bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 27
Matthew 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
1
Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateesa batte Yezu.
2
Ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamukwasa Pilato owessaza.
3
Yuda eyamuwaayo, bwe yalaba nga Yezu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa; ebitundu bya ffeeza amakumi asatu n'abikomyawo ewa bakabona abakulu n'abakadde
4
ng'agamba nti: “Nnyonoonye okuwaayo omusaayi gw'ataliiko musango.” Bo ne bamugamba nti: “Ekyo ffe kitukwatako? Ggwe onoolaba.”
5
Ye n'asuula ebitundu bya ffeeza mu Kiggwa, n'avaawo, n'agenda ne yeetuga.
6
Bakabona abakulu ne batwala ebitundu bya ffeeza, ne bagamba nti: “Tekisaanira kubiteeka mu ggwanika lya Kiggwa, kubanga zino nsimbi za musaayi.”
7
Ne bateesa, ne babigulamu ennimiro y'omubumbi, balyoke baziikengamu abagwira.
8
Ennimiro eyo kwe kuyitibwa 'Ennimiro y'Omusaayi' n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
9
Awo omulanzi Yeremiya kye yalanga ne kituukirira nti: “Ne batoola ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo abaana ba Yisirayeli abamu gwe baali bagereseeko omuwendo,
10
ne babiwaayo okugula ennimiro y'omubumbi, nga Katonda bwe yantegeeza.”
11
Awo Yezu n'ayimirira mu maaso g'owessaza. Owessaza n'amubuuza nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?” Yezu n'amuddamu nti: “Oyogedde.”
12
Naye bwe yawawaabirwa bakabona abakulu n'abakadde, teyaliiko ky'addamu,
13
Pilato kwe kumugamba nti: “Bye bakulumiriza ebingi bityo tobiwulira?”
14
Ye n'atamwanukula ku byonna ebyali bimuvunaanibwa; owessaza kwe kwewuunya.
15
Ku mbaga enkulu owessaza yateeranga ekibiina omusibe gwe kyayagalanga.
16
Mu budde obwo yalina omusibe amanyiddwa, erinnya lye Barabba.
17
Abantu bwe baamala okukuŋŋaana, Pilato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere ani, Barabba nandiki Yezu ayitibwa Kristu?”
18
Kubanga yali amanyi nga baali bamuleesezza buggya.
19
Bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omutuukirivu oyo tobaako ky'omukolako, kubanga olwa leero nabonyeebonye bingi mu kirooto olw'okubeera ye.”
20
Naye bakabona abakulu n'abakadde ne bafukuutirira ekibiina, basabe Barabba, Yezu bamuzikirize.
21
Owessaza n'addamu okubagamba nti: “Ku babiri mwagala mbateere ani?” Ne bamuddamu nti: “Barabba,”
22
Pilato n'abagamba nti: “Yezu ayitibwa Kristu mmukole ntya?” Bonna ne bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.”
23
N'abagamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nga bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.”
24
Pilato yalaba talina ky'atuukako, wabula ng'akeegugungo ke katandiikiriza, n'akwata amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina, n'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku musaayi gw'omuntu ono; mmwe munaalaba.”
25
Abantu bonna ne bagamba nti: “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe.”
26
Awo n'abateera Barabba; Yezu bwe yamala okumukuba enkoba n'amuwaayo akomererwe ku musaalaba.
27
Awo abaserikale b'owessaza ne bakwata Yezu ne bamutwala mu Purayitoriyo, ne bamukuŋŋaanyirizaako ekibinja ky'abaserikale kyonna.
28
Ne bamwambula, ne bamussaako omunagiro omumyufu,
29
ne bazinga omuge ogw'amaggwa, ne bagumussa ku mutwe, ne bamukwasa olumuli mu mukono ogwa ddyo, ne bamufukaamirira nga bamuduulira, nga bagamba nti: “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!”
30
Ne bamufujjira amalusu mu maaso, ne bakwata olumuli, ne balumukuba mu mutwe.
31
Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu omunagiro, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
32
Bwe baali bafuluma, ne basanga omusajja ow'e Kureni, erinnya lye Simoni; ono ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwe.
33
Ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Golugota, kwe kugamba, 'ekifo ky'akawanga',
34
ne bamuwa evviini entabulemu endulwe; naye bwe yakombako, n'atayagala kunywa.
