era ab'eryanyi babutwala na lyanyi.
13
Anti abalanzi bonna n'Amateeka okutuusiza ddala ku Yowanna baalanganga;
14
oba mwagala okukikkiriza, oyo ye Eliya ow'okujja.
15
Alina amatu, awulire.”
16
“Naye ezzadde lino nnaaligeranya ku ki? Liri ng'abaana abato abatudde mu mbuga abalaamiriza bali abalala nga bagamba nti:
17
“ ‘Twabafuuyira endere, naye temwazina; twabakubira ebiwoobe, naye temwakaaba.’
18
Kubanga Yowanna yajja nga talya, nga tanywa, ne bagamba nti: ‘Alimu omwoyo omubi;’
19
Omwana w'Omuntu n'ajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Mulabe omuntu ono, wa mulugube, mutamiivu, mukwano gwa basolooza b'omusolo n'aboonoonyi!’ Kyokka amagezi ebikolwa byago bye bigejjeereza.”
20
Awo n'asooka okukolimira ebibuga omwakolerwa ebikolwa bye ebingi eby'amaanyi kubanga byagaana okwenenya:
21
“Zikusanze ggwe Korazini! Zikusanze ggwe Betisayida! Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, singa baabonerera dda mu bikutiya ne mu vvu.
22
Naye mbagamba nti ekirituukirira ensi ya Tiiro ne Sidoni ku lunaku olw'okulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekiribatuukirira.
23
Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumizibwa kutuuka ku ggulu? Ojja kussibwa okutuuka wansi mu magombe. Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodoma, singa kikyaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
24
Ka mbabuulire, ekirituukirira ensi y'e Sodoma ku lunaku olw'okulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekirikutuukirira.”
25
Mu kaseera ako, Yezu n'ayanukula n'agamba nti: “Taata, Omukama w'eggulu n'ensi, nkutendereza, kubanga ebyo wabikisa abagezi n'abategeevu, n'obibikkulira abato.
26
Weewaawo, Taata, bw'otyo bwe wasiima.
27
Byonna Taata yabinkwasa; tewali amanyi Mwana wabula Taata; ne Taata tewali amumanyi, wabula Mwana n'oyo Mwana gw'aba ayagadde okumumanyisaako.
28
“Mujje gye ndi mmwe mwenna abategana n'abazitoowereddwa, nzija kubawa ekiwummulo.
29
Mwetikke ekikoligo kyange era munjigireko, kubanga ndi muteefu era mwetoowaze mu mutima, olwo mulyezuulira ekiwummulo,
30
kubanga ekikoligo kyange kyangu, n'omugugu gwange muwewufu.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28