bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 18
Matthew 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
1
Mu kaseera ako, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Kale ani asinga okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu?”
2
Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza mu makkati gaabwe,
3
n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: bwe mutakyuka ne muba ng'abaana abato, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu.
4
Kale nno buli eyeetoowaza ng'omwana ono omuto, ye asinga okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu.
5
Era buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze.
6
“Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, asaanye okusibibwa ejjinja mu bulago, asuulibwe mu nnyanja ebuziba.
7
Ensi ya kubonaabona olw'ebyo ebisuula abantu mu kibi. Bino tebirema kubaawo, kyokka omuntu abireeta, wa kubonaabona!
8
“Singa omukono gwo oba okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu, ng'oli wa mukono gumu oba wa kugulu kumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi oba amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu muliro ogutazikira.
9
Era singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu olisuule. Kirungi okufuna obulamu, ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, omuli omuliro ogutazikira.
10
“Mwekkaanye: temunyoomanga n'omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe, baba bulijjo mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. [
11
Omwana w'Omuntu yaija okulokola abaabula.]
12
“Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo n'ebula, taleka ekyenda mu omwenda ku nsozi, n'agenda anoonya eyo ebuze?
13
Mazima mbagamba nti: ng'agizudde, asanyuka nnyo olw'eyo emu, okusinga olwa ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze.
14
Bwe kityo, Kitammwe ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.
15
“Muganda wo bw'akola ebikulumya, genda gy'ali omubuulire nga muli mwekka, ggwe naye. Singa akuwulira, olwo ng'okomezzaawo muganda wo oyo.
16
Kyokka bw'atakuwulira, ddayo gy'ali ne munno omu oba babiri, olwo buli kigambo kiryoke kikakasibwe nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu.
17
Kyokka bw'agaana okubawulira, olwo tegeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Singa agaana okuwulira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, omuyisanga ng'atalina kukkiriza, era ng'omusolooza w'omusolo.
18
“Mazima mbagamba nti: kyonna kye mulisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu. Era kyonna kye mulisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.
19
“Era mbagamba nti: ababiri ku mmwe bwe baneetabanga ku nsi, ne babaako kye basaba Kitange ali mu ggulu, alikibakolera,
20
kubanga ababiri oba abasatu we baba nga bakuŋŋaanye ku lwange, nange mbaawo wamu nabo.”
21
Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, emirundi emeka muganda wange gy'anaakolanga ebinnumya ne mmusonyiwa? Emirundi musanvu?”
22
Yesu n'amuddamu nti: “Sikugamba nti emirundi musanvu, naye nti nsanvu emirundi musanvu.
23
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyayagala okuwozesa abaddu be ku bintu bye, bye baalina.
24
Bwe yali ng'atandise okubawozesa, ne bamuleetera omu gw'abanja talanta omutwalo gumu.
25
Kyokka teyalina nsimbi z'anaasasuza bbanja. N'olwekyo mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'e bintu bye byonna, ebbanja lisasulwe.
26
Awo omuddu n'afukamira, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula byonna.’
27
Mukama w'omuddu oyo n'amukwatirwa ekisa, n'amusonyiwa ebbanja, n'amuta.
28
“Kyokka omuddu oyo bwe yafuluma, n'asanga muddu munne gw'abanja denaari kikumi. N'amugwamu bulago nga bw'agamba nti: ‘Sasula ebbanja lyange!’
29
Awo muddu munne n'agwa wansi, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula.’
30
Ye n'atakkiriza, wabula n'agenda n'amuggalira mu kkomera, okutuusa lw'alimala okumusasula ebbanja.
31
“Baddu banne bwe baalaba ebikoleddwa, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe byonna ebibaddewo.
32
Awo mukama we n'amuyita, n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, nakusonyiye ebbanja lyonna kubanga wanneegayiridde.
33
Kale naawe obadde togwanira kukwatirwa muddu munno kisa, nga nze bwe nakukwatiddwa ekisa?’
34
Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abaserikale bamubonyeebonye, okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lyonna.”
35
Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we, mu mutima gwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28