35
Bwe baamala okumukomerera, ebyambalo bye ne babigabanyaamu nga babikubako akalulu;
36
ne batuula, ne basigala awo nga bamukuuma.
37
Ne bassa waggulu w'omutwe gwe omusango gwe, nti: ONO YE YEZU, KABAKA W'ABAYUDAAYA.
38
Abanyazi babiri baakomererwa wamu naye, omu ku ddyo n'omulala ku kkono.
39
Abayise ne bamusekerera, ne bamunyeenyeza omutwe
40
nga bagamba nti: “Ggwe amenya Ekiggwa kya Katonda n'okizimba mu nnaku ssatu? Weewonye! Obanga ggwe Mwana wa Katonda, kka ove ku musaalaba.”
41
Ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'abakadde ne bamuduulira nga bagamba nti:
42
“Yawonyanga balala, ye tayinza kwewonya. Anti ye kabaka wa Yisirayeli, kaakano nno akke ave ku musaalaba, tujja kumukkiriza.
43
Anti yeesiga Katonda, kaakano Katonda amuwonye obanga amwetaaga, anti yagamba nti: ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
44
N'abanyazi abaali bakomereddwa naye, ne bamuvuma.
45
Okuva ku ssaawa eyoomukaga ekizikiza ne kibikka ensi yonna okutuusa ku ssaawa eyoomwenda.
46
Nga ku ssaawa eyoomwenda Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eli, Eli, lama sabakitani?” kwe kugamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
47
Abamu ku baali bayimiridde awo ne bamuwulira, ne bagamba nti: “Ono ayita Eliya.”
48
Awo omu ku bo n'ayanguwa mangu n'addira ekyangwe n'akinnyika mu nkaatu, n'akitunga ku lumuli, n'amuwa anywe.
49
Abalala ne bagamba nti: “Leka, ka tulabe oba Eliya anajja okumuwonya.”
50
Ate Yezu n'addamu okukoowoola n'eddoboozi eddene, n'awaayo omwoyo gwe.
51
Awo olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana, enjazi ne ziryeryebuka,
52
n'entaana ne zaasama, n'emibiri mingi egy'abatuukirivu abaali bafudde ne gizuukira.
53
Bwe yamala okuzuukira, baava mu ntaana ne bagenda mu kibuga ekitukuvu, ne balabikira bangi.
54
Senturiyo n'abaali naye nga bakuuma Yezu, bwe baalaba ensi ng'ekankana n'ebyo byonna ebyabaawo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ggwe wamma ono abadde Mwana wa Katonda.”
55
N'abakazi bangi abaali bagoberedde Yezu okuva mu Galilaaya nga bamuweereza baali balengera nga bayima walako.
56
Mu bo mwalimu Mariya Magudalena ne Mariya nnyina Yakobo ne Yozefu, ne nnyina w'abatabani ba Zebedaayo.
57
Awo obudde bwe bwawungeera, ne wajjawo omusajja naggagga ow'e Arimateya, erinnya lye Yozefu; naye yali muyigirizwa wa Yezu.
58
N'agenda eri Pilato n'amusaba omubiri gwa Yezu. Pilato n'alagira okugumuwa.
59
Awo Yozefu n'addira omubiri n'aguzinga mu ssuuka ennyonjo,
60
n'aguteeka mu ntaana ye empya gye yali asimye mu lwazi; n'ayiringisiza ejjinja eddene ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
61
Mariya Magudalena ne Mariya omulala baali awo nga batudde mu maaso g'entaana.
62
Ku lunaku olwaddako, oluvannyuma lw'Olunaku olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Pilato,
63
ne bagamba nti: “Ssebo, tujjukidde ng'omulimba oyo, bwe yali akyali mulamu, yagamba nti: ‘Nga wayise ennaku ssatu ndizuukira;’
64
kale nno lagira bakuume entaana okutuusa olw'essatu; abayigirizwa sikulwa nga bajja ne bamubbamu, ne bagamba abantu nti: ‘Azuukidde mu bafu.’ Olwo obulimba obw'oluvannyuma bujja kubeera bubi okusinga obw'olubereberye.”
65
Pilato n'abagamba nti: “Mufune abakuumi, mugende mukuumire ddala bulungi nga bwe musobola.”
66
Ne bagenda ne banyweza entaana, ejjinja ne balissaako envumbo, ne bassaawo n'abakuumi.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28