bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 3
Matthew 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
1
Mu nnaku ezo, Yowanne Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya,
2
n'ategeeza abantu nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”
3
Yowanne ye wuuyo Yisaaya omulanzi gw'ayogerako nti: “Waliwo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.’ ”
4
Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.
5
Abantu baavanga e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu kitundu ekiriraanye Omugga Yorudaani, ne bajja gy'ali.
6
Ne baatula ebibi byabwe, n'ababatiza mu mugga Yorudaani.
7
Bwe yalaba ng'Abafarisaayo bangi n'Abasaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
8
Mukole bikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe.
9
Era muleke kweyinula nga mugamba nti: ‘Tulina kitaffe Aburahamu.’ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abaana ng'abaggya mu mayinja gano.
10
Mufaanaanyirizibwa n'emiti: kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.
11
Nze mbabatiza na mazzi okulaga nti mwenenyezza, kyokka oyo anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, sisaanira na kukwata ngatto ze. Oyo alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro.
12
Akutte mu ngalo olugali, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero, ate byo ebisusunku abyokye n'omuliro ogutazikira.”
13
Awo Yesu n'ava e Galilaaya, n'atuuka ku Mugga Yorudaani eri Yowanne, abatizibwe Yowanne.
14
Kyokka Yowanne n'agezaako okumuziyiza ng'agamba nti: “Nze nanditeekeddwa okubatizibwa ggwe, naye ate ggwe ojja gye ndi?”
15
Yesu n'amuddamu nti: “Leka kibe bwe kityo kaakano, kubanga mu ngeri eno tujja kutuukiriza ekyo Katonda ky'ayagala.” Awo Yowanne n'akkiriza.
16
Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangwago n'ava mu mazzi, awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye.
17
Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa era gwe nsiimira ddala.” Luk 9:35
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28