bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 17
Matthew 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
1
Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, n'abooluganda Yakobo ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu.
2
Awo endabika ye n'efuuka nga balaba. Amaaso ge ne gaakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira.
3
Musa ne Eliya ne balabika nga boogera naye.
4
Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.”
5
Bwe yali ng'akyayogera, ekire ekitangalijja ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala, mumuwulirize.”
6
Abayigirizwa bwe baawulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise.
7
Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti: “Muyimuke, muleke kutya!”
8
Bwe baayimusa amaaso, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka.
9
Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.”
10
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya y'ateekwa okusooka okujja?”
11
Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya y'ateekwa okusooka okujja, era alitereeza byonna.
12
Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, abantu ne batamutegeera, era ne bamukolako byonna bye baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'Omuntu balimubonyaabonya.”
13
Olwo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera ku Yowanne Omubatiza.
14
Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu omu n'ajja eri Yesu n'amufukaamirira,
15
nga bw'agamba nti: “Ssebo, kwatirwa mutabani wange ekisa, kubanga mulwadde wa nsimbu, ali bubi nnyo. Emirundi mingi agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi.
16
Namuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.”
17
Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere wano.”
18
Awo Yesu n'aboggolera omwoyo omubi, ne guva ku mulenzi, n'awona mu kaseera ako.
19
Abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama, ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?”
20
Yesu n'abaddamu nti: “Kubanga temulina kukkiriza kumala. Mazima mbagamba nti: singa muba n'okukkiriza wadde okutono ng'akasigo ka kaladaali, muyinza okugamba olusozi luno nti: ‘Va wano, genda wali,’ ne lugenda, era tewali kiribalema. [
21
Naye omwoyo omubi ogw'engeri eno, tegugobeka ku muntu awatali kusaba Katonda era n'okusiba.”]
22
Abayigirizwa bwe baakuŋŋaanira mu Galilaaya, Yesu n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu,
23
era bajja kumutta. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo.
24
Yesu n'abayigirizwa be bwe batuuka e Kafarunawumu, abasolooza omusolo ogw'Essinzizo ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti: “Mukama wammwe tawa musolo gwa Ssinzizo?”
25
N'addamu nti: “Awa.” Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n'amwesooka, n'agamba nti: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi, empooza oba omusolo babiggya ku bantu ki? Ku baana baabwe, oba ku bantu balala?”
26
Peetero n'addamu nti: “Ku balala.” Yesu n'amugamba nti: “N'olwekyo abaana tebateekwa kuwa.
27
Naye obutabeesittaza, genda osuule eddobo mu nnyanja, ekyennyanja ky'onoosooka okukwasa, bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu ssente, ogitwale ogibawe, esasulire nze naawe.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28