bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 21
Matthew 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
1
Bwe baasemberera Yeruzaalemu nga batuuse e Betifage, ku Lusozi lw'Oliva, Yezu n'atuma abayigirizwa be babiri,
2
n'abagamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso, mangu awo mujja kusanga endogoyi esibiddwa ng'erina omwana gwayo; muziyimbule, muzindeetere.
3
Bwe wabaawo aliko ky'abagamba, muddamu nti: Omukama azeetaaga, ajja kuzisindika mangu.”
4
Ebyo byonna byaba bityo omulanzi kye yayogera kituukirire, nti:
5
“Mugambe muwala wa Siyoni nti: ‘Wuuno kabaka wo ajja gy'oli, muteefu, yeebagadde endogoyi, ne ku kalogoyi, omwana gw'endogoyi.’ ”
6
Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yezu bwe yali abalagidde,
7
ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bassaako ebyambalo byabwe, ye n'akeebagala.
8
Bangi mu kibiina ne baaliira ebyambalo byabwe mu kkubo, abamu ne bamenya amatabi ku miti ne bagaaliirira mu kkubo.
9
Ebibiina ebyali bimukulembeddemu n'ebyo ebyali bimugoberera ne biyoogaana nti: “Hosanna eri Omwana wa Dawudi! Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama! Hosanna waggulu eyo!”
10
Bwe yayingira mu Yeruzaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma, nga bagamba nti: “Ani oyo?”
11
Ebibiina nga bigamba nti: “ Ono ye Yezu omulanzi ow'e Nazareti ekya Galilaaya.”
12
Yezu n'ayingira mu Kiggwa, n'agobamu abatunda n'abagulira mu Kiggwa, n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi n'entebe z'abatunda enjiibwa,
13
n'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu;’ sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
14
Bamuzibe n'abalema ne bajja gy'ali mu Kiggwa, n'abawonya.
15
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba ebyewuunyisa bye yakola n'abaana nga baleekaana mu Kiggwa nga bagamba nti: “Hosanna eri Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga,
16
ne bamugamba nti: “Owulira abo kye bagamba?” Yezu n'abagamba nti: “Yee; mmwe temusomangako nti: “ ‘Mu kamwa k'abawere n'abayonka mwe waggya ettendo ettuufu’?”
17
N'abaleka, n'ava mu kibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo.
18
Ku makya bwe yali addayo mu kibuga, enjala n'emuluma;
19
n'alaba omukunyu ogumu ku bbali w'oluguudo, n'agenda gye guli, naye n'atasangako kantu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Ku ggwe tekuvangako kibala emirembe gyonna!” Amangu ago omukunyu ne gukala.
20
Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omukunyu gukaze gutya amangu gati?”
21
Yezu n'ayanukula nti: “Mazima mbagamba nti bwe munaabeera n'okukkiriza nga temubuusabuusa, ekikoleddwa ku mukunyu si kye munaakolanga kyokka, naye ne bwe muligamba olusozi nga luno nti: ‘Weesitule, weesuule mu nnyanja,’ bwe kiriba.
22
Na byonna bye munaasabanga nga mwegayirira, mulibifuna, bwe munaabanga n'okukkiriza.”
23
Bwe yajja mu Kiggwa, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja w'ali bwe yali ayigiriza, ne bagamba nti: “Ebyo obikozesa buyinza ki? Ani yakuwa obuyinza obwo?”
24
Yezu n'ayanukula, n'abagamba nti: “Nange nzija kubabuuza ekigambo kimu; bwe munanziramu, nange ne ndyoka mbabuulira obuyinza obunkoza ebyo.
25
Kale, batismu ya Yowanna yava wa? Yava mu ggulu, nandiki mu bantu?” Ne beebuuzaganya nga bagamba nti:
26
“Ate bwe tugamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti: ‘Awo nno lwaki temwamukkiriza?’ Bwe tugamba nti: ‘Yava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna Yowanna bamuyita mulanzi.”
27
Kwe kuddamu Yezu nti: “Tetumanyi.” Naye n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bunkoza ebyo.
28
“Kino mukiraba mutya? Waaliwo omusajja ng'alina batabani be babiri, n'agenda eri omu n'amugamba nti: ‘Mutabani, olwa leero genda okole mu mizabbibu.’
29
N'ayanukula nti: ‘Sijja kugenda.’ Naye oluvannyuma ne yeddamu, n'agenda.
30
Ate n'agenda eri owookubiri, n'amugamba kyenkana. Ye n'ayanukula nti: ‘Nzija kugenda, ssebo,’ naye ate n'atagenda.
31
Kale ku bombi ani yakola kitaawe kye yalagira?” Ne bamugamba nti: “Omubereberye.” Yezu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya bagenda okubasooka mu bwakabaka bwa Katonda.
32
Kubanga Yowanna yajja gye muli ng'akutte ekkubo ery'obutuukirivu, ne mutamukkiriza; sso abasolooza b'omusolo ne bamalaaya baamukkiriza; mmwe ekyo ne bwe mwakiraba, oluvannyuma temweddamu mumukkirize.
33
“Ate muwulire olugero olulala: Waaliwo omuntu ssemaka eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agisibako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agikwasa abalimi, n'agenda ku ggwanga.
34
Obudde obw'ebibala bwe bwasembera, n'atuma abaweereza abalimi banone ku bibala bye.
35
Naye abalimi ne bakwata abaweereza be omu ne bamukuba, n'omulala ne bamutta, n'omundi ne bamukuba amayinja.
36
N'abatumira ate abaweereza abalala, abangi n'okusinga abaasooka, nabo ne babakola kyenkana.
37
Oluvannyuma n'abatumira mutabani we, ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’
38
Naye abalimi bwe baalaba ku mutabani we ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika; mugire tumutte, obusika bwe tubutwale.’
39
Ne bamukwata, ne bamugobera ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta.
40
Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, abalimi abo alibakola atya?”
41
Ne bamugamba nti: “Bakafulu abo ababi alibazikiriza, ennimiro ye ey'emizabbibu n'agikwasa abalimi abalala, abalimuwa ebibala mu budde bwabyo.”
42
Awo Yezu n'abagamba nti: “Temusomanga mu Biwandiiko nti: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lyafuuka lukulwe mu nsonda; ekyo Omukama ye yakikola, kya kyewuunyo mu maaso gaffe’?
43
Kyenva mbagamba nti obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eriribala ebibala byabwo.”
45
Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero ze, ne bategeera ng'ayogera ku bo.
46
Naye bwe baanoonya okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga abantu baali bamutwala ng'omulanzi.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28