bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 6
Matthew 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
1
“Mwekuume obutakolanga bikolwa byammwe ebirungi mu maaso g'abantu balyoke babalabe, kubanga bwe mukola bwe mutyo, Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.
2
Kale nno bw'ogabiranga abaavu, teweeyimbiriranga ng'abakuusa bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.
3
Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola.
4
Ky'ogabidde abaavu kibe kya kyama, Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
5
“Era bwe mubanga musinza Katonda, temubanga ng'abakuusa, kubanga baagala okusinza Katonda nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.
6
Naye ggwe bw'obanga osinza Katonda, oyingiranga mu kisenge kyo, n'oggalawo oluggi, n'olyoka osinza Katonda mu kyama, Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
7
“Bwe mubangako kye musaba Katonda, temumalanga googera bigambo bingi ng'abantu ab'ensi bwe bakola, abalowooza nti banaawulirwa lwa bigambo byabwe ebingi.
8
Muleme nno kufaanana nga bo. Kitammwe amanyi bye mwetaaga, nga temunnaba na kumusaba.
9
“Kale nno Katonda mumusabanga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo lyatulwe nga bwe liri ettukuvu.
10
Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11
Otuwe leero emmere gye twetaaga.
12
Otusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abakola ebitulumya.
13
Totuleka kukemebwa, naye otuwonye omubi.’
14
“Bwe munaasonyiwanga abantu ensobi zaabwe, Kitammwe ali mu ggulu nammwe anaabasonyiwanga.
15
Kyokka bwe mutaasonyiwenga bantu, nammwe Kitammwe taabasonyiwenga nsobi zammwe.
16
“Bwe musiibanga, temubanga ng'abakuusa, abanakuwala ku maaso. Boonoona endabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nti basiiba. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.
17
Naye ggwe bw'osiibanga, onyirizanga omutwe gwo, n'onaaba amaaso go,
18
abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo atalabika ye aba akulaba. Era Kitaawo oyo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
19
“Temweterekeranga bugagga ku nsi kuno kwe bwonoonerwa ennyenje n'obutalagge, n'ababbi kwe basima ne babba,
20
naye mweterekere obugagga mu ggulu, gye butayonoonerwa nnyenje wadde obutalagge, era ababbi gye batasima ne babba.
21
Kubanga obugagga bwo gye buba, n'omutima gwo gye guba.
22
“Ettaala y'omubiri lye liiso. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu.
23
Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekizikiza. Kale obutangaavu mu ggwe bwe buba ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa!
24
“Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri. Oba alikyawa omu n'ayagala omulala, oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda, ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.
25
“Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga kye munaalya ne kye munaanywa okukuuma obulamu bwammwe, newaakubadde kye munaayambaza emibiri gyammwe. Obulamu si bwa muwendo okusinga emmere? N'omubiri si gwa muwendo okusinga ebyokwambala?
26
Mutunuulire ebinyonyi: tebisiga, tebikungula era tebitereka. Naye Kitammwe ali mu ggulu abiwa emmere. Mmwe temubisinga nnyo?
27
Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe?
28
“Lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale: tegakola mulimu, wadde okuluka engoye.
29
Naye mbagamba nti: newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
30
Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale oguliwo olwa leero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
31
“Kale temweraliikiriranga nga mugamba nti: ‘Tunaalya ki,’ oba nti: ‘Tunaanywa ki,’ oba nti ‘Tunaayambala ki?’
32
Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako okunoonya. Mmwe Kitammwe amanyi nti ebyo byonna mubyetaaga.
33
Naye okusingira ddala, mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ne ku by'ayagala mukole, ebyo byonna nabyo biribaweebwa.
34
Kale temweraliikiriranga biribaawo jjo. Olunaku olwa jjo luliba n'ebyeraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku lubaako emitawaana egimala.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28