bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 14
Matthew 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
1
Mu kiseera ekyo, Herode omufuzi n'awulira ettutumu lya Yesu.
2
N'agamba basajja be nti: “Ono ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.”
3
Herode yali akutte Yowanne n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera, ng'agenderedde okusanyusa Herodiya, muka Filipo, muganda wa Herode.
4
Kubanga Yowanne yagambanga Herode nti: “Tokkirizibwa kumusigula n'omufuula owuwo.”
5
Herode n'ayagala okutta Yowanne, kyokka n'atya abantu, kubanga baali bamanyi nti Yowanne mulanzi.
6
Ku lunaku lw'amazaalibwa ga Herode, muwala wa Herodiya n'azina mu maaso ga bonna. Herode n'asanyuka
7
N'alayira n'okulayira, n'amusuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaamusaba.
8
Omuwala n'akolera ku magezi nnyina ge yamuwa, n'agamba nti: “Mpa omutwe gwa Yowanne Omubatiza nga guteekeddwa wano ku ssowaani.”
9
Kabaka n'anakuwala nnyo, kyokka olw'okubanga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'alagira gumuweebwe.
10
N'atuma mu kkomera ne batemako Yowanne omutwe.
11
Ne baguleetera ku ssowaani, ne baguwa omuwala, ye n'agutwalira nnyina.
12
Abayigirizwa ba Yowanne ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne baguziika. Ne bagenda ne babuulira Yesu.
13
Awo Yesu bwe yawulira ebyo, n'ava mu kifo ekyo, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kifo eky'eddungu, asobole okuba yekka. Abantu bangi bwe baamanya, ne bava mu bibuga ne bamugoberera, nga bayita ku lukalu.
14
Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, n'awonya abalwadde baabwe.
15
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buwungedde. Abantu basiibule, bagende beegulire emmere mu bubuga.”
16
Yesu n'abagamba nti: “Tewali kibeetaagisa kugenda, mmwe muba mubawa emmere balye.”
17
Ne bamugamba nti: “Tetulina kantu wano, okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
18
Yesu n'agamba nti: “Mubindeetere wano.”
19
N'alagira abantu okutuula ku muddo, n'atoola emigaati etaano, n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira abantu.
20
Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.
21
Abo abaalya, baali abasajja ng'enkumi ttaano, awatali kubala bakazi na baana.
22
Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulembere, bagende emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu.
23
Bwe yamala okusiibula abantu, n'ayambuka ku lusozi yekka okusinza Katonda. Obudde ne buwungeera nga Yesu ali eyo yekka.
24
Abayigirizwa baali mu lyato ku nnyanja, eryato nga lisundibwa amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso.
25
Obudde bwali bunaatera okukya, Yesu n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi.
26
Bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti: “Omuzimu!” Ne baleekaana olw'okutya.
27
Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mugume omwoyo, ye Nze, temutya!”
28
Awo Peetero n'amuddamu nti: “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambula ku mazzi.”
29
Yesu n'agamba nti: “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambula ku mazzi okugenda eri Yesu.
30
Kyokka bwe yalaba omuyaga, n'atya. N'atandika okukka mu mazzi, n'aleekaana nti: “Mukama wange, mponya!”
31
Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono! Lwaki obuusizzabuusizza?”
32
Bombi bwe baasaabala mu lyato, omuyaga ne guggwaawo.
33
Abaali mu lyato ne basinza Yesu nga bwe bagamba nti: “Ddala, oli Mwana wa Katonda!”
34
Bwe baava ku nnyanja, ne batuuka mu kitundu eky'e Gennesareeti.
35
Abantu baayo Yesu bwe baamutegeera, ne batuma mu kitundu ekyo kyonna, ne bamuleetera abalwadde bonna,
36
ne bamwegayirira akkirize waakiri bakwate ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Era bonna abaakwatako, ne bawona.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28