bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 26
Matthew 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
1
Yezu bwe yasirissa ebigambo ebyo byonna n'agamba abayigirizwa be nti:
2
“Mumanyi nga Pasika ejja mu nnaku bbiri, n'Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo okukomererwa ku musaalaba.”
3
Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana mu nnyumba ya kabona omukulu eyali ayitibwa Kayafa,
4
ne bateesa amagezi ag'okukwata Yezu nga bamusoonookereza, bamutte.
5
Kyokka ne bagamba nti: “Si ku mbaga enkulu, sikulwa ng'akeegugungo kagwawo mu kibiina.”
6
Yezu bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simoni omugenge,
7
omukazi n'ajja w'ali n'akasumbi k'alabasiteri ak'omuzigo ogw'akawoowo ogw'omuwendo, n'agumufuka ku mutwe ng'atudde alya.
8
Abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga, ne bagamba nti: “Gufudde ki guno?
9
Kubanga guno gubadde guyinza okutundibwa omuwendo omunene ensimbi ne zigabirwa abaavu.”
10
Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Omukazi ono mumutawaanyiza ki? Ankoledde ekintu kirungi;
11
abaavu muli nabo bulijjo; sso nze temujja kubeeranga nange bulijjo.
12
Bw'afuse omuzigo ogw'akawoowo ku mubiri gwange, akikoze kuntegekera maziika.
13
Mazima mbagamba nti: wonna Evangili eno gy'eribuulirwa mu nsi yonna, ky'akoze kiryogerwangako okumujjukira.”
14
Awo omu ku Kkumi n'Ababiri eyali ayitibwa Yuda Yisikariyoti, n'agenda eri bakabona abakulu,
15
n'abagamba nti: “Mwagala kumpa ki nze bwe nnaabamukwasa?” Bo ne bamusasula ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
16
Okuva mu kaseera ako n'anoonya akakisa amuweeyo.
17
Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez'Emigaati Egitazimbulukuse abayigirizwa ne basembera awali Yezu, ne bagamba nti: “Oyagala tugende tukutegekere wa gy'onooliira Pasika?”
18
Yezu n'agamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Obudde bwange buli kumpi; ewuwo gye nnaakolera Pasika wamu n'abayigirizwa bange.’ ”
19
Abayigirizwa ne bakola nga Yezu bwe yali abalagidde, ne bateekateeka Pasika.
20
Obudde bwe bwawungeera, n'atuula ku mmeeza wamu n'Ekkumi n'Ababiri.
21
Bwe baali balya, n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti munnammwe omu ajja kumpaayo.”
22
Bo ne banakuwala nnyo; ne basooka okumubuuza kinnoomu nti: “Mukama, ye nze?”
23
Ye n'addamu nti: “Akoza nange mu kibya y'anampaayo.
24
Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, kyokka zimusanze oyo anaawaayo Omwana w'Omuntu! Singa omuntu oyo teyazaalibwa, kyandibadde kirungi gy'ali.”
25
Ne Yuda eyamuwaayo n'agamba nti: “Rabbi, ye nze?” Ye n'agamba nti: “Oyogedde.”
26
Bwe baali balya, Yezu n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'awa abayigirizwa be ng'agamba nti: “Mukwate, mulye; kino mubiri gwange.”
27
Ate n'akwata ekikompe, ne yeebaza n'akibawa, n'agamba nti: “Munywe ku kino mwenna;
28
Kubanga kino musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiibwa ku lw'abangi, olw'okusonyiyisa ebibi.
29
Ka mbabuulire, okuva kati siriddamu kunywa ku kibala kino eky'omuzabbibu, okutuusa olunaku olwo lwe ndikinywa obuggya wamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.”
30
Bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma, ne bagenda ku Lusozi olw'Oliva.
31
Yezu n'abagamba nti: “Mmwe mwenna mujja kunneesittalako ekiro kino, kubanga baawandiika nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ze ggana ne zibuna emiwabo.’
32
Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibeesooka mu Galilaaya.”
33
Petero n'amuddamu nti: “Abalala bonna ne bwe banaakwesittalako, nze sijja kwesittala n'akatono.”
34
Yezu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti mu kiro kino enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanyi emirundi esatu.”
35
Petero n'amugamba nti: “Ne bwe nnaaba ndi wa kufa wamu naawe, sijja kukwegaana.” Na bonna abayigirizwa ne boogera bwe batyo.
36
Awo Yezu n'agenda nabo mu kafo akayitibwa Getisemani, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano ngira ŋŋenda eri neegayirire.”
37
N'atoolako Petero ne batabani ba Zebedaayo bombi, n'asooka okuwulira ennaku n'okukabirirwa.
38
N'abagamba nti: “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi ezaagala n'okunzita; mubeere wano, mutunule wamu nange.”
39
N'abaawukanako katono, n'agwa wansi ku maaso ge, ne yeegayirira ng'agamba nti: “Kitange, obanga kiyinzika, ekikompe kino kimpiteko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”
40
N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase; n'agamba Petero nti: “Abaffe, temuyinza kutunula nange wadde essaawa emu eti?
