bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 12
Matthew 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
1
Mu biseera ebyo, Yesu n'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato. Abayigirizwa be baali balumwa enjala, ne batandika okunoga ku birimba, ne balya.
2
Abafarisaayo abamu bwe baalaba ekyo, ne bagamba Yesu nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Sabbaato!”
3
Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako Dawudi kye yakola, ye ne be yali nabo bwe baalumwa enjala?
4
Yayingira mu Ssinzizo, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, sso nga gyali tegimukkirizibwa, wadde abo be yali nabo, okugirya, wabula nga gikkirizibwa bakabona bokka.
5
Oba temusomangako mu Mateeka nti: ku Sabbaato, mu Ssinzizo, bakabona bamenya etteeka lya Sabbaato ne bataba na musango?
6
Naye mbagamba nti asinga Essinzizo ekitiibwa ali wano.
7
Era singa mumanyi amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala naye si kitambiro,’ temwandinenyezza batalina musango.
8
Kubanga Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.”
9
Awo Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe.
10
Mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze. Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamubuuza nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato?”
11
Yesu n'abaddamu nti: “Ani ku mmwe aliba n'endiga ye emu, n'egwa mu bunnya ku Sabbaato, ataligikwata n'agiggyamu?
12
Omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? N'olwekyo kikkirizibwa okukolera omuntu obulungi ku Sabbaato.”
13
Awo n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala, ne guba ng'omulala.
14
Abafarisaayo bwe baafuluma, ne bakuba olukiiko bateese nga bwe banaazikiriza Yesu.
15
Yesu bwe yamanya olukwe olw'okumutta, n'ava mu kifo ekyo. Abantu bangi ne bamugoberera, n'awonya abalwadde bonna.
16
N'abagaana okumwatuukiriza,
17
ekyo omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti:
18
“Ono ye muweereza wange gwe nalondamu, gwe njagala, asanyusa omutima gwange. Ndimuteekako Mwoyo wange, n'ategeeza amawanga eby'amazima.
19
Taliyomba, talireekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo.
20
Olumuli olumenyese talirukutula, n'enfuuzi enyooka taligizikiza. Alituusa amazima ku buwanguzi.
21
Amawanga gonna galisuubira mu linnya lye.”
22
Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko omwoyo omubi, nga muzibe era nga kasiru, n'amuwonya. N'asobola okwogera n'okulaba.
23
Abantu bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono ye Muzzukulu wa Dawudi?”
24
Naye Abafarisaayo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ono agoba emyoyo emibi ku bantu, nga takozesa buyinza bwa mulala, wabula obwa Beeluzebuli, omukulu waagyo.”
25
Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe kiba kibuga oba maka, abantu baamu bwe beesalamu ne balwanagana, bisasika.
26
“Ne Sitaani bw'agoba Sitaani ku bantu, aba yeesazeemu. Kale obwakabaka bwe bunaasigalawo butya?
27
Era oba nga nze ngoba emyoyo emibi ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kale nno bo be bajja okubasalira mmwe omusango.
28
Naye oba nga emyoyo emibi ngigoba ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Mwoyo wa Katonda, kino kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe.
29
“Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'okunyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kusiba ow'amaanyi oyo? Olwo lw'asobola okunyaga eby'omu nnyumba ye.
30
“Ataba ku ludda lwange, mulabe wange. Era atannyamba kukuŋŋaanya, asaasaanya.
31
Kyenva mbagamba nti abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, n'okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna. Kyokka buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa.
32
Era buli ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa. Kyokka oyo ayogera obubi ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa newaakubadde mu mulembe guno, wadde mu mulembe ogugenda okujja.
33
“Omuti muguyite mulungi, ng'ebibala byagwo birungi, muguyite mubi, ng'ebibala byagwo bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.
34
Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, muyinza mutya okwogera ebirungi nga muli babi? Kubanga ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.
35
Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi; n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe okukola ebibi.
36
“Era mbagamba nti buli kigambo ekitaliimu mugaso abantu kye boogera, balikiwoza ku lunaku olulisalirwako emisango.
37
Kubanga ku bigambo byo kw'olisalirwa omusango: n'osinga, oba ne gukusalirwa okukusinga.”
38
Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero k'otuwa, akakakasa obuyinza bwo.”
39
Yesu n'abaddamu nti: “Abantu b'omulembe guno ababi, abava ku Katonda, basaba akabonero. Naye tewali kabonero kajja kubaweebwa, okuggyako akabonero ka Yona omulanzi.
40
Kuba nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku essatu, ekiro n'emisana, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'aliba mu ttaka munda ennaku ssatu, ekiro n'emisana.
41
“Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga. Kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda. Naye laba, asinga Yona ali wano.
42
“Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga. Kubanga yava ku nkomerero y'ensi, n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba, asinga Solomooni ali wano.
43
“Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira, ne gutazuulawo.
44
Ne gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gudda, gugisanga ng'eyereddwa era ng'etegekeddwa bulungi.
45
Olwo ne gugenda ne guleeta emyoyo emibi emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma n'eba mbi okusinga eyasooka. Bwe kityo bwe kiriba ne ku bantu ab'omulembe guno omubi.”
46
Yesu yali akyayogera n'ekibiina ky'abantu, baganda be ne nnyina ne bajja, ne bayimirira wabweru, nga baagala okwogera naye.
47
Omuntu omu n'amugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde wabweru, baagala okwogera naawe.”
48
Yesu n'addamu oyo amubuulidde, n'agamba nti: “Aba muntu wa ngeri ki gwe mpita mmange, era baba bantu ba ngeri ki be mpita baganda bange?”
49
N'agolola omukono eri abayigirizwa be n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano.
50
Buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28