bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 16
Matthew 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
1
Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne basembera; okumugeza, ne bamusaba abalage akabonero okuva mu ggulu.
2
N'ayanukula n'abagamba nti: “Obudde buba buwungeera, mugamba nti: ‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyukiridde.’
3
Bwe bukya, nti: ‘Olwa leero kikunta, kubanga eggulu limyukiridde ate likutte.’ Bwe kityo, mumanyi okusoma enfaanana y'eggulu, naye temusobola kusoma bubonero bwa biseera.
4
Ezzadde ebbi era esseegu linoonya akabonero; naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula aka Yona.” N'abaleka, n'agenda.
5
Abayigirizwa be bwe bajja emitala w'eri, baali beerabidde okuleeta emigaati.
6
N'abagamba nti: “Mwegendereze, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'eky'Abasaddukaayo.”
7
Ne beebuuzaganya bokka na bokka nti: “Tetwaleese migaati.”
8
Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Mmwe ab'okukkiriza okutono, lwaki mwebuuzaganya nti temulina migaati?
9
Temunnaba kutegeera? Temujjukira emigaati etaano olw'abantu enkumi ettaano, ebisero bimeka bye mwakuŋŋaanya?
10
Oba n'emigaati omusanvu olw'abantu enkumi ennya, ebisero bimeka bye mwakuŋŋaanya?
11
Ekibalobedde okutegeera nga soogedde ku migaati bugaati kiki? Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'eky'Abasaddukaayo.”
12
Ne balyoka bategeera nga tabagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula enjigiriza y'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.
13
Awo Yezu n'alaga mu kitundu ky'e Kayisariya ekya Filippo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Omwana w'Omuntu abantu bagamba ye ani?”
14
Bo ne bagamba nti: “Abamu nti ye Yowanna Batista, abalala nti ye Eliya, ate abalala nti ye Yeremiya oba omu ku balanzi.”
15
N'abagamba nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?”
16
Simoni Petero n'ayanukula nti: “Ggwe Kristu, Omwana wa Katonda omulamu.”
17
Yezu n'amuddamu nti: “Simoni mutabani wa Yona, weesiimye, kubanga omubiri n'omusaayi si bye byakubikkulidde ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
18
Nange ka nkubuulire, oli Lwazi, ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekleziya wange; n'emiryango gy'emagombe tegirimusobola.
19
Era ndikuwa ebisumuluzo by'obwakabaka bw'omu ggulu; kyonna ky'olisiba ku nsi, nga ne mu ggulu kisibiddwa; kyonna ky'olisumulula ku nsi, nga ne mu ggulu kisumuluddwa.”
20
Awo n'akuutira nnyo abayigirizwa be obutabuulirako muntu nti ye Kristu.
21
Okuva olwo Yezu n'asooka okutegeeza abayigirizwa be nti yalina okugenda e Yeruzaalemu, n'okubonyaabonyezebwa abakadde, abawandiisi n'abakulu b'abakabona, n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu.
22
Petero n'amuddira, n'atandika okumukomako, ng'amugamba nti: “Kikafuuwe! Mukama, ekyo tekigenda kukutuukirira.”
23
Ye n'akyuka n'agamba Petero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Onfuukidde kyesittazo, kubanga by'olowooza si bya Katonda, wabula by'abantu.”
24
Awo Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe, angoberere.
25
Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze, alibusanga.
26
Kale omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, sso n'afiirwa obulamu bwe? Ye omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
27
Kubanga Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe wamu ne bamalayika be; olwo aliweera buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.
28
Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye Omwana w'Omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28