bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 5
Matthew 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
1
Awo Yesu bwe yalaba abantu abangi bwe batyo, n'ayambuka ku lusozi. Bwe yamala okutuula, abayigirizwa be ne bajja w'ali,
2
n'atandika okubayigiriza, n'agamba nti:
3
“Ba mukisa abeesiga Katonda yekka okubayamba: kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
4
“Ba mukisa abakungubaga; kubanga abo balikubagizibwa.
5
“Ba mukisa abateefu; kubanga abo baliweebwa ensi, Katonda gye yabasuubiza.
6
“Ba mukisa abalumwa enjala n'ennyonta ey'okukola Katonda by'ayagala: kubanga abo balikkusibwa.
7
“Ba mukisa ab'ekisa; kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8
“Ba mukisa ab'omutima omulongoofu; kubanga abo baliraba Katonda.
9
“Ba mukisa abatabaganya; kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10
“Ba mukisa abayigganyizibwa olw'okukola Katonda by'ayagala; kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
11
“Muli ba mukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayirizanga buli kigambo kibi nga babalanga nze.
12
Musanyuke, mujaganye, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. N'abalanzi abaasooka mmwe okubaawo, bwe batyo bwe baayigganyizibwa.
13
“Mmwe munnyo gw'ensi. Naye singa omunnyo gusaabulukuka, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa, wabula gusuulibwa wabweru, abantu ne bagulinnyirira.
14
“Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekizimbiddwa ku lusozi tekiyinza kukisibwa.
15
Era tebakoleeza ttaala ne bagikweka mu kibbo, wabula bagiwanika ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nnyumba.
16
Ekitangaala kyammwe kiteekwa okwakira bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke batendereze Kitammwe ali mu ggulu.
17
“Muleke kulowooza nti najja kudibya Mateeka oba ebyo abalanzi bye bayigiriza. Sajja kubidibya, wabula okubituukiriza.
18
Mazima mbagamba nti eggulu n'ensi nga bikyaliwo, ennukuta emu, wadde akatonnyeze akamu tekalidibizibwa mu Mateeka, okutuusa byonna lwe birituukirira.
19
“Kale nno buli adibya erimu ku mateeka ago, wadde agasinga obutono, era n'ayigiriza bw'atyo abantu, aliyitibwa asembayo mu Bwakabaka obw'omu ggulu. Kyokka oyo akwata Amateeka, n'ayigiriza n'abalala okugakwata, aliyitibwa mukulu mu Bwakabaka obw'omu ggulu.
20
Mbagamba nti: bwe mutaabenga beesigwa okusinga abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo mu kukola Katonda by'ayagala, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu.
21
“Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti: ‘Tottanga muntu. Alitta omuntu, aliwozesebwa.’
22
Naye nze mbagamba mmwe nti: buli muntu asunguwalira muganda we, aliwozesebwa. Oyo ayita muganda we ‘Ekitagasa’, alireetebwa mu maaso g'olukiiko olukulu. Ate aliyita muganda we ‘Omusirusiru’, asaanira okusuulibwa mu muliro ogutazikira.
23
“Kale nno bw'obanga oleeta ekirabo kyo ku alutaari, n'ojjuukirira eyo nga muganda wo aliko ekigambo ky'akwemulugunyiza,
24
leka awo ekirabo kyo, mu maaso ga alutaari, ogende, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo, oweeyo ekirabo kyo.
25
“Bw'oba ng'ogenda n'omuntu akuwawaabira, tabagana naye mangu nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'osuulibwa mu kkomera.
26
Mazima nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo.
27
“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Toyendanga.’
28
Naye nze mbagamba mmwe nti: buli atunuulira omukazi olw'okumwegomba, ng'amwenzeeko mu mutima gwe.
29
Singa eriiso lyo erya ddyo likukozesa ekibi, liggyeemu, olisuule wala. Kikugasa okufiirwa ekimu ku bitundu by'omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gusuulibwa mu muliro ogutazikira.
30
Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ekibi, gutemeko, ogusuule wala. Kikugasa okufiirwa ekimu ku bitundu by'omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gusuulibwa mu muliro ogutazikira.
31
“Baagambibwa era nti: ‘Buli agoba mukazi we, amuwanga ebbaluwa ekakasa nti amugobye!’
32
Naye nze mbagamba mmwe nti buli agoba mukazi we, okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, aba amusudde mu bwenzi. N'oyo awasa gwe bagobye, aba ayenze.
33
“Era mwawulira abantu edda bwe baagambibwa nti: ‘Tolayiranga bya bulimba, naye by'osuubizza Mukama ng'olayira, obituukirizanga.’
34
Naye nze mbagamba mmwe obutalayiranga n'akatono: newaakubadde okulayira eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda,
35
newaakubadde ensi, kubanga Katonda gy'ateekako ebigere bye. Temulayiranga wadde Yerusaalemu, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.
36
Era tolayiranga newaakubadde omutwe gwo, kubanga oluviiri olumu toyinza kulufuula lweru oba luddugavu.
37
Mugambenga nti: ‘Weewaawo,’ oba nti ‘Si weewaawo’ Ebisinga ku ebyo biva mu Mubi.
38
“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Eriiso ligattibwa liiso, erinnyo ligattibwa linnyo.’
39
Naye nze mbagamba mmwe nti: temuziyizanga mubi, wabula omuntu bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala.
40
“Omuntu ayagala okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekkooti.
41
Era buli akuwalirizanga okutambula naye kilomita emu, otambulanga naye kilomita bbiri.
42
Akusabanga omuwanga, era ayagala okukwewolako, tomwegobangako.
43
“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Oyagalanga munno, n'okyawa omulabe wo.’
44
Naye nze mbagamba mmwe nti: mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya,
45
mulyoke mube abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza abalungi n'ababi, era atonnyeseza enkuba abakola obulungi n'abakola obubi.
46
“Kale singa munaayagalanga abo nammwe ababaagala, mulifuna mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bwe bakola?
47
Era singa munaalamusanga baganda bammwe bokka, kye mukoze ekyeyongeddeko okusinga eky'abalala kiruwa? Abantu ab'ensi nabo si kye bakola?
48
“Kale nno mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28