bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 9
Matthew 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
1
Bwe yasaabala eryato n'awunguka, n'atuuka mu kibuga kyabowo.
2
Awo ne bamuleetera omulwadde akonzibye nga bamugalamizza ku lunnyo. Yezu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba akonzibye nti: “Guma, mwana wange; ebibi byo bisonyiyiddwa.”
3
Awo abamu ku bawandiisi ne bagamba munda yaabwe nti: “Ono avuma Katonda.”
4
Yezu bwe yalaba bye balowooza, n'agamba nti: “Mulowooleza ki obubi mu mitima gyammwe?
5
Ekisinga obwangu kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo bisonyiyiddwa,’ nandiki okugamba nti: ‘Situka otambule?’
6
Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba akonzimbye nti: “Situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.”
7
N'asituka n'agenda ewaabwe.
8
Ebibiina bwe byalaba, ne bitya, ne bigulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkana awo.
9
Yezu bwe yali ayita ng'ava eyo, n'alaba omusajja ng'atudde mu ggwoolezo, erinnya lye ye Matayo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” N'asituka, n'amugoberera.
10
Bwe yali mu nnyumba ng'atudde ku lujjuliro okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja ne batuula wamu ne Yezu n'abayigirizwa be.
11
Abafarisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Omuyigiriza wammwe lwaki alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
12
Yezu bwe yawulira, n'agamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde.
13
Kale mugende muyige kino kye kitegeeza, nti: ‘Njagala kisa sso si kitambiro.’ Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
14
Abayigirizwa ba Yowanna ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Lwaki ffe n'Abafarisaayo tusiiba, sso ng'abayigirizwa bo tebasiiba?”
15
Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole bayinza okukungubaga ng'awasizza akyali nabo? Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako, olwo balisiiba.
16
Mpaawo assa kiwero kiggya ku kyambalo kikadde; kubanga ekiraka kyeyuza ku kyambalo, okuyulika ne kweyongera bweyongezi.
17
N'evviini ensu tefukibwa mu nsawo nkadde; bwe bakola batyo, ensawo tezirema kutulika, evviini n'eyiika n'ensawo ne zoonooneka. Evviini ensu efukibwa mu nsawo mpya; byombi lwe bikuumibwa obulungi.”
18
Yezu yali akyayogera nabo ebigambo ebyo, ne wajjawo omukungu, n'amuvunnamira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakakutuka; naye jjangu omusseeko omukono gwo, alamuke.”
19
Yezu n'asituka n'agenda naye wamu n'abayigirizwa be.
20
Awo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ekya ggerenge okumala emyaka kkumi n'ebiri, n'afuluma emabega, n'akwata ku mukugiro gw'ekyambalo kye,
21
kubanga yali agamba mu mwoyo gwe nti: “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye, nzija kuwona.”
22
Yezu n'akebuka, n'amulaba, n'amugamba nti: “Guma, muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Omukazi n'awona mu kaseera ako.
23
Yezu bwe yatuuka mu nnyumba y'omukungu, n'alaba abafuuwa emirere n'ekibiina nga kiyogaana, n'agamba nti:
24
“Muveewo, omuwala tafudde, yeebase bwebasi.” Ne bamusekerera.
25
Ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata omukono, omuwala n'ayimirira.
26
Amawulire ne gabuna mu nsi eyo yonna.
27
Bwe yali ayita ng'ava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga bakoowoola nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi.”
28
Bwe yatuuka eka, bamuzibe ne basembera w'ali. Yezu n'abagamba nti: “Mukkiriza nga kino nnyinza okukikola?” Bo ne bamugamba nti: “Yee, Mukama.”
29
Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kale, kibakolerwe nga bwe mukkiriza.”
30
Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yezu n'abakuutira ng'agamba nti: “Mulabe nga tewaba kino akimanyaako.”
31
Naye bo olwafuluma, ne bamulaalaasa mu nsi eyo yonna.
32
Bwe baali bafuluma, ne bamuleetera omuntu kasiru akwatiddwa omwoyo omubi.
33
Omwoyo omubi bwe gwamala okugobwamu, kasiru n'ayogera; ekibiina ne kyewuunya, abantu ne bagamba nti: “Ekifaanana kiti tekirabikangako mu Yisirayeli.”
34
Naye Abafarisaayo bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ku bwa mukulu w'emyoyo emibi.”
35
Awo Yezu ne yeetooloola ebibuga byonna n'ebyalo, ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, era ng'alangirira Evangili y'obwakabaka, era ng'awonya buli bulwadde na buli buyongobevu bwonna.
36
Naye bwe yalaba ebibiina by'abantu, ne bamukwasa ekisa, kubanga baali bakabiriddwa nga basaasaanye ng'endiga ezitaliiko musumba.
37
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Amakungula mangi, naye abakozi batono.
38
Mwegayirire nno Omukama nnannyini makungula asindike abakozi mu makungula ge.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28