bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 2
Matthew 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
1
Awo Yesu bwe yazaalibwa e Betilehemu, ekibuga eky'omu Buyudaaya, mu kiseera ekyo nga Herode ye Kabaka, abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye ne bava ebuvanjuba, ne bajja e Yerusaalemu,
2
ne babuuza nti: “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”
3
Herode kabaka bwe yawulira, ne yeeraliikirira, era n'abalala bonna mu Yerusaalemu ne beeraliikirira.
4
N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abakugu abannyonnyola abantu amateeka, n'ababuuza nti: “Kristo wa kuzaalibwa wa?”
5
Bo ne bamugamba nti: “Mu Betilehemu, ekibuga ky'omu Buyudaaya, kubanga bwe kityo bwe kyawandiikibwa omulanzi nti:
6
‘Naawe Betilehemu mu nsi ya Yuda, si ggwe osembayo mu balangira ba Yuda, kubanga mu ggwe mulivaamu omukulembeze, alirabirira abantu bange Yisirayeli.’ ”
7
Awo Herode n'ayita mu kyama abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye, n'ababuuza n'obwegendereza ekiseera kyennyini emmunyeenye kye yalabikiramu.
8
N'abasindika e Betilehemu, n'abagamba nti: “Mugende mubuulirize nnyo ku mwana oyo, era nga mumulabye, muntegeeze, nange ŋŋende mmusinze.”
9
Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Awo ne baddamu okulaba emmunyeenye gye baalaba ebuvanjuba, n'ebakulembera okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awali omwana.
10
Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka nnyo nnyini ddala.
11
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Mariya nnyina. Ne bafukamira ne basinza omwana, ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaane n'ebyakawoowo ebiyitibwa mirra.
12
Katonda bwe yabalabulira mu kirooto obutaddayo ewa Herode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
13
Bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo, kubanga Herode ajja okunoonya omwana okumutta.”
14
Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'alaga e Misiri.
15
N'abeera eyo okutuusa Herode lwe yafa. Kino kyali bwe kityo, Mukama kye yayogerera mu mulanzi kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Nayita omwana wange ave mu Misiri.”
16
Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye.
17
Awo ekyo omulanzi Yeremiya kye yayogera ne kituukirira, bwe yagamba nti:
18
“Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akaabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo.”
19
Awo Herode bwe yamala okufa, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto e Misiri,
20
n'agamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, olage mu nsi ya Yisirayeli, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.”
21
Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'ajja mu nsi Yisirayeli.
22
Kyokka bwe yawulira nti Arukyelawo ye kabaka wa Buyudaaya, ng'asikidde kitaawe Herode, n'atya okulaga eyo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, n'alaga mu kitundu ky'e Galilaaya.
23
N'ajja n'abeera mu kabuga akayitibwa Nazaareeti. Kino kyaba bwe kityo, abalanzi kye baayogera kiryoke kituukirire nti: “Aliyitibwa Munnazareeti.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28