41
Mutunule, mwegayirire, muleme kutwalibwa mu kukemebwa; kubanga omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
42
Era omulundi ogwokubiri ne yeegayirira n'agamba nti: “Kitange, oba ekikompe kino tekiyinza kuyitawo, wabula nga nkinywedde, kikolebwe nga bw'oyagala.”
43
N'adda ogwokubiri, era n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaali gabakambagga.
44
N'abaleka, era n'agenda, ne yeegayirira ogwokusatu ng'ayogera ebigambo bye bimu.
45
Awo n'ajja eri abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummuddeko? Kaakano akadde katuuse, Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi.
46
Musituke tugende, kubanga anampaayo ali kumpi.”
47
Yali akyayogera, Yuda, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'atuuka ng'ali n'ekibiina kinene eky'abakutte ebitala n'emiggo okuva mu bakabona abakulu n'abakadde b'abantu.
48
Eyamuwaayo yali abawadde akabonero, ng'agambye nti: “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.”
49
Amangu ago n'asemberera Yezu, n'amugamba nti: “Mirembe, Rabbi.” N'amunywegera.
50
Yezu n'amugamba nti: “Munnange, ogukuleese wano?” Awo bali ne basembera, ne bamussaako engalo, ne bamukwata.
51
Naye omu ku abo abaali ne Yezu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona omukulu, n'amusalako okutu.
52
Yezu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga bonna abakwata ekitala, balizikirira na kitala.
53
Nandiki olowooza nga siyinza kusaba Kitange amangu ago n'ampeereza ebitongole by'eggye lya bamalayika kkumi na bibiri n'okusoba?
54
Ebiwandiiko ebitukuvu binaatuukirizibwa bitya nti bwe bityo bwe birina okuba?”
55
Mu kaseera ako, Yezu n'agamba ekibiina nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi? Buli lunaku natuulanga nga njigiriza mu Kiggwa naye temwankwata.
56
Bino byonna biguddewo ebiwandiiko by'abalanzi bituukirire.” Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57
Naye abo bwe baakwata Yezu, ne bamutwala ewa Kayafa kabona omukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde.
58
Ye Petero n'amugoberera ng'ayima walako okutuukira ddala ku luggya lwa kabona omukulu, n'ayingira n'atuula n'abakuumi, alabe enkomerero yaabyo.
59
Bakabona abakulu n'Olukiiko lwonna ne banoonya obujulizi obw'obulimba obulumiriza Yezu kwe banaasinziira okumutta,
60
naye ne batabuzuula newandibadde ng'abajulizi ab'obulimba bajja bangi. Oluvannyuma ne wajjawo babiri, ne bagamba nti:
61
“Ono yagamba nti: ‘Nnyinza okumenya Ekiggwa kya Katonda, ate ne nkizzaawo mu nnaku ssatu.’ ”
62
Awo kabona omukulu n'ayimirira, n'abuuza nti: “Tolina ky'oyanukula? Kiki kino abantu bano kye bakulumiriza?”
63
Naye Yezu n'asirika busirisi. Kabona omukulu n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda omulamu, tutegeeze obanga ggwe Kristu Omwana wa Katonda.”
64
Yezu n'amugamba nti: “Oyogedde; era nkugamba nti n'okuva kati Omwana w'Omuntu mulimulaba ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'Obuyinza era ng'ajjira mu bire eby'omu ggulu.”
65
Awo kabona omukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti: “Avumye Katonda. Tukyetaagira ki abajulizi, anti mwewuliridde ekivumo kye.
66
Mmwe mulowooza ki?” Ne bamuddamu nti: “Agwanidde kufa.”
67
Ne bamufujjira amalusu mu maaso, ne bamukuba, ate abamu ne bamukuba empi
68
nga bagamba nti: “Tulagule, Kristu, ani akukubye?”
69
Petero ye yali atudde bweru mu luggya. Omuzaana omu n'asembera w'ali n'agamba nti: “Naawe wali ne Yezu Omugalilaaya.”
70
Ye ne yeegaana mu maaso ga bonna, n'agamba nti: “Simanyi ky'ogamba.”
71
Aba afuluma ati ku kifugi, omuzaana omulala n'amulaba, n'agamba abaali awo nti: “N'ono yali ne Yezu ow'e Nazareti.”
72
Era ne yeegaana ogwokubiri nga bw'alayira nti: “Omusajja simumanyi.”
73
Nga wayiseewo akabanga, abaali bayimiridde awo ne basembera, ne bagamba Petero nti: “Kya mazima naawe oli omu ku bo, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.”
74
Ye n'asooka okuvumirira n'okulayira nga bw'agamba nti: “Omuntu oyo simumanyi.” Amangu ago enkoko n'ekookolima.
75
Petero n'ajjukira ekigambo Yezu kye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanye emirundi esatu.” N'afuluma ebweru, n'akaaba n'okunyolwa kungi.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28