bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 4
Matthew 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Awo Yezu n'ayambusibwa Mwoyo mu ddungu okukemebwa Sitaani.
2
N'asiiba emisana amakumi ana n'ebiro amakumi ana, oluvannyuma enjala n'emuluma.
3
Omukemi n'asembera n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emigaati.”
4
Ye n'ayanukula nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mugaati gwokka, naye na lwa buli kigambo ekifuluma mu kamwa ka Katonda.’ ”
5
Awo Sitaani n'amutwala ku kibuga ekitukuvu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Ekiggwa,
6
n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti: “ ‘Aliragira bamalayika be ku ggwe, era balikutwalira mu mikono gyabwe oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’ ”
7
Yezu n'amugamba nti: “Era kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
8
Sitaani n'amuddira ate, n'amutwala ku lusozi oluwanvu, n'amwoleka amawanga gonna ag'ensi n'ekitiibwa kyago,
9
n'amugamba nti: “Ebyo byonna nnaabikuwa bw'onoovunnama omala onsinza.”
10
Awo Yezu kwe kumugamba nti: “Vvaawo, Sitaani, kubanga kyawandiikibwa nti: “ ‘Osinzanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga.’ ”
11
Awo Sitaani n'amuleka; laba, amangu ago bamalayika ne basembera ne bamuweereza.
12
Yezu bwe yawulira nga Yowanna bamusibye, n'addayo mu Galilaaya;
13
n'ava e Nazareti, n'agenda abeeranga e Kafarunawumu eky'oku nnyanja, ku nsalo za Zebuluni ne Nafutali,
14
omulanzi Yisaaya kye yalanga kituukirire nti:
15
“Ensi ya Zebuluni n'ensi ya Nafutali; Ekkubo ery'oku Nnyanja, emitala wa Yorudani; Galilaaya ey'Amawanga;
16
abantu abaali batudde mu kizikiza, balabye ekitangaala ekinene; n'abaali batudde mu nsi ne mu kisiikirize eky'olumbe ekitangaala kibaakidde.”
17
Okuva ku olwo Yezu n'asooka okuyigiriza, ng'agamba nti: “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”
18
Bwe yali atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba ab'oluganda babiri: Simoni ayitibwa Petero ne Andureya muganda we, nga basuula akatimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi,
19
n'abagamba nti: “Mungoberere, ndibafuula abavubi b'abantu.”
20
Amangu ago ne baleka obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21
Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba ab'oluganda abalala babiri: Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebedaayo, nga basanirira obutimba bwabwe, n'abayita.
22
Amangu ago ne baleka obutimba bwabwe ne kitaabwe, ne bamugoberera.
23
Awo Yezu n'atalaaga Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, ng'ababuulira Evangili y'obwakabaka ate ng'awonya buli bulwadde bwonna na buli nkenyera mu bantu.
24
Ettutumu lye ne lituuka wonna mu Siriya; ne bamuleetera abalwadde bonna, abaalina endwadde eza buli ngeri, n'abalumizibwa, n'abakwatiddwa emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonzibye, n'abawonya.
25
Ebibiina bingi ne bimugoberera okuva mu Galilaaya, mu Dekapoli, mu Yeruzaalemu, mu Buyudaaya n'emitala wa Yorudani.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28