bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 9
Matthew 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
1
Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe.
2
Ne bamuleetera omuntu akonvubye. Baamuleeta agalamidde ku katanda. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo mbikusonyiye.”
3
Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne bagambagana nti: “Ono avvoola Katonda.”
4
Yesu bwe yalaba ebirowoozo byabwe, n'agamba nti: “Lwaki mulowooza obubi mu mitima gyammwe?
5
Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira otambule?’
6
Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
7
N'ayimirira, n'addayo ewaabwe.
8
Abantu bwe baalaba ekyo, ne batya, ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkana awo.
9
Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaba omuntu ayitibwa Matayo, ng'atudde we basolooleza omusolo. N'amugamba nti: “Yitanga nange.” Matayo n'asituka, n'amugoberera.
10
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali mu nnyumba ng'atudde okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja, ne batuula ne Yesu era n'abayigirizwa be okulya.
11
Abafarisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki Omuyigiriza wammwe aliira wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
12
Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.
13
Naye mugende mwetegereze amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala sso si kitambiro.’ Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
14
Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bajja eri Yesu, ne babuuza nti: “Lwaki ffe, n'Abafarisaayo tusiiba emirundi mingi, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”
15
Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza kunakuwala ng'awasizza omugole akyali nabo. Naye ekiseera kijja, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balisiiba.
16
“Omuntu tatunga mu lugoye lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga kiyuza olugoye, ekituli ne kyeyongera obunene.
17
Era omwenge ogw'emizabbibu omusu, tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya, byombi lwe bikuumibwa obulungi.”
18
Yesu yali akyabagamba ebyo, omukungu omu n'ajja n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakafa, naye jjangu omukwateko, anaalamuka.”
19
Awo Yesu n'asituka, n'agenda naye, wamu n'abayigirizwa be.
20
Omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye:
21
kubanga yagamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata ku kyambalo kye, nja kuwona.”
22
Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti: “Omuwala, guma, owonye olw'okukkiriza kwo.” Omukazi n'awona mu kaseera ako.
23
Yesu bwe yatuuka ku nnyumba y'omukungu, n'alaba abafuuwa endere n'abantu bangi nga baaziirana,
24
n'agamba nti: “Muveewo. Omuwala tafudde, wabula yeebase.” Ne bamusekerera.
25
Abantu bwe baamala okugobebwawo, Yesu n'ayingira, n'akwata omuwala ku mukono, omuwala n'ayimirira.
26
Amawulire ago ne gabuna mu nsi eyo yonna.
27
Yesu bwe yava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga baleekaana, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, tusaasire!”
28
Yesu bwe yatuuka mu nnyumba, bamuzibe abo ne bajja w'ali, n'ababuuza nti: “Mukkiriza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti: “Weewaawo, Ssebo!”
29
Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kibakolerwe nga bwe mukkirizza.”
30
Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti: “Temubuulirako muntu n'omu!”
31
Naye bo ne bafuluma, ne basaasaanya mu nsi eyo yonna amawulire agafa ku Yesu.
32
Abo bwe baali bafuluma, ne wabaawo abaamuleetera kasiru, ng'aliko omwoyo omubi.
33
Yesu bwe yamugobaako omwoyo omubi, kasiru n'ayogera. Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekirabikangako mu Yisirayeli!”
34
Naye Abafarisaayo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa mukulu waagyo.”
35
Yesu n'ayitaayita mu bibuga byonna ne mu byalo, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka, era ng'awonya abantu obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna.
36
Bwe yalaba abantu enkumu, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali basobeddwa, nga bali ng'endiga ezitalina musumba.
37
N'alyoka agamba abayigirizwa be nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi be batono.
38
Kale musabe nnannyini bya kukungula asindike abakozi mu by'okukungula bye.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28