bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 26
Matthew 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
1
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti:
2
“Mumanyi nti wabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke. Era Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo, akomererwe ku musaalaba.”
3
Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa Ssaabakabona, ayitibwa Kayaafa.
4
Ne bakola olukwe okukwata Yesu, bamutte.
5
Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.”
6
Awo Yesu bwe yali e Betaniya, mu nnyumba ya Simooni omugenge,
7
omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agufuka ku mutwe gwa Yesu, ng'atudde alya.
8
Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne basunguwala, ne bagamba nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa?
9
Gubadde guyinza okutundibwa ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.”
10
Yesu bwe yategeera kye bagamba, n'abaddamu nti: “Lwaki omukazi mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi.
11
Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
12
Bw'afuse omuzigo guno ogw'akawoowo ku mubiri gwange, anteekeddeteekedde okuziikibwa.
13
Mazima mbagamba nti: wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
14
Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Yuda Yisikaryoti, n'agenda eri bakabona abakulu,
15
n'agamba nti: “Munampa ki, nze mmubawe?” Bo ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
16
Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu.
17
Ku lunaku olusooka, olw'Embaga eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Oyagala tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?”
18
Yesu n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kinaatera okutuuka. Ewuwo gye nnaaliira awamu n'abayigirizwa bange, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.’ ”
19
Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
20
Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne batuula okulya.
21
Bwe baali balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
22
Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Mukama wange, omuntu oyo ye nze?”
23
Yesu n'addamu nti: “Oyo akoza nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.
24
Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Omuntu oyo kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!”
25
Yuda, eyalyamu Yesu olukwe, n'agamba nti: “Muyigiriza, omuntu oyo ye nze?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
26
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'aguwa abayigirizwa be, n'agamba nti: “Mutoole mulye, kino mubiri gwange.”
27
Ate n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, n'agamba nti: “Munywe kuno mwenna,
28
kubanga kino musaayi gwange, ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda, era oguyiibwa ku lw'abangi okusonyiyisa ebibi.
29
Naye mbagamba nti okuva kati sirinywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa wamu nammwe nga muggya, mu Bwakabaka bwa Kitange.”
30
Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'emiti Emizayiti.
31
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ez'omu kisibo ne zisaasaana.’
32
Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.”
33
Awo Peetero n'amuddamu nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira, nze siikwabulire n'akatono.”
34
Yesu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti: mu kiro kino kyennyini, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
35
Peetero n'amuddamu nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abalala ne boogera bwe batyo.
36
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'abagamba nti: “Mutuule wano, nze ŋŋende eri neegayirire Katonda.”
37
Awo n'atwalako Peetero ne batabani ba Zebedaayo bombi. N'atandika okutya n'okweraliikirira ennyo.
38
N'agamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde obuyinike obuyinza n'okunzita! Mubeere wano, mutunule wamu nange.”
39
Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Kitange, singa kiyinzika, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona! Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
40
Awo n'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Temusobodde kutunula nange wadde essaawa emu bw'eti?
41
Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa. Kubanga omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu.”
42
Era n'agenda omulundi ogwokubiri, ne yeegayirira Katonda ng'agamba nti: “Kitange, oba nga ekikopo kino eky'okubonaabona tekiyinza kunzigyibwako, wabula nga nkinywedde, kale ky'oyagala kikolebwe.”
43
Awo n'ajja nate, n'asanga abayigirizwa nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo.
44
Yesu n'abaleka nate, n'agenda, ne yeegayirira Katonda omulundi ogwokusatu, mu ngeri y'emu nga bwe yeegayirira mu kusooka.
45
Awo n'addayo eri abayigirizwa, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Essaawa etuuse Omwana w'Omuntu okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi.
46
Musituke tugende. Omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.”
47
Awo Yesu yali akyayogera, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abaalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga.
48
Oyo eyalyamu Yesu olukwe yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate.”
49
Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Mirembe, Muyigiriza!” Era n'amunywegera.
50
Yesu n'amugamba nti: “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata, ne bamunyweza.
51
Omu ku abo abaali ne Yesu n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu.
52
Yesu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga abo bonna abakwata ekitala, balifa kitala.
53
Olowooza nti siyinza kusaba Kitange n'ampeereza ebibinja by'eggye lya bamalayika ebisoba mu kkumi n'ebibiri?
54
Kale olwo ebyawandiikibwa ebigamba nti kiteekwa okuba bwe kiti, binaatuukirira bitya?”
55
Mu kaseera ako Yesu n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku natuulanga mu Ssinzizo ne njigiriza, ne mutankwata.
56
Naye bino byonna bikoleddwa, ebyo ebyawandiikibwa abalanzi biryoke bituukirire.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
57
Awo abo abaakwata Yesu ne bamutwala ewa Kayaafa, Ssaabakabona, abannyonnyozi b'amateeka n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, gye baali bakuŋŋaanidde.
58
Peetero yagoberera Yesu okutuukira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, kyokka ng'amwesuddeko ebbanga. N'ayingira mu luggya, n'atuula n'abakuumi, alabe ebinaafaayo.
59
Bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna, ne banoonya obujulizi obw'obulimba bwe banaasinziirako okutta Yesu.
60
Kyokka ne batabuzuula, newaakubadde abajulirwa ab'obulimba bangi bajja ne bamuwaayiriza. Oluvannyuma ne wajjawo babiri,
61
ne bagamba nti: “Ono yagamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Essinzizo ate ne ndizimba mu nnaku ssatu.’ ”
62
Awo Ssaabakabona n'ayimirira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina ky'oddamu mu ebyo bye bakulumiriza?”
63
Kyokka Yesu n'asirika. Ssaabakabona n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda Nnannyibulamu, tutegeeze oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64
Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Naye mbagamba nti okuva kati muli ba kulaba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”
65
Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Avvodde Katonda! Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Kaakati muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde.
66
Mmwe mulowooza mutya?” Ne baddamu nti: “Asaanidde okuttibwa.”
67
Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso, era ne bamukuba empi,
68
nga bwe bagamba nti: “Kristo, tubuulire, ani akukubye?”
69
Awo Peetero bwe yali ng'atudde ebweru mu luggya, omuwala omu omuweereza n'ajja w'ali, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yesu Omugalilaaya.”
70
Kyokka Peetero ne yeegaana mu maaso ga bonna, ng'agamba nti: “Ky'ogamba sikimanyi.”
71
Ate bwe yali ng'ayita mu lukuubo olufuluma ebweru, omuwala omulala omuweereza n'amulaba, n'agamba abantu abaali awo nti: “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaareeti.”
72
Peetero n'addamu okwegaana ng'agamba nti: “Ndayira, omuntu oyo simumanyi.”
73
Nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bajja, ne bagamba Peetero nti: “Ddala naawe oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.”
74
Awo Peetero n'agamba nti: “Oba bye njogera si bya mazima, kale nkolimirwe.” Era n'alayira nti: “Katonda alaba nti nze simanyi musajja oyo.” Amangwago enkoko n'ekookolima.
75
Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo amaziga.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28