bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 4
Matthew 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Awo Mwoyo Mutuukirivu n'atwala Yesu mu ddungu okukemebwa Sitaani.
2
Yesu n'amalayo ennaku amakumi ana nga talya emisana n'ekiro. Bwe zaggwaako, enjala n'emuluma.
3
Omukemi n'ajja n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.”
4
Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo, Katonda ky'ayogera.’ ”
5
Awo Sitaani n'atwala Yesu mu Kibuga Ekitukuvu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo,
6
n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ”
7
Yesu n'amuddamu nti: “Era kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
8
Sitaani ate n'atwala Yesu ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, n'ekitiibwa kyabwo.
9
N'amugamba nti: “Ebyo byonna nja kubikuwa, singa ofukamira n'onsinza.”
10
Awo Yesu n'agamba Sitaani nti: “Vvaawo Sitaani! Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”
11
Awo Sitaani n'aleka Yesu, bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
12
Awo Yesu bwe yawulira nga Yowanne aggaliddwa mu kkomera, n'agenda e Galilaaya.
13
N'aleka Nazaareeti, n'ajja n'abeera e Kafarunawumu, ekiri ku nnyanja mu kitundu kya Zebbulooni ne Nafutaali.
14
Kino kyaba bwe kityo, omulanzi kye yalanga kiryoke kituukirire, ekigamba nti:
15
“Ensi ya Zebbulooni, n'ensi ya Nafutaali, etunuulidde ennyanja, emitala wa Yorudaani, Galilaaya ey'ab'amawanga amalala!
16
Abantu abaabeeranga mu kizikiza balabye ekitangaala ekingi. N'abaabeeranga mu nsi y'olumbe ne mu kisiikirize kyalwo, ekitangaala kibaakidde.”
17
Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abantu n'okubagamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”
18
Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba abooluganda babiri, abavubi: Simooni ayitibwa Peetero, ne muganda we Andereya, nga batega akatimba mu nnyanja.
19
N'abagamba nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.”
20
Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye.
21
Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba abooluganda babiri abalala: Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato ne kitaabwe Zebedaayo, nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Yesu n'abayita.
22
Amangwago ne baleka awo obutimba ne kitaabwe, ne bagenda ne Yesu.
23
Awo Yesu n'atambula Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka bwa Katonda, era ng'awonya obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna mu bantu.
24
Ettutumu lye ne libuna mu Siriya mwonna. Ne bamuleetera abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, n'abaalina buli ekibabonyaabonya, n'abaliko emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonvubye, bonna n'abawonya.
25
Abantu bangi nnyo ne bajja gy'ali, nga bava mu Galilaaya ne mu kitundu ky'e Dekapoli, ne mu Kibuga Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya, era n'emitala wa Yorudaani.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28