bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 19
Matthew 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
1
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ava e Galilaaya, n'alaga mu kitundu ky'e Buyudaaya, emitala w'omugga Yorudaani.
2
Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n'abawonyeza eyo.
3
Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we, ng'amulanga buli nsonga yonna?”
4
Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako nti olubereberye Katonda yatonda omusajja n'omukazi,
5
Katonda n'agamba nti: ‘N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n'abeera ne mukazi we, bombi ne baba omuntu omu?’
6
Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.”
7
Abafarisaayo ne bamubuuza nti: “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ekakasa bw'amugobye, olwo alyoke amweggyireko ddala?”
8
Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe. Naye olubereberye, tekyali bwe kityo.
9
Era mbagamba nti buli agoba mukazi we okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze.”
10
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Oba nga bwe biri bwe bityo wakati w'omusajja ne mukazi we, ekisinga butawasa.”
11
Yesu n'abaddamu nti: “Si bonna abasiima ekigambo ekyo, wabula abo Katonda b'akiwa.
12
Kubanga waliwo abalaawe, abaazaalibwa bwe batyo, waliwo abalaawe, abalaayibwa abantu, era waliwo abalaawe abeeraawa bokka olw'Obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukisiima akisiime.”
13
Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko era abasabire eri Katonda. Kyokka abayigirizwa ne babaziyiza nga bababoggolera.
14
Yesu n'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka obw'omu ggulu.”
15
N'abakwatako, n'ava mu kifo ekyo.
16
Awo omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti: “Muyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola, okufuna obulamu obutaggwaawo?”
17
Yesu n'amuddamu nti: “Lwaki ombuuza ku kirungi? Omulungi ali Omu. Naye oba nga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro bya Katonda.”
18
N'amubuuza nti: “Biruwa?” Yesu n'addamu nti: “Tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu.
19
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Era yagalanga muntu munno, nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”
20
Omuvubuka n'agamba Yesu nti: “Ebyo byonna nabituukiriza. Kiki ekikyambulako okukola?”
21
Yesu n'amugamba nti: “Oba ng'oyagala okuba atuukiridde, genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
22
Omuvubuka ono bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi.
23
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti: omugagga kirimubeerera kizibu okuyingira Obwakabaka obw'omu ggulu.
24
Era mbagamba nti: kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
25
Abayigirizwa bwe baawulira, ne bawuniikirira nnyo, ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
26
Yesu n'abatunuulira n'agamba nti: “Kino abantu tebakiyinza, wabula Katonda ayinza byonna.”
27
Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe byonna tulyoke tuyitenga naawe. Kale tulifuna ki?”
28
Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti: Omwana w'Omuntu bw'alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa, nga byonna bizzibwa obuggya, nammwe abayita nange, mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, ne musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
29
Era buli muntu eyaleka ennyumba oba baganda be, oba abaana, oba ebibanja ku lwange, alifuna ebisingawo obungi emirundi kikumi, n'aweebwa n'obulamu obutaggwaawo.
30
Naye bangi ab'olubereberye, abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma, abaliba ab'olubereberye.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28