bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 22
Matthew 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 23 →
1
Awo Yesu n'addamu okwogera n'abantu ng'akozesa engero, n'agamba nti:
2
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyateekerateekera omwana we embaga ey'obugole.
3
N'atuma abaddu be okutegeeza abaayitibwa ku mbaga, nti: ‘Mujje.’ Naye bo ne bagaana okujja.
4
“N'atuma nate abaddu abalala ng'agamba nti: ‘Mugambe abaayitibwa nti: Embaga yange ewedde okuteekateeka. Ente zange n'ebyassava ebirala bittiddwa. Era buli kintu kiwedde okutegeka. Mujje ku mbaga ey'obugole.’
5
“Naye abaayitibwa ne batafaayo. Omu n'alaga mu kyalo kye, omulala mu by'amaguzi bye.
6
Ate abalala ne bakwata abaddu be ne babayisa bubi, era ne babatta.
7
Kabaka n'asunguwala, n'asindika eggye lye, n'azikiriza abassi abo, era n'ayokya ekibuga kyabwe.
8
Awo n'agamba abaddu be nti: ‘Embaga ey'obugole ewedde okuteekateeka. Naye abo abaayitibwa tebasaanira.
9
Kale mulage mu masaŋŋanzira, bonna be munaalaba mubayite ku mbaga ey'obugole.’
10
Abaddu ne balaga mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baasanga, ababi n'abalungi. Ekisenge eky'embaga ey'obugole ne kijjula abagenyi.
11
“Awo kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya mbaga ya bugole.
12
Kabaka n'amugamba nti: ‘Munnange, oyingidde otya muno nga toyambadde kyambalo kya mbaga ya bugole?’ Ye n'asirika.
13
Awo kabaka n'agamba abaweereza nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’ ”
14
Awo Yesu n'amaliriza ng'agamba nti: “Bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.”
15
Awo Abafarisaayo ne bagenda, ne bateesa nga bwe banaatega Yesu mu bigambo.
16
Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'abawagizi ba Herode, ne bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu.
17
Kale nno ssebo, tubuulire, olowooza otya? Kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa?”
18
Kyokka Yesu n'ategeera enkwe zaabwe, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe, lwaki munkema?
19
Mundage essente ey'omusolo.” Ne bamuleetera essente.
20
N'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?”
21
Ne bamuddamu nti: “Bya Kayisaari.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Kale nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
22
Bwe baawulira ebyo, ne beewuunya nnyo, ne bamuleka, ne bagenda.
23
Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu.
24
Ne bagamba nti: “Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa, n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
25
“Kale ewaffe waaliyo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa. N'afa nga tazadde mwana. Mukazi we n'amulekera muganda we.
26
Ekintu kye kimu ekyatuuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w'omusanvu.
27
Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa.
28
Kale ku lunaku olw'amazuukira, omukazi oyo aliba muk'ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.”
29
Awo Yesu n'abaddamu nti: “Muwubwa olw'obutamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda.
30
Kubanga abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu: nga tebakyawasa, era nga tebakyafumbirwa.
31
“Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, temusomangako ekyo Katonda kye yabagamba? Yagamba nti:
32
‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Katonda si wa bafu, wabula wa balamu.”
33
Abantu bwe baawulira ebyo, ne beewuunya okuyigiriza kwe.
34
Awo Abafarisaayo bwe baawulira nti Yesu asirisizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaana.
35
Omu ku bo, omunnyonnyozi w'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti:
36
“Muyigiriza, kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?”
37
Yesu n'amuddamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna.
38
Ekyo kye kiragiro ekikulembera byonna, era ekisinga obukulu.
39
Ekiragiro ekiddirira ekyo mu bukulu, era ekikifaanana, kye kino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.’
40
Ku biragiro bino byombi, Amateeka gonna n'ebyawandiikibwa abalanzi kwe byesigamye.”
41
Awo Abafarisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza nti:
42
“Mulowooza mutya ku Kristo? Muzzukulu w'ani?” Ne bamuddamu nti: “Muzzukulu wa Dawudi.”
43
Yesu n'ababuuza nti: “Kale lwaki Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, amuyita Mukama we? Agamba nti:
44
‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
45
“Kale oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?”
46
Ne watabaawo ayinza kumuddamu kigambo. Era okuva olwo tewaaliwo muntu yaguma kwongera kumubuuza kibuuzo.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28