bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 11
Matthew 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
1
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza by'alagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ava mu kifo ekyo, n'agenda okuyigiriza n'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu bibuga byabwe.
2
Yowanne Omubatiza bwe yali mu kkomera, n'awulira Kristo by'akola, n'atuma abamu ku bayigirizwa be
3
okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?”
4
Yesu n'abaddamu nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye muwulira ne bye mulaba:
5
ababadde bamuzibe balaba, ababadde abalema batambula, abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi.
6
Wa mukisa atambuusabuusaamu.”
7
Abo bwe baagenda, Yesu n'atandika okutegeeza abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo?
8
Kale mwagenda kulaba ki? Abo abambala engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ezinekaaneka, basangibwa mu mbiri za bakabaka.
9
Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala, mbagamba nti asinga n'omulanzi.
10
Kubanga Yowanne ono, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, nze ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'olaga.’
11
“Mazima mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, asinga Yowanne ono ekitiibwa.
12
“Okuva Yowanne Omubatiza lwe yajja, okutuusa kati, Obwakabaka obw'omu ggulu bulwanyisibwa n'amaanyi, era ab'amaanyi babunyaga.
13
Amateeka n'abalanzi bonna, okutuusa Yowanne lwe yajja, baalanga ebifa ku Bwakabaka.
14
Era oba nga mwagala okumanya, Yowanne ye Eliya ateekwa okujja.
15
Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16
“Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Bafaanana ng'abaana abato abatuula mu katale, ne bakoowoola bannaabwe,
17
ne bagamba nti: ‘Twabafuuyira endere, ne mutazina! Twakuba ebiwoobe, ne mutakaaba!’
18
“Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa, ne bagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi.’
19
Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Omuntu ono wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’ Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.”
20
Awo Yesu n'atandika okunenya ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga abantu baamu tebeenenya. N'agamba nti:
21
“Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza
22
Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe.
23
“Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumira okutuuka mu bire? Nedda, ogenda kussibwa wansi emagombe: kubanga ebyamagero ebyakolerwa mu ggwe, singa byali bikoleddwa mu Sodoma, singa weekiri ne kaakano.
24
Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Sodoma kiribonerezebwa katono okusinga ggwe.”
25
Mu kiseera ekyo, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato.
26
Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala.
27
“Kitange byonna yabimpa, ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange, era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.
28
“Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakoze ne mukoowa n'abazitoowereddwa, nze nnaabawummuza.
29
Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era mwetoowaze mu mwoyo, mulizuulira emyoyo gyammwe ekiwummulo.
30
Kubanga ekikoligo kye mbawa kyangu, n'omugugu gwe mbatikka si muzito.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28