bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 20
Matthew 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
1
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu nnannyini nnimiro y'emizabbibu, eyakeera ku makya ennyo okunoonya abakozi ab'okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu.
2
“Bwe yamala okukkiriziganya nabo okubasasula denaari emu olunaku, n'abasindika okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu.
3
Era n'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde awo mu katale, nga tebalina kye bakola.
4
N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu mukole, nnaabasasula ekibasaanira.’
5
Ne bagenda. N'afuluma nate ku ssaawa nga mukaaga, ne ku ssaawa nga mwenda, n'akola ekintu kye kimu.
6
Era ne ku ssaawa nga kkumi n'emu n'afuluma, n'asanga abalala nga bayimiridde, n'ababuuza nti: ‘Lwaki muyimiridde wano olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
7
“Ne bamuddamu nti: ‘Kubanga tewali yatututte kumukolera.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’
8
“Obudde bwe bwawungeera, nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba musajja we alabirira abakozi, nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe, ng'otandikira ku baasembyeyo okujja okukola, osembyeyo abaasoose ku mulimu.’
9
“Abo abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne basasulwa denaari emu buli omu.
10
Ababereberye ku mulimu bwe bajja okusasulwa, ne balowooza nti banaafuna kinene okusinga ku kya bali kye bafunye. Naye nabo ne bafuna denaari emu buli omu.
11
“Bwe baazifuna, ne beemulugunyiza nnannyini nnimiro,
12
nga bagamba nti: ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obasasula kye kimu nga ffe abaakoze omulimu olunaku lwonna, nga n'essana litwokya?’
13
Kyokka ye n'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikulyazaamaanyizza. Tewalagaanye nange denaari emu?
14
Twala eyiyo, ogende. Njagadde okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe.
15
Sikkirizibwa kukozesa byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya kubanga ndi mulungi?’
16
“Bwe batyo ab'oluvannyuma, baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye, baliba ab'oluvannyuma.”
17
Yesu bwe yali ng'ayambuka e Yerusaalemu, n'azza ku bbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti:
18
“Laba twambuka e Yerusaalemu, era eyo Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa,
19
era bamuweeyo mu b'amawanga amalala okumusekerera, n'okumukubisa embooko eriko amalobo agasuna, n'okumukomerera ku musaalaba. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
20
Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja ne batabani be eri Yesu, n'amufukaamirira, n'abaako ky'amusaba.
21
Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” N'amuddamu nti: “Suubiza nti mu Bwakabaka bwo, batabani bange bano bombi, balituula nga bakuliraanye, omu ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.”
22
Yesu n'addamu nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamuddamu nti: “Tusobola.”
23
Yesu n'abagamba nti: “Ddala ekikopo kyange eky'okubonaabona mulikinywako. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa Kitange.”
24
Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira abooluganda bombi.
25
Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali. N'abagamba nti “Mumanyi ng'abafuzi b'abantu ab'ensi baagala kuweerezebwa. Era ababa n'obuyinza, bafugisa bukambwe.
26
Naye mu mmwe, si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne.
27
Era buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe, ateekwa okuba omuddu wa bonna,
28
okufaanana ng'Omwana w'Omuntu, atajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe, ng'omutango okununula abangi.”
29
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bava e Yeriko, ekibiina ky'abantu kinene ne kimugoberera.
30
Bamuzibe babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, ne bawulira nti Yesu ayitawo, ne batandika okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
31
Abantu ne bababoggolera basirike. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
32
Awo Yesu n'ayimirira n'abayita, n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?”
33
Ne baddamu nti: “Ssebo tuzibule amaaso.”
34
Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe. Amangwago ne basobola okulaba, ne bagenda naye.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28