bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 21
Matthew 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
1
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali basemberedde ekibuga Yerusaalemu, nga batuuse e Betufaage, okumpi n'Olusozi olw'emiti Emizayiti, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri,
2
n'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangwago, mujja kulaba endogoyi esibiddwa nga eri n'omwana gwayo. Muzisumulule, muzindeetere.
3
Singa wabaawo abavunaana, mugamba nti: ‘Mukama waffe azeetaaga’, olwo ye ajja kuziweereza mangu.”
4
Kino kyabaawo okutuukiriza ekyo omulanzi kye yayogera nti:
5
“Mubuulire abantu b'e Siyooni nti: Laba, Kabaka wammwe ajja gye muli. Muteefu, era yeebagadde endogoyi, yeebagadde omwana gw'endogoyi.”
6
Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira.
7
Ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bazissaako ekkooti zaabwe, ne bazeebagazaako Yesu.
8
Abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne batema obutabi ku miti, ne babwaliira mu kkubo.
9
Abantu abangi abaali bamukulembedde, era n'abo abaali bava emabega, ne baleekaana nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama aweereddwa omukisa! Mukama ali mu ggulu atenderezebwe!”
10
Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma. Abakirimu ne babuuza nti: “Oyo ani?”
11
Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Ono ye mulanzi, Yesu ow'e Nazaareeti eky'e Galilaaya.”
12
Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abo bonna abaali batundiramu, n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batundiramu enjiibwa.
13
N'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”
14
Awo bamuzibe n'abalema ne bajja awali Yesu mu Ssinzizo, n'abawonya.
15
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baalaba ebyamagero bye yakola, era ne balaba abaana nga baleekaana mu Ssinzizo, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi atenderezebwe,” ne banyiiga.
16
Ne bagamba nti: “Owulira abo bye bagamba?” Yesu n'abaddamu nti: “Weewaawo. Temusomangako ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Wagunjula abaana abawere n'abayonka okuwa ettendo ettuufu?’ ”
17
N'abaawukanako, n'afuluma ekibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo.
18
Enkeera ku makya, Yesu bwe yali addayo mu kibuga, n'alumwa enjala.
19
N'alengera omuti gumu omutiini ku mabbali g'ekkubo. N'agutuukako, n'atagusangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Toddangayo okubala ebibala emirembe gyonna!” Amangwago omutiini ne gukala.
20
Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne beewuunya! Ne bagamba nti: “Omutiini gukaze gutya amangu?”
21
Yesu n'abaddamu nti: “Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza nga temubuusabuusa, munaayinzanga okukola kye nkoze ku mutiini ogwo. Era si ekyo kyokka, naye munaayinzanga n'okugamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja,’ ne kituukirira.
22
Era singa muba n'okukkiriza, byonna bye munaasabanga Katonda nga mumusinza, munaabifunanga.”
23
Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?”
24
Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino.
25
Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’
26
Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.”
27
Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino.
28
“Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’
29
Ye n'addamu nti: ‘Ŋŋaanye.’ Kyokka oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda n'akola.
30
Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda.
31
Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda,
32
kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.”
33
“Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu ssemaka, eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala.
34
Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma abaddu be eri abapangisa, bamuwe ebibala ebibye.
35
Kyokka abapangisa ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, n'omulala ne bamukasuukirira amayinja.
36
N'ayongera okutuma abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye. Era ne babakola ekintu kye kimu.
37
Oluvannyuma n'abatumira omwana we ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamussaamu ekitiibwa.’
38
Naye abapangisa bwe baalaba omwana oyo, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika! Mujje tumutte, obusika buliba bwaffe.’
39
Ne bamukwata, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta.
40
“Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, alikola atya abapangisa abo?”
41
Ne bamuddamu nti: “Ababi abo alibazikiririza ddala, era ennimiro y'emizabbibu aligissaamu abapangisa abalala, abanaamuwanga ebibala mu kiseera ekituufu.”
42
Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako ekyo ebyawandiikibwa kye bigamba? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’
43
“N'olwekyo mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako mmwe, ne buweebwa abantu abalikola ebikolwa ebibusaanira. [
44
Buli agwa ku jinja eryo, alimenyekamenyaka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”]
45
Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero za Yesu, ne bategeera nti ayogedde ku bo.
46
Ne bagezaako okumukwata, naye ne batya ekibiina ky'abantu, kubanga kyali kimanyi nti Yesu mulanzi.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28