bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 24
Matthew 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
1
Awo Yesu n'ava mu Ssinzizo. Bwe yali ng'agenda, abayigirizwa be ne bajja w'ali, okumulaga enzimba y'Essinzizo.
2
Ye n'abaddamu nti: “Bino byonna mubiraba? Mazima mbagamba nti: mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
3
Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'emiti Emizayiti, abayigirizwa ne bajja w'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga okujja kwo, n'enkomerero y'ensi?”
4
Yesu n'abaddamu nti: “Mwerinde, waleme kubaawo ababuzaabuza.
5
Kubanga bangi balijja nga beeyita nze, Kristo, era balibuzaabuza bangi.
6
Muliwulira entalo wano ne wali. Mwerinde muleme kweraliikirira. Ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
7
Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo enjala n'okukankana kw'ensi mu bitundu bingi.
8
Naye olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
9
“Mmwe balibakwata, ne babawaayo mubonyaabonyezebwe, era mulittibwa. Abantu bonna balibakyawa mmwe olw'okuba muli bagoberezi bange.
10
Olwo bangi baliterebuka, baliryaŋŋanamu olukwe, era balikyawagana.
11
N'abalanzi ab'obulimba balirabika, ne babuzaabuza bangi.
12
Olw'obujeemu okuyinga obungi, okwagala kw'abangi kuliwola.
13
Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.
14
Era Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka galitegeezebwa abantu mu nsi zonna, okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n'eryoka etuuka.
15
“Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekyenyinyalwa, Daniyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu kifo ekitukuvu, (oyo asoma bino ategeere),
16
olwo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi.
17
Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala.
18
Aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye.
19
Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo!
20
Mwegayirire Katonda, ekiseera kye muteekwa okuddukiramu kireme kubaawo mu biseera eby'obutiti oba ku Sabbaato.
21
Kubanga mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ensi, okutuusa kati. Era tewagenda kuddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.
22
Era singa ennaku ezo ez'okubonaabona tezaakendeezebwako, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako.
23
“Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano’, oba nti: ‘Ali wali’, temukkirizanga.
24
Kubanga abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka.
25
Mwerinde, mbabuulidde nga bukyali.
26
“Kale bwe babagambanga nti: ‘Kristo ali mu ddungu’, temugendangayo; oba nti: ‘Ali mu nnyumba’, temukkirizanga.
27
Kubanga ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ebuvanjuba ne kulabikira n'ebugwanjuba, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kutyo bwe kuliba.
28
“Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.
29
“Mu nnaku ezo, ekiseera eky'okubonaabona nga kyakaggwa, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.
30
Olwo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu, ebika byonna eby'oku nsi ne bikuba ebiwoobe. Era ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire eby'oku ggulu, ng'alina obuyinza bungi, n'ekitiibwa kinene.
31
Eŋŋombe ey'eddoboozi ery'omwanguka erivuga, Omwana w'Omuntu n'atuma bamalayika be mu njuyi zonna ennya ez'ensi. Era balikuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
32
“Mulabire ku muti omutiini muyige: amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
33
Mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo.
34
Mazima mbagamba nti: ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo.
35
Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
36
“Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde nze Omwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.
37
“Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu.
38
Mu nnaku ezaakulembera omujjuzo, abantu baali balya era nga banywa. Baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato.
39
Ne batamanya, okutuusa omujjuzo lwe gwajja, ne gubasaanyaawo bonna. Bwe kityo bwe kiriba, Omwana w'Omuntu lw'alijja.
40
“Mu nnaku ezo, abantu abaliba ababiri mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
41
Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
42
“Kale mwerinde, kubanga temumanyi lunaku, Mukama wammwe lw'alijjirako.
43
Mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya ekiseera omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.
44
Kale nno nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.
45
“Kale ani omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
46
Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja, gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
47
Mazima mbagamba nti: alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna.
48
“Naye singa omuddu oyo aba omubi, n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okudda’,
49
n'atandika okukuba baddu banne, era n'atandika okulya n'okunywa awamu n'abatamiivu,
50
mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu ssaawa gy'atamanyi.
51
Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abakuusa, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28