bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 1
Matthew 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 2 →
1
Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, muzzukulu wa Dawudi, muzzukulu wa Aburahamu.
2
Aburahamu yazaala Yisaaka, Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be,
3
Yuda n'azaala Pereezi ne Zera mu Tamari; Pereezi n'azaala Hezirooni, Hezirooni n'azaala Raamu;
4
Raamu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Naasoni, Naasoni n'azaala Salumooni;
5
Salumooni n'azaala Bowaazi mu Rahabu, Bowaazi n'azaala Obedi mu Ruusi, Obedi n'azaala Yesse;
6
Yesse n'azaala Dawudi Kabaka, Dawudi n'azaala Solomooni mu eyali muka Wuriya:
7
Solomooni n'azaala Rehobowaamu, Rehobowaamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa;
8
Asa n'azaala Yehosafaati, Yehosafaati n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Wuzziya;
9
Wuzziya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Ahazi, Ahazi n'azaala Heezeekiya;
10
Heezeekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amoni, Amoni n'azaala Yosiya;
11
Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biseera abantu ba Yisirayeli mwe baawaŋŋangusirizibwa e Babilooni.
12
Nga bamaze okuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, Yekoniya n'azaala Seyalutiyeli, Seyalutiyeli n'azaala Zerubabbeeli;
13
Zerubabbeeli n'azaala Abiwuudi, Abiwuudi n'azaala Eliyakimu, Eliyakimu n'azaala Azori;
14
Azori n'azaala Sadoki, Sadoki n'azaala Akimu, Akimu n'azaala Eliwuudi;
15
Eliwuudi n'azaala Eleyazaari, Eleyazaari n'azaala Matani, Matani n'azaala Yakobo;
16
Yakobo n'azaala Yosefu bba Mariya, Mariya eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17
Kale nno emirembe gyonna, okuva ku Aburahamu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, emirembe kkumi n'ena; ate okuva ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.
18
Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Mariya nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yosefu, nga tebannafumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
19
Awo Yosefu bba, kubanga yali muntu mulungi, n'atayagala kumuswaza, n'alowooza okumulekayo mu kyama.
20
Yali akyalowooza ebyo, malayika wa Mukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yosefu, muzzukulu wa Dawudi, leka kutya kutwala Mariya mukazi wo, kubanga ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
21
Alizaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye wunyo alirokola abantu be mu bibi byabwe.”
22
Ebyo byonna byabaawo, okutuukiriza Mukama kye yayogerera mu mulanzi nti:
23
“Omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Erinnya lye, balimuyita Emmanweli” (eritegeeza nti: “Katonda ali naffe”).
24
Yosefu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika bw'amulagidde: n'atwala mukazi we.
25
Kyokka teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana, Yosefu n'atuuma omwana oyo erinnya lye Yesu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28