bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 16
Matthew 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
1
Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumukema. Ne bamusaba abawe akabonero akabalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
2
Kyokka Yesu n'abaddamu nti: “Obudde bwe buba buwungeera, mugamba nti: ‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’
3
Ku makya, mugamba nti: ‘Olwaleero wanaabaayo omuyaga, kubanga eggulu limyuse, era lizimbagadde.’ Mumanyi okuvvuunula amakulu g'endabika y'eggulu, naye temusobola kutegeera bye mulaba mu kiseera kino!
4
Abantu ab'omulembe guno ababi, era abaava ku Katonda, basaba akabonero, naye tebaliweebwa kabonero kalala, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abavaako n'agenda.
5
Abayigirizwa bwe baatuuka emitala w'ennyanja, ne bajjukira nti tebaaleese migaati.
6
Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.”
7
Bo ne bagambagana nti: “Tetuleese migaati.”
8
Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Mmwe abalina okukkiriza okutono, lwaki mugambagana nti temulina migaati?
9
Temunnaba kutegeera, era temujjukira emigaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano, n'ebibbo bye mwakuŋŋaanya?
10
Ate emigaati omusanvu egyakkusa abantu enkumi ennya?
11
Kale lwaki temutegedde nti soogedde ku migaati, bwe mbagambye nti: Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo!”
12
Olwo ne bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula kwekuuma Abafarisaayo n'Abasaddukaayo bye bayigiriza.
13
Awo Yesu n'atuuka mu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba boogera ku Mwana w'Omuntu, bamuyita ani?”
14
Ne baddamu nti: “Abamu bamuyita Yowanne Omubatiza, abalala bagamba nti: ye Eliya, ate abalala nti: Yeremiya, oba omu ku balanzi.”
15
Awo ye n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?”
16
Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda Nnannyinibulamu.”
17
Yesu n'amugamba nti: “Simooni, omwana wa Yona, oli wa mukisa! Kubanga omuntu si ye yakumanyisa ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
18
Nange nkugamba nti: ggwe oli Peetero (ekitegeeza nti Lwazi), era ku lwazi luno, kwe ndizimbira ekibiina kyange eky'abakkiriza; n'amaanyi ag'emagombe tegalikisobola.
19
Ndikuwa ebisumuluzo by'Obwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu; kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.”
20
Awo n'akuutira abayigirizwa obutabuulirako muntu nti Ye, ye Kristo.
21
Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abayigirizwa be nti ateekwa okugenda e Yerusaalemu, n'okubonyaabonyezebwa ennyo abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.
22
Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya, n'agamba nti: “Nedda, Mukama wange, ekyo tekirikutuukako n'akatono!”
23
Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'agamba Peetero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Oli nkonge mu kkubo lyange, kubanga ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
24
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.
25
Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.
26
Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? Tewali kintu na kimu muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe.
27
Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika be, awe buli muntu empeera ye, ng'asinziira ku ebyo buli muntu bye yakola.
28
Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Omwana w'Omuntu ng'ajja mu Bwakabaka bwe.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28