bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 15
Matthew 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
1
Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne bava e Yerusaalemu, ne bajja awali Yesu, ne bagamba nti:
2
“Lwaki abayigirizwa bo tebafa ku bulombolombo bwa bajjajjaffe? Bwe baba bagenda okulya emmere, tebanaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwe bulagira?”
3
Yesu n'abaddamu nti: “Lwaki nammwe temufa ku kiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe?
4
Kubanga Katonda yagamba nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’
5
Naye mmwe mugamba nti: ‘Buli ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye nandikuwadde okukuyamba, kiweereddwayo eri Katonda,’
6
aba takyawalirizibwa kuyamba kitaawe. Bwe mutyo mwadibya ekiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe.
7
Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti:
8
‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe, tegindiiko.
9
N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo by'abantu obuntu bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ ”
10
Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Muwulirize era mwetegereze:
11
ebyo omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo by'ayogera bye bizoonoona.”
12
Awo abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?”
13
Yesu n'addamu nti: “Buli kimera ekitaasimbibwa Kitange ow'omu ggulu, kirisimbulwa.
14
Mubaleke abo bakulembeze bamuzibe. Muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.”
15
Awo Peetero n'amuddamu nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero olwo.”
16
Yesu n'agamba nti: “Nammwe temutegedde?
17
Temulaba nti buli kintu ekiriibwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kifuluma?
18
Naye ebyogerwa biva mu mutima, era ebyo bye byonoona empisa z'omuntu.
19
Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okwogera obubi ku balala.
20
Bino bye byonoona empisa z'omuntu. Naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo ng'obulombolombo bwe bulagira, tekizoonoona.”
21
Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaga mu kitundu ky'e Tiiro ne Sidoni.
22
Omukazi Omukanaani, munnansi w'ekitundu ekyo, n'ajja gy'ali, n'aleekaana ng'agamba nti: “Nkwatirwa ekisa, Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi! Muwala wange aliko omwoyo omubi, gumubonyaabonya!”
23
Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja w'ali ne bamwegayirira nti: “Mugobe, kubanga ajja atuleekaanira!”
24
Yesu n'addamu nti: “Saatumibwa walala okuggyako eri abantu ba Yisirayeli abaabula.”
25
Awo omukazi n'ajja n'asinza Yesu nga bw'agamba nti: “Ssebo, nnyamba!”
26
Yesu n'addamu nti: “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'esuulirwa obubwa.”
27
Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'obubwa, bulya ku bukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”
28
Yesu n'amuddamu nti: “Mukazi wattu, olina okukkiriza kunene! Kikukolerwe nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona mu kiseera ekyo.
29
Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'ajja ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'ayambuka ku lusozi n'atuula.
30
Abantu bangi nnyo ne bajja w'ali nga baleese abalema, bamuzibe, abakonzibye, ne bakasiru, n'abalwadde abalala bangi. Ne babassa kumpi n'ebigere bye, n'abawonya.
31
Abantu ne bawuniikirira nga balaba ababadde bakasiru boogera, ababadde bakonzibye balamu, ababadde abalema batambula, ababadde bamuzibe balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
32
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Saagala kubasiibula ng'enjala ebaluma, sikulwa nga bazirikira mu kkubo.”
33
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu ddungu tunaggya wa emmere emala okukkusa abantu abangi bwe batyo?”
34
Yesu n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti: “Musanvu, n'obwennyanja mpa we buzira.”
35
Awo n'alagira abantu batuule wansi.
36
N'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be, abayigirizwa ne babigabira abantu.
37
Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo musanvu.
38
Abo abaalya, baali abasajja enkumi nnya, awatali kubala bakazi na baana.
39
Awo Yesu n'asiibula abantu, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kitundu ky'e Magadani.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
Recommended Reading
Commentary
Matthew Commentaries
→
Devotional
Matthew Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→