bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 1
Numbers 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
1
Mu ddungu ly'e Sinaayi, ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri okuva Abayisirayeli lwe baava mu nsi y'e Misiri, Mukama n'ayogera ne Musa mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. N'agamba nti:
2
“Mubale Abayisirayeli bonna, nga mugoberera ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Mubale abasajja bonna kinnoomu, era muwandiike amannya gaabwe gonna.
3
Ggwe ne Arooni mujja kubala abasajja bonna mu Yisirayeli abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe.
4
Mu buli kika mujja kuvaamu omukulu w'ennyumba ya bajjajjaabe, akole nammwe.
5
Era gano ge mannya g'abasajja abanaakola nammwe: mu Kika kya Rewubeeni, Elizuuri mutabani wa Sedewuri;
6
mu Kika kya Simyoni, Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi;
7
mu Kika kya Yuda, Nahusooni mutabani wa Amminadabu;
8
mu Kika kya Yissakaari, Netaneeli mutabani wa Zuwari;
9
mu Kika kya Zebbulooni, Eliyaabu mutabani wa Heloni;
10
mu baana ba Yosefu: mu Kika kya Efurayimu, Elisaama mutabani wa Ammihudi; mu Kika kya Manasse, Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri;
11
mu Kika kya Benyamiini, Abidaani mutabani wa Gidiyoni;
12
mu Kika kya Daani, Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi;
13
mu Kika kya Aseri, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani;
14
mu Kika kya Gaadi, Eliyasaafu mutabani wa Deweli;
15
mu Kika kya Nafutaali, Ahira mutabani wa Enani.”
16
Abo be bakulu b'ebika era abakulembeze b'enkumi n'enkumi z'Abayisirayeli.
17
Awo Musa ne Arooni ne batwala abantu abo abamenyeddwa amannya,
18
ne bakuŋŋaanya abantu bonna ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri. Abantu ne boogera obuzaale bwabwe, nga balaga ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, ne bawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu.
19
Bw'atyo Musa n'abalira abantu mu ddungu ly'e Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira.
20
Ab'omu Kika kya Rewubeeni, omuggