bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 23
Matthew 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
1
Awo Yesu n'ayogera n'ekibiina ky'abantu awamu n'abayigirizwa be,
2
n'agamba nti: “Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo be bali mu kifo kya Musa.
3
Kale byonna bye babagamba mubikwate, era mubikole. Naye temugoberera bikolwa byabwe, kubanga bye bategeeza abantu, bo si bye bakola.
4
Basiba emigugu emizito, era egiteetikkika, ne balagira abantu okugyetikka ku bibegabega, sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyeenyaako n'engalo zaabwe.
5
Byonna bye bakola, bagenderera kulabibwa bantu. Kyebava bagaziya obusawo obw'amaliba, omuba ebigambo by'omu byawandiikibwa, bwe beesiba mu kyenyi ne ku mikono. Era bagaziya amatanvuwa g'ebyambalo byabwe.
6
Baagala ebifo ebyekitiibwa ku mbaga, n'ebifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro.
7
Era baagala okulamusibwa mu butale, n'okuyitibwa nti: ‘Muyigiriza.’
8
Naye mmwe temuyitibwanga nti: ‘Muyigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu. Mmwe mwenna muli baaluganda.
9
Ku nsi temubangako gwe muyita ‘Kitammwe,’ kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu.
10
Era temuyitibwanga bagunjuzi, kubanga omugunjuzi wammwe ali omu, ye Kristo.
11
Asinga ekitiibwa mu mmwe, anaabanga muweereza wammwe.
12
Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa. Era buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.
13
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo! Muli ba kubonaabona! Muggalirawo abantu ababa bayingira Obwakabaka obw'omu ggulu, mmwe mwennyini ne mutayingira, era ne muziyiza n'abo abagezaako okuyingira. [
14
Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona, kubanga munyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, ne musinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. N'olwekyo muliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.]
15
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga mutambula ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe. Kyokka bwe mumala okumukyusa, ne mumufuula asaanira omuliro ogutazikira, n'okusinga mmwe bwe mugusaanira.
16
“Muli ba kubonaabona mmwe, abakulembeze bamuzibe! Mugamba nti: ‘Buli alayira Essinzizo, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira zaabu ow'omu Ssinzizo, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’
17
Mmwe abasirusiru, era bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: zaabu, oba Essinzizo erifuula zaabu oyo okuba ekintu ekitukuvu?
18
Era mugamba nti: ‘Buli alayira alutaari, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira ekirabo ekiri ku alutaari, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde’.
19
“Mmwe bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: ekirabo, oba alutaari efuula ekirabo ekyo okuba ekintu ekitukuvu?
20
Kale nno oyo alayira alutaari, aba alayidde ne byonna ebigiriko.
21
Era oyo alayira Essinzizo, aba alayidde ne Katonda alibeeramu.
22
Oyo alayira eggulu, aba alayidde ntebe ya Katonda, ne Katonda agituulako.
23
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi enva, ne mulekayo okutuukiriza obwenkanya, ekisa, n'okukkiriza, ng'ate bye bisinga obukulu mu mateeka ga Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa.
24
Mmwe abakulembeze bamuzibe, muggya akabu mu mazzi ge munywa, naye ne mumiriramu eŋŋamiya!
25
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga ebikopo n'ebibya mubinyiriza kungulu, sso nga munda bijjudde ebyo bye mwafuna mu bunyazi ne mu kwefaako mwekka.
26
Mufarisaayo ggwe, muzibe, sooka oyoze mu kikopo ne mu kibya, olyoke obinyirize ne kungulu.
27
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muli ng'amalaalo agaasiigibwako langi enjeru gatukula, agalabika nga mayonjo kungulu, naye nga munda gajjudde amagumba g'abafu, n'okuwunya obubi kwonna.
28
Bwe mutyo nammwe, kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obumenyi bw'amateeka.
29
“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi, era munyiriza ebiggya by'abatuukirivu,
30
ne mugamba nti: ‘Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandyetabye wamu nabo okutta abalanzi.’
31
Bwe mutyo ne mukakasa nti muli bazzukulu b'abo abatta abalanzi.
32
Kale mumalirize ekyo bajjajjammwe kye baatandika.
33
Mmwe emisota, abaana b'emisota egy'obusagwa! Muliwona mutya okusalirwa omusango okusuulibwa mu muliro ogutazikira?
34
Kyenva mbatumira abalanzi n'abantu abagezi era n'abayigiriza: abamu ku bo mulibatta, abalala mulibakomerera ku misaalaba, n'abalala mulibakubira mu makuŋŋaaniro gammwe. Mulibagobaganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala,
35
mulyoke mubuuzibwe omusaayi gw'abatuukirivu bonna ogwayiibwa ku nsi, okuva ku musaayi gwa Abeeli omutuukirivu, okutuuka ku gwa Zakariya, omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati w'ekifo ekitukuvu ne alutaari, mu Ssinzizo.
36
Mazima mbagamba nti: ekibonerezo olw'abo bonna kiriweebwa abantu ab'omulembe guno.
37
“Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi, era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abantu bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza?
38
Kale ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa.
39
Kubanga mbagamba nti: temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28