bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 28
Matthew 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
1
Sabbaato bwe yali ng'eggwaako, olunaku olusooka mu wiiki nga lunaatera okukya, Mariya Magudaleena ne Mariya omulala ne bagenda okulaba entaana.
2
Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu n'ajja, n'ayiringisa ejjinja, n'aliggyawo, era n'alituulako.
3
Yali afaanana ng'okumyansa, n'ekyambalo kye nga kitukula ng'omuzira.
4
Abakuumi, olw'okumutya ennyo, ne bakankana, era ne baba ng'abafudde.
5
Awo malayika n'agamba abakazi nti: “Mmwe temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa ku musaalaba.
6
Wano taliiwo. Azuukidde nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo w'abadde agalamidde.
7
Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti: ‘Azuukidde, era abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira.’ Kaakano mbabuulidde.”
8
Awo ne bafuluma, ne bava mangu ku ntaana nga batidde, naye nga bajjudde essanyu, ne badduka okubuulira abayigirizwa be.
9
Awo Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti: “Mirembe!” Ne bamusemberera, ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza.
10
Yesu n'abagamba nti: “Muleke kutya. Mugende mubuulire baganda bange bagende e Galilaaya. Eyo gye balindabira.”
11
Abakazi bwe baali bagenda, abamu ku baserikale abaakuuma entaana, ne bajja mu kibuga, ne bategeeza bakabona abakulu byonna ebibaddewo.
12
Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa. Ne bawa abaserikale ensimbi nnyingi,
13
ne bagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase, ne babba omulambo gwe.’
14
Ekyo omufuzi bw'alikiwulira, ffe tulimuwooyawooya, ne tubawonya omusango.”
15
Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba. Ekigambo ekyo ne kibuna mu Buyudaaya n'okutuusa kati.
16
Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne balaga e Galilaaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira okugenda.
17
Bwe baamulaba, ne bamusinza. Naye abamu ku bo ne babuusabuusa.
18
Yesu n'abasemberera, n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
19
Kale mugende, abantu b'amawanga gonna mubafuule abayigirizwa bange, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, ne lya Mwana, ne lya Mwoyo Mutuukirivu,
20
nga mubayigiriza okukwata byonna bye nabalagira mmwe. Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi lw'eriggwaawo.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28