bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 25
Matthew 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
1
“Mu nnaku ezo, Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa n'abawala ekkumi, abaakwata ettaala zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole.
2
Abataano ku bo baali basiru, naye abalala abataano nga bagezi.
3
Abasiru baatwala ettaala zaabwe, naye ne batatwala mafuta mu ccupa.
4
Abagezi ne batwala amafuta mu ccupa, awamu n'ettaala zaabwe.
5
Awasa omugole bwe yalwawo okujja, bonna ne bakwatibwa otulo, ne beebaka.
6
“Ekiro mu ttumbi, ne wabaawo oluyoogaano nti: ‘Awasa omugole wuuno ajja, mujje mumwanirize.’
7
Abawala ekkumi ne bagolokoka, ne bategeka ettaala zaabwe.
8
Olwo abasiru ne bagamba bannaabwe abagezi nti: ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe ziggweerera’.
9
Abawala abagezi ne baddamu nti: ‘Gayinza obutatumala ffe nammwe. Ekisinga obulungi, mugende gye bagatunda, mwegulireyo.’
10
“Abawala abasiru nga bagenze okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka. Abaali beetegese ne bayingira wamu naye mu mbaga ey'obugole, oluggi ne luggalwawo.
11
“Oluvannyuma, abawala bali abasiru ne batuuka, ne bagamba nti: ‘Ssebo, ssebo, tuggulirewo.’
12
Ye n'addamu nti: ‘Mazima sibamanyi.’
13
“Kale mwerinde, kubanga olunaku n'essaawa temubimanyi.
14
“Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananako ng'omuntu eyali agenda mu nsi ey'ewala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye okubirabirira.
15
Omu n'amulekera talanta ttaano, omulala bbiri, ate omulala talanta emu, ng'alabira ku kusobola kwa buli omu, n'agenda.
16
Amangwago, oyo eyafuna talanta ettaano, n'agenda n'azisuubuza, n'afunamu amagoba ga talanta endala ttaano.
17
N'oyo eyafuna talanta ebbiri, n'akola bw'atyo, n'afunamu amagoba ga talanta endala bbiri.
18
Kyokka oyo eyafuna talanta emu, n'agenda, n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu ensimbi za mukama we.
19
“Nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'ababuuza bannyonnyole ebifa ku nsimbi ze.
20
Omuddu eyafuna talanta ettaano, n'ajja, n'aleeta talanta endala ttano, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta ettaano. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala ttaano.’
21
Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
22
N'oyo eyafuna talanta ebbiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta bbiri. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala bbiri.’
23
Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
24
Era n'oyo eyafuna talanta emu n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, namanya nti oli muntu mukakanyavu, ng'okungulira gy'otaasimbira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaasigira,
25
ne ntya, kyennava ŋŋenda, ensimbi zo ne nzikweka mu ttaka. Laba, ziizino.’
26
Mukama we n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi era omugayaavu! Wamanya nti nkungulira gye saasimbira, nkuŋŋaanyiza gye saasigira.
27
N'olwekyo ensimbi zange wandiziterese mu bbanka: nze nga nkomyewo, ne nzifuna n'amagoba gaazo.
28
Kale ensimbi muzimuggyeeko, muziwe oyo alina talanta ekkumi.
29
Kubanga buli alina aliweebwa n'aba na bingi nnyo. Ate atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.
30
Omuddu oyo atalina ky'agasa, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’
31
“Omwana w'Omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, eky'obwakabaka, bamalayika bonna nga bali wamu naye, olwo alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa.
32
Abantu bonna balikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge, n'abaawulamu, ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi.
33
Endiga aliziteeka ku ludda lwe olwa ddyo, ate embuzi ku lwa kkono.
34
“Awo Kabaka aligamba abo abali ku ludda lwe olwa ddyo nti: ‘Mmwe Kitange be yawa omukisa, mujje mubeere mu Bwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ensi lwe yatondebwa.
35
Kubanga nali nnumwa enjala, ne mumpa ekyokulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mumpa ekyokunywa. Nali mugenyi, ne munsuza.
36
Nali sirina kya kwambala, ne munnyambaza. Nali mulwadde ne munnambula. Nali musibe mu kkomera, ne mujja okundaba.’
37
“Awo abaakola ebituufu balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuwa ekyokulya, ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa?
38
Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi, ne tukusuza, oba nga tolina kya kwambala, ne tukwambaza?
39
Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tukulambula?’
40
“Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abato, mwakikolera nze.’
41
“Awo aligamba abo abali ku ludda lwe olwa kkono nti: ‘Muve we ndi, mmwe abakolimire! Mugende mu muliro ogutazikira, ogwategekerwa Sitaani ne bamalayika be.
42
Kubanga nali nnumwa enjala, ne mutampa kyakulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mutampa kyakunywa.
43
Nali mugenyi, ne mutansuza. Nali sirina kya kwambala, ne mutannyambaza. Nali mulwadde, era nali mu kkomera, ne mutannambula.’
44
“Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba nga tolina ky'oyambala, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’
45
Awo Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwagaana okuyamba omu ku bano abasinga obuto, mwagaana kuyamba nze.’
46
“Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo. Naye abaakola ebituufu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28