bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 2
Matthew 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
1
Awo Yezu bwe yazaalibwa e Beteleemu ekya Yuda, mu mirembe gya kabaka Erode, abasajja bakalimagezi ne bava e Buvanjuba ne bajja e Yeruzaalemu nga bagamba nti:
2
“Kabaka w'Abayudaaya oyo azaaliddwa ali ludda wa! Kubanga twalaba emmunyeenye ye mu Buvanjuba ne tujja okumusinza.”
3
Kabaka Erode bwe yawulira, ne yeeraliikirira, ne Yeruzaalemu kyonna ne kyeraliikirira wamu naye.
4
N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna n'abawandiisi b'abantu, n'ababuuliriza ku Kristu gy'alizaalibwa.
5
Bo ne bamugamba nti: “Mu Beteleemu eky'omu Yuda; kubanga bwe kiti bwe kyawandiikibwa omulanzi nti:
6
‘Naawe Beteleemu, ensi ya Yuda, ddala si ggwe asingayo obutene mu bafuzi b'omu Buyudaaya, kubanga mu ggwe mwe muliva omufuzi alifuga abantu bange Yisirayeli.’ ”
7
Awo Erode n'ayita abasajja bakalimagezi mu kyama, n'ababuuliriza amanye ebbanga emmunyeenye lye yalabikiramu.
8
N'abasindika e Beteleemu nga bw'abagamba nti: “Mugende munoonyereze bulungi ku mwana oyo; bwe mubanga mumulabye, mumbuulire, nange nzije mmusinze.”
9
Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Amangu ago emmunyeenye gye baalaba e Buvanjuba n'ebakulemberamu okutuusa lwe yatuuka n'eyimirira waggulu omwana we yali.
10
Bwe baalaba emmunyeenye, ne bajaguza n'essanyu lingi nnyo.
11
Bwe baayingira mu nyumba, ne balabamu omwana wamu ne Mariya nnyina, ne bavunnama, ne bamusinza. Ne basumulula amakula gaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaani ne mirra.
12
Naye bwe baalabulibwa mu kirooto obutadda wa Erode, ne badda mu nsi yaaboobwe nga bayitira mu kkubo eddala.
13
Bwe baamala okugenda, malayika w'Omukama n'alabikira Yozefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba, kubanga Erode wuuyo agenda kunoonya omwana okumutta.”
14
N'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'asitula okulaga e Misiri.
15
N'abeera eyo okutuusa Erode lwe yafa, Omukama kye yagamba ng'ayita mu mulanzi kituukirire, nti: “Nayita mutabani wange okuva mu Misiri.”
16
Erode bwe yalaba ng'abasajja bakalimagezi bamuguumaazizza, n'akalala nnyo; n'atuma n'atta mu Beteleemu ne mu byalo ebiriraanyeewo abaana bonna ab'obulenzi abaakamala emyaka ebiri n'okukka wansi, ng'alabira mu biro byennyini bye yabuulirizaamu abasajja bakalimagezi.
17
Omulanzi Yeremiya kye yalanga ne kituukirira, nti:
18
“Eddoboozi lyawulirwa mu Rama; okulira n'emiranga eminene; Rakeli ng'akaabira abaana be; tayagala na kukubagizibwa, kubanga tewakyali n'omu.”
19
Awo Erode bwe yamala okufa, malayika w'Omukama n'alabikira Yozefu mu kirooto e Misiri, n'amugamba nti:
20
“Golokoka, kwata omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Yisirayeli, kubanga abaali banoonya omwana okumutta baafa.”
21
N'agolokoka, n'akwata omwana ne nnyina, n'agenda mu nsi ya Yisirayeli.
22
Naye bwe yawulira nga Arikelawo y'afuga Buyudaaya mu kifo kya kitaawe Erode, n'atya okugenda eyo; bwe yalabulibwa mu kirooto, n'adda mu ssaza ly'e Galilaaya.
23
Bwe yatuuka eyo, n'asenga mu kibuga ekiyitibwa Nazareti; bwe kityo abalanzi kye baayogera kituukirire, nti: “Aliyitibwa Munazareewo.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28