bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 13
Matthew 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
1
Ku lunaku olwo Yesu bwe yava mu nnyumba, n'alaga ku lubalama lw'Ennyanja, n'atuula.
2
Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali. Kyeyava asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo, ekibiina ky'abantu kyonna ne kiyimirira ku lubalama.
3
N'ayogera nabo bingi mu ngero, n'agamba nti: “Omusizi yagenda okusiga ensigo.
4
Bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya.
5
Endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi, amangwago ne zimera, kubanga ettaka lyabuguumirira mangu olw'obutaba ggwanvu. Omusana bwe gwayaka ennyo, ne ziwotookerera;
6
era olw'okuba ng'emirandira gyazo gyali tegisse nnyo wansi mu ttaka, ne zikala.
7
Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaakula, ne gazitta.
8
N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo kikumi; ebirala, ensigo nkaaga, n'ebirala, ensigo amakumi asatu.
9
Alina amatu, awulire.”
10
Awo abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11
N'abaddamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa.
12
Kubanga buli alina aliweebwa, n'aba na bingi nnyo. Ate buli atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.
13
Kyenva njogera nabo mu ngero, kubanga batunula, naye tebalaba. Bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera.
14
Era omulanzi Yisaaya kye yalanga, kituukirira ku bo, ekigamba nti: ‘Weewaawo muliwulira, naye temulitegeera. Weewaawo muliraba, naye temulyetegereza.
15
Omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibikidde, n'amaaso gaabwe bagazibirizza. Sikulwa nga balaba n'amaaso, nga bategeera n'omutima, era nga bakyuka ne mbawonya.’
16
“Naye mmwe muli ba mukisa, kubanga amaaso gammwe galaba, n'amatu gammwe gawulira.
17
Mazima mbagamba nti abalanzi bangi n'abantu abalungi beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.
18
“Kale nno mmwe muwulire amakulu g'olugero lw'omusizi.
19
Abo abawulira ekigambo ekifa ku Bwakabaka ne batakitegeera, ze nsigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Omubi ajja n'anyaga ekisigiddwa mu mitima gyabwe.
20
Ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu.
21
Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, balwawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka.
22
Ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi.
23
Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda ne bakitegeera, ne bakola ebikolwa ebirungi: mu bamu ne byeyongera emirundi kikumi, mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala, emirundi amakumi asatu.”
24
Yesu n'abaleetera olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye.
25
Kyokka abantu bwe baali nga beebase, omulabe we n'ajja, n'asiga mu ŋŋaano omuddo ogufaanana nga yo, n'agenda.
26
Ebimera bwe byakula, ne bibala ebirimba, olwo omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ne gulabika.
27
Abaddu ba nnannyini nnimiro ne bajja ne bamugamba nti: ‘Ssebo, ensigo ennungi si gye wasiga mu nnimiro yo? Kale omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano gwava wa?’
28
N'abaddamu nti: ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu ne bamugamba nti: ‘Oyagala tugende tugukoolemu?’
29
N'agamba nti: ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukoolamu omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, muyinza okukuuliramu n'eŋŋaano yennyini.
30
Muleke byombi bikulire wamu okutuuka amakungula. Mu kiseera eky'amakungula, ndigamba abakunguzi nti: Musooke mukuŋŋaanye omuddo, mugusibe ebinywa gwokebwe, naye eŋŋaano mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”
31
Yesu n'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasiga mu nnimiro ye.
32
Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna. Naye bwe kamera ne kakula, kaba kanene okusinga ebimera eby'enva ebirala byonna. Ne kavaamu omuti, ebinyonyi ne bijja, ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
33
Yesu n'abaleetera olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
34
Yesu ebyo byonna abantu yabibabuulira mu ngero. Teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero.
35
Yakolanga ekyo okutuukiriza omulanzi kye yayogera, ekigamba nti: “Ndyogera mu ngero; ndyatula ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.”
36
Awo Yesu n'asiibula ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero lw'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ogwali mu nnimiro.”
37
Yesu n'addamu nti: “Asiga ensigo ennungi, ye Mwana w'Omuntu.
38
Ennimiro, ye nsi. Ensigo ennungi, be bantu ab'omu Bwakabaka bwa Katonda. Omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, be bantu ab'Omubi.
39
Ate omulabe eyagusiga, ye Sitaani. Amakungula, ye nkomerero y'ensi. Abakunguzi, be bamalayika.
40
Kale nno ng'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano bwe gukuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu nnimiro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi.
41
Omwana w'Omuntu alituma bamalayika be, ne baggya mu Bwakabaka bwe abo bonna abasuula abantu mu kibi, n'abamenyi b'amateeka,
42
ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.
43
Olwo abantu abalungi balyakaayakana ng'enjuba mu Bwakabaka bwa Kitange. ‘Alina amatu, awulire.’
44
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, n'akikweka, era olw'essanyu erimukutte, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'agula ennimiro eyo.
45
“Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'omuntu omusuubuzi, anoonya amayinja ag'omuwendo.
46
Bw'azuula ejjinja erimu ery'omuwendo ennyo, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'aligula.
47
“Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri.
48
Bwe kajjula, ne bakasika okukatuusa ku lubalama. Ne batuula, ne balondamu ebirungi, ne babiteeka mu bisero, ebibi ne babisuula.
49
Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. Bamalayika balijja ne baawula abantu ababi mu balungi,
50
ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.
51
“Ebyo byonna mubitegedde?” Ne bamugamba nti: “Weewaawo.”
52
N'abagamba nti: “Kale nno buli munnyonnyozi w'amateeka afuuse omuyigirizwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, afaanaanyirizibwa n'omuntu alina ennyumba ye: aggya mu kisenge mw'atereka, ebintu ebiggya n'ebikadde.”
53
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza engero ezo, n'ava mu kifo ekyo,
54
n'ajja mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono amagezi gano yagaggya wa, n'eby'amaanyi by'akola?
55
Ono si ye mwana w'omubazzi? Nnyina si ye ayitibwa Mariya? Ne baganda be si Yakobo ne Yosefu, ne Simooni ne Yuda?
56
Ne bannyina bonna tebabeera kwaffe? Kale ebyo byonna abiggya wa?”
57
Awo ne bamukwatirwa obuggya. Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
58
Era teyakolerayo byamagero bingi, kubanga tebaalina kukkiriza.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28