bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 8
Matthew 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
1
Yesu bwe yava ku lusozi, ekibiina ky'abantu ne kimu goberera.
2
Awo omugenge n'ajja gy'ali n'amusinza, n'agamba nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
3
Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako.
4
Yesu n'amugamba nti: “Laba, tobuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”
5
Yesu bwe yayingira mu Kibuga Kafarunawumu, Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira
6
ng'agamba nti: “Ssebo, omuddu wange ali waka, obulwadde bumugongobazizza, alumizibwa nnyo.”
7
Yesu n'amugamba nti: “Ka njije, mmuwonye.”
8
Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale n'addamu nti: “Ssebo, sisaanira, ggwe okuyingira mu nnyumba yange, wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona.
9
Nange ndi muntu mutwalibwa, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti ‘Genda’, agenda; n'omulala nti ‘Jjangu’, ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino’, akikola.”
10
Yesu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti: sisanganga alina kukkiriza nga kuno wadde mu bantu ba Yisirayeli!
11
Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne batuula ku mbaga ne Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw'omu ggulu,
12
naye abo abandibubaddemu, ne bagoberwa ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.”
13
Awo Yesu n'agamba Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale nti: “Genda, kikukolerwe nga bw'okkirizza.” Omuddu n'awona mu kaseera ako.
14
Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyina wa muka Peetero ng'ali ku ndiri, omusujja gumuluma.
15
N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako, n'agolokoka, n'aweereza Yesu.
16
Obudde nga buwungedde, ne baleetera Yesu abantu bangi abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako ng'agiboggolera, era bonna abaali balwadde, n'abawonya.
17
Ekyo kyali bwe kityo, omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Ye yennyini yatwala obuyongobevu bwaffe, n'aggyawo endwadde zaffe.”
18
Yesu bwe yalaba ng'abantu bangi nnyo bamwetoolodde, n'alagira nti: “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja.”
19
Awo omunnyonnyozi w'amateeka omu n'ajja, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.”
20
Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu. Naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.”
21
Omuntu omulala, omu ku bayigirizwa be, n'amugamba nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”
22
Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yita nange, leka abo abali ng'abafu, baziike abafu baabwe.”
23
Awo Yesu n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne ba genda naye.
24
Omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gabikka eryato. Yesu yali yeebase.
25
Abayigirizwa be ne basembera w'ali, ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Mukama waffe, tuwonye, tufa!”
26
Yesu n'abagamba nti: “Lwaki mutidde? Nga mulina okukkiriza kutono!” N'agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteekera ddala.
27
Bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga n'amayengo bimuwulira!”
28
Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja, mu nsi y'Abagadara, abantu babiri abaliko emyoyo emibi, ne bamusisinkana nga bava mu mpuku eziziikibwamu abafu. Abasajja bano baali bakambwe nnyo, nga tewali muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo.
29
Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze okutubonyaabonya ng'ekiseera tekinnatuuka?”
30
Waaliwo eggana ddene ery'embizzi nga zeesuddeko akabanga okuva we baali, nga zirya.
31
Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Oba ng'otugoba ku bantu bano tusindike mu ggana ly'embizzi.”
32
Yesu n'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibavaako, ne giyingira mu mbizzi. Eggana lyonna ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifiira mu mazzi.
33
Abaali bazirabirira ne badduka, ne balaga mu kibuga, ne bannyonnyola byonna, n'ebikwata ku bali abaabaddeko emyoyo emibi.
34
Bonna ne bava mu kibuga okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28