bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 7
Matthew 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
1
“Temusalanga musango, nammwe guleme kubasalirwa.
2
Kubanga, nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa. Era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe.
3
Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo?
4
Oba ogamba otya muganda wo nti: ‘Leka nkuggye akasubi ku liiso,’ sso nga ku liiso eriryo kuliko ekisiki?
5
Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
6
“Ekitukuvu temukiwanga mbwa, sikulwa nga zibakyukira ne zibaluma. Era amayinja gammwe ag'omuwendo temugasuulanga mu maaso ga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira.
7
“Musabe, muliweebwa. Munoonye, mulizuula. Mukonkone ku luggi, muliggulirwawo,
8
kubanga buli asaba afuna, oyo anoonya azuula, n'oyo akonkona ku luggi aggulirwawo.
9
Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng'amusabye omugaati,
10
oba amuwa omusota ng'amusabye ekyennyanja?
11
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebirungi abo ababimusaba?
12
“Kale nno byonna bye mwagala abalala babakolere mmwe, nammwe mubibakolerenga. Ekyo Amateeka n'enjigiriza y'abalanzi kye bitegeeza.
13
“Muyingirire mu muzigo omufunda, kubanga omuzigo oguyingira mu kuzikirira gwo mugazi, n'ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu.
14
Omuzigo oguyingira mu bulamu mufunda, n'ekkubo erituukayo lya kanyigo, n'abali zuula batono.
15
“Mwekuume abalanzi ab'obulimba, abajja gye muli nga kungulu bafaanana ng'endiga, sso nga munda gye misege eminyazi.
16
Mulibategeerera ku bikolwa byabwe. Abantu emizabbibu baginoga ku kawule, oba emitiini baginoga ku busaana?
17
“Omuti omulungi gubala ebibala birungi, naye omuti omubi gubala ebibala bibi.
18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.
19
Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gusuulibwa mu muliro.
20
“Bwe kityo nno, ku bikolwa byabwe kwe mulibategeerera.
21
“Omuntu addiŋŋana okumpita obuyisi nti: ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira Obwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
22
Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwayigirizanga mu linnya lyo? Tetwagobanga emyoyo emibi ku bantu nga tukozesa erinnya lyo? Era tetwakolanga ebyamagero bingi mu linnya lyo?’
23
Nze ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe. Muve we ndi mmwe abajeemu.’
24
“Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'abikolerako, aliba ng'omusajja ow'amagezi, eyazimba ennyumba ye ku lwazi,
25
Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, sso n'etegwa, kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26
“Ate buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'atabikolerako, aliba ng'omusajja omusirusiru, eyazimba ennyumba ye ku musenyu.
27
Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, n'egwa, n'emenyekerawo ddala.”
28
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo, ekibiina ky'abantu ne kyewuunya engeri gye yayigirizaamu,
29
kubanga yayigiriza nga nnannyini buyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28