bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 27
Matthew 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
1
Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa ku kutta Yesu.
2
Ne bamusiba, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato omufuzi Omurooma.
3
Awo Yuda eyalyamu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa. Era ebitundu bya ffeeza n'abiddiza bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga,
4
nga bw'agamba nti: “Nayonoona okuwaayo omuntu okuttibwa sso nga talina musango!” Naye bo ne bamuddamu nti: “Ekyo tukifaako ki? Ezo nsonga zo.”
5
Yuda n'asuula ebitundu bya ffeeza mu Ssinzizo, n'afuluma, n'agenda yeetuga.
6
Bakabona abakulu bwe baggyayo ebitundu bya ffeeza ebyo, ne bagamba nti: “Tekikkirizibwa okuteeka ensimbi zino mu kifo omuteekebwa ebirabo, kubanga ziguze omusaayi gw'omuntu.”
7
Bwe baamala okukkaanya, ne bazigulamu ennimiro y'omubumbi, okuziikangamu abagenyi.
8
Ennimiro eyo kyeyava eyitibwa Ennimiro y'Omusaayi n'okutuusa kati.
9
Olwo ekyayogerwa omulanzi Yeremiya ne kituukirira nti: “Ne batwala ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo abamu ku bantu ba Yisirayeli gwe baalamula mu oyo,
10
ne bagulamu ennimiro y'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.”
11
Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'omufuzi Omurooma. Omufuzi oyo n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
12
Ate bakabona abakulu bwe baamuwawaabira, n'ataddamu n'akatono.
13
Awo Pilaato n'amugamba nti: “Towulira ebyo byonna bye bakulumiriza?”
14
Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo na kimu. Omufuzi ne yewuunya nnyo.
15
Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, omufuzi Omurooma yali amanyidde okuta omusibe, ekibiina ky'abantu gwe kyamusabanga.
16
Ku mulundi guno, waaliwo omusibe amanyiddwa ennyo, ayitibwa Barabba.
17
Awo abantu bwe baakuŋŋaana, Pilaato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere aluwa: Barabba, oba Yesu ayitibwa Kristo?”
18
Kubanga yamanya nti baali bawaddeyo Yesu lwa buggya.
19
Awo Pilaato bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omuntu oyo atalina musango tomukolako kabi n'akatono, muleke, kubanga olwaleero, nalumiddwa nnyo mu kirooto ku lulwe.”
20
Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu okusaba Barabba ateebwe, Yesu azikirizibwe.
21
Naye omufuzi n'ababuuza nti: “Ku bano bombi mwagala mbateere aluwa?” Ne baddamu nti: “Barabba.”
22
Pilaato n'ababuuza nti: “Kale Yesu ayitibwa Kristo nnaamukola ntya?” Bonna ne baddamu nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
23
Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
24
Pilaato bwe yalaba nga byonna bya bwereere, era nga beeyongera bweyongezi okusasamala, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo, mu maaso g'abantu bonna nga bw'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku kuttibwa kwa muntu ono. Byonna biri ku mmwe.”
25
Abantu bonna ne baddamu nti: “Ekibonerezo olw'okuttibwa kwe kibe ku ffe, ne ku baana baffe.”
26
Awo Pilaato n'abateera Barabba. Ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.
27
Awo abaserikale ba Pilaato ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato, oluyitibwa Purayitoriyo. Ekibiina kyonna ne kimukuŋŋaanirako.
28
Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu.
29
Ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. Ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo, ne bafukamira mu maaso ge, ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!”
30
Ne bamufujjira amalusu, ne bakwata olumuli, ne bamukuba mu mutwe.
31
Bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye luli, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
32
Bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukireene, ayitibwa Simooni, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu.
33
Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga,
34
ne bawa Yesu omwenge gw'emizabbibu, nga gutabuddwamu ekintu ekikaawa. Kyokka bwe yakombako, n'atayagala kunywa.
35
Bwe baamala okumukomerera ku musaalaba, ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu.
36
Ne batuula awo ne bamukuuma.
37
Waggulu w'omutwe gwe ne bateekawo omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti: “ONO YE YESU, KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
38
Era ne bakomerera abanyazi babiri ku misaalaba okumpi ne Yesu: omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono.
39
Abantu abaali bayitawo ne bavuma Yesu,
40
ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu, weewonye. Oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musaalaba okke!”
41
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, nabo ne bamukudaalira nga bagamba nti:
42
“Yawonyanga balala, tayinza kwewonya ye yennyini. Ye Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulyoke tumukkirize.
43
Yeesiga Katonda, era yagamba nti Mwana wa Katonda. Kale Katonda amuwonye kaakano oba ng'amwagala.”
44
Abanyazi abaakomererwa ku misaalaba okumpi naye, nabo ne bamuvuma mu ngeri ye emu.
45
Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna.
46
Awo nga ku ssaawa ey'omwenda, Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
47
Abamu abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ayita Eliya!”
48
Amangwago omu ku bo n'adduka, n'akwata ekyangwe, n'akinnyinka mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa.
49
Naye abalala ne bagamba nti: “Leka, tulabe oba nga Eliya anajja okumuwonya!”
50
Awo Yesu n'akoowoola nate n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.
51
Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Ensi n'ekankana, enjazi ne zaatika.
52
Entaana ne zibikkuka, abatuukirivu bangi abaali bafudde ne bazuukira,
53
ne bava mu ntaana. Era Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu Kibuga Ekitukuvu, abantu bangi ne babalaba.
54
Omurooma omukulu w'ekibinja ky'abaserikale era n'abaserikale abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ensi bw'ekankana, era ne byonna ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ddala ono abadde Mwana wa Katonda!”
55
Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Galilaaya, nga bamuweereza, abaali ewalako nga balengera.
56
Mu abo mwalimu Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yakobo ne Yose, era ne nnyina w'abatabani ba Zebedaayo.
57
Obudde bwe bwawungeera, omusajja omugagga ow'e Arimataya, ayitibwa Yosefu, n'ajja. Era naye yali muyigirizwa wa Yesu.
58
N'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu. Awo Pilaato n'alagira okugumuwa.
59
Yosefu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi.
60
N'aguteeka mu ntaana eyiye empya ey'empuku, gye yali asimye mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja eddene, n'aliggaza omulyango gw'entaana, n'agenda.
61
Mariya Magudaleena ne Mariya omulala baali batudde awo mu maaso g'entaana.
62
Ku lunaku olwaddirira, kwe kugamba oluddirira olw'Okweteekateeka, bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne bakuŋŋaana, Ne bagenda eri Pilaato,
63
ne bagamba nti: “Ssebo, tujjukidde: omulimba oyo bwe yali ng'akyali mulamu, yagamba nti: ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu, ndizuukira.’ 9:22; 18:31-33
64
Kale nno lagira bakuumire ddala entaana, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kugenda kumubbamu, bagambe abantu nti: ‘Azuukidde!’ Olwo obulimba obwo obw'oluvannyuma ne buba bubi okusinga obwo obwasooka.”
65
Pilaato n'abagamba nti: “Mulina abakuumi. Mugende mukuumire ddala entaana nga bwe muyinza.”
66
Awo ne bagenda, ne banywereza ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28