bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 22
Matthew 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 23 →
1
Awo Yezu n'addamu okwogera nabo mu ngero, n'agamba nti:
2
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa kabaka eyakolera mutabani we embaga ey'obugole,
3
n'atuma abaweereza be okunona abaayitiddwa ku mbaga, naye bo ne bagaana okujja.
4
N'atuma abaweereza abalala, n'abagamba nti: ‘Mugambe abayitiddwa nti nteeseteese embaga yange, nzise zisseddume zange ko n'ente ensava; byonna biwedde okuteekateeka; mujje ku mbaga.’
5
Naye bali ne bateefiirayo, ne beetambulira; omu n'agenda mu nnimiro ye, omulala mu byamaguzi bye;
6
abaasigalawo ne bakwata abaweereza be ne babajolonga, n'okubatta ne babatta.
7
Kabaka n'akalala n'asindika amagye ge, n'azikiriza abatemu abo, ekibuga kyabwe n'akyokya omuliro.
8
“Awo n'agamba abaweereza be nti: ‘Embaga yiino ewedde okuteekateeka, naye ababadde bayitiddwa tebasaanidde.
9
Kale nno mugende mu masaŋŋanzira muyite ku mbaga bonna be munaasanga.’
10
Abaweereza ne bagenda mu nguudo ne mu makubo ne bakuŋŋaanya bonna be baasaangiriza: ababi n'abalungi, ekisenge omwali embaga ne kijjula abagenyi.
11
Kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'asangamu omuntu atayambadde kyambalo kya mbaga;
12
n'amugamba nti: ‘Munnange, oyingidde otya muno nga tolina kyambalo kya mbaga?’ Oli n'asirika busirisi.
13
Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, eyo awaliba okukaaba n'okuluma obujiji’
14
Kubanga abayitiddwa bangi, naye abalondemu batono.”
15
Awo Abafarisaayo ne bagenda ne bateesa amagezi bamutege mu bigambo.
16
Ne bamusindikira abayigirizwa baabwe wamu n'ab'ekibiina kya Erode, nga bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, ate nga teweeguya muntu, kubanga obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira.
17
Kale tubuulire ky'olowooza: kisaanye okuwa Kayisari omusolo, nandiki tekisaanye?”
18
Yezu n'ategeera omutima gwabwe omubi, n'abagamba nti: “Bakuusa mmwe, munkemera ki?
19
Mundage dinaari ey'omusolo.” Bo ne bamuleetera dinaari.
20
N'abagamba nti: “Ekifaanaanyi kino n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?”
21
Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.” N'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisari mubiddize Kayisari, n'ebya Katonda mubiddize Katonda.”
22
Bwe baawulira ebyo ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda.
23
Ku lunaku olwo Abasaddukaayo ne bajja gy'ali, abo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti:
24
“Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Omuntu bw'afanga nga talina baana, muganda we awasanga mukazi we n'asibusiza muganda we ezzadde.’
25
Kale nno mu ffe waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa, n'afa nga tazadde mwana; mukazi we n'amulekera muganda we.
26
N'owookubiri bw'atyo, n'owookusatu, okutuusa ku woomusanvu.
27
Oluvannyuma lwa bonna n'omukazi n'afa.
28
Kale mu mazuukira ku abo omusanvu aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.”
29
Awo Yezu n'addamu nti: “Musobya obutamanya Biwandiiko n'obuyinza bwa Katonda.
30
Ndaba mu mazuukira tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, wabula baliba nga bamalayika mu ggulu.
31
Ku kuzuukira kw'abafu, temusomanga Katonda kye yabagamba nti:
32
‘Nze Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake ne Katonda wa Yakobo?’ Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu.”
33
Ekibiina bwe kyawulira, ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye.
34
Abafarisaayo bwe baawulira ng'asirisizza Abasaddukaayo ne beekuŋŋaanya.
35
Munnaabwe omu omuyigiriza w'amateeka n'amubuuza ng'amukema nti:
36
“Muyigiriza, kiragiro ki ekikulu mu Tteeka?”
37
N'amugamba nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna.
38
Ekyo kye kiragiro ekikulu era ekisooka.
39
Ekyokubiri kifaanana ng'ekyo: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’
40
Ku biragiro bino ebibiri kwe kwesigamye Etteeka lyonna n'Abalanzi.”
41
Awo Abafarisaayo ne beekuŋŋaanya. Yezu n'ababuuza
42
n'agamba nti: “Mmwe Kristu mumulowoozaako mutya? Mwana w'ani?” Ne bamugamba nti: “Wa Dawudi.”
43
Ye n'abagamba nti: “Kiri kitya nno Dawudi ku bwa Mwoyo okumuyita Mukama bw'agamba nti:
44
“ ‘Omukama yagamba Mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo” okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo’?
45
Kale, obanga Dawudi amuyita Mukama, ate abeera atya omwana we?”
46
Ne wataba muntu yaguma kumwanukula kigambo; era okuva ku olwo, tewaali n'omu aguma kumubuuza nate.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28