bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Matthew 10
Matthew 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
1
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abawa obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu, n'okuwonyanga abantu endwadde zonna n'obuyongobevu bwonna.
2
Amannya g'abatume ekkumi n'ababiri ge gano: omubereberye, Simooni Peetero, ne Andereya muganda we; ne Yakobo, ne muganda we Yowanne, batabani ba Zebedaayo;
3
ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Tomasi, ne Matayo omusolooza w'omusolo; ne Yakobo mutabani wa Alufaayo; ne Taddaayo,
4
ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye, ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe.
5
Abo ekkumi n'ababiri Yesu n'abatuma, n'abakuutira ng'abagamba nti: “Temugenda mu b'amawanga amalala, era temuyingira mu bibuga bya Basamariya.
6
Naye mugende eri abantu ba Yisirayeli abaabula.
7
Mugende mutegeeze abantu nti: ‘Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.’
8
Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, muwonye abagenge balongooke, mugobe emyoyo emibi ku bantu. Mwaweebwa buweebwa, nammwe mugabe.
9
Temutwala zaabu newaakubadde ffeeza, newaakubadde ssente ez'ekikomo mu nsawo zammwe,
10
newaakubadde ensawo ey'olugendo, newaakubadde ekkanzu eyookubiri, newaakubadde engatto, wadde omuggo: kubanga omukozi asaanira okuweebwa bye yeetaaga.
11
“Buli kibuga na buli kyalo kye muyingiramu, munoonye omuntu ayagala okubaaniriza, musule ewuwe okutuusa lwe muliva mu kifo ekyo.
12
Bwe muyingira mu nnyumba, mugambe nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’
13
Singa abantu ab'omu nnyumba eyo babaaniriza, emirembe gye mubaagalizza girisigala nabo. Naye bwe batalibaaniriza, emirembe gye mubaagalizza giridda gye muli.
14
Singa bagaana okubaaniriza mu nnyumba oba mu kibuga, bwe mubanga muvaayo, mwekunkumulangako n'enfuufu eba ebakutte ku bigere.
15
Mazima mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, ensi y'e Sodoma ne Gomora eriddirwamu okusinga ekibuga ekyo.
16
“Mwekkaanye: nze mbatuma nga muli ng'endiga mu misege wakati. Kale nno mube beegendereza ng'emisota, era mube ng'amayiba obutaba na bukuusa.
17
Mwerinde, kubanga walibaawo abantu abalibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Era balibakubira mu makuŋŋaaniro gaabwe.
18
Mulitwalibwa mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, mutuuse ku bo ne ku b'amawanga amalala Amawulire Amalungi.
19
Naye bwe babakwatanga ne babawaayo, temweraliikiriranga nti: Tunaayogera tutya, oba nti: Tunaayogera ki? Muliweebwa mu kaseera ako, kye mulyogera,
20
kubanga si mmwe mulyogera, wabula Mwoyo wa Kitammwe ye alyogerera mu mmwe.
21
“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera abazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa.
22
Mmwe, abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Kyokka oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.
23
Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Mazima mbagamba nti: temulimalayo bibuga bya Yisirayeli nga Omwana w'Omuntu tannajja.
24
“Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, n'omuddu tasinga mukama we.
25
Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga nnannyinimu bamuyise Beeluzebuli, ab'omu maka ge kiki kye batalibayita!
26
“Kale nno temubatyanga, kubanga buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.
27
Kye mbabuulira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana. Kye muwulira mu kaama, mukirangiriranga ku ntikko z'ennyumba.
28
“Era temutyanga abo abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo. Naye mutyenga Katonda ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu muliro ogutazikira.
29
“Enkazaluggya bbiri tezigula ssente emu? Naye tewali n'emu ku zo egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde.
30
N'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale.
31
Kale nno temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.
32
“Buli anjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
33
Kyokka oyo anneegaana mu maaso g'abantu, nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34
“Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi. Sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.
35
Najja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we.
36
Era abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.
37
“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga bw'ayagala nze, tansaanira. Era oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga bw'ayagala nze, tansaanira.
38
N'oyo ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tansaanira.
39
Agezaako okutaasa obulamu bwe, alibufiirwa. Afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.
40
“Ayaniriza mmwe ng'ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, ng'ayanirizza oyo eyantuma.
41
Ayaniriza omulanzi olw'okuba nga mulanzi, alifuna empeera ng'ey'omulanzi. Era ayaniriza omuntu akola Katonda by'ayagala, olw'okuba ng'akola Katonda by'ayagala, alifuna empeera ng'ey'omuntu akola Katonda by'ayagala.
42
Mazima mbagamba nti: buli awa omu ku bano abato eggiraasi y'amazzi obuzzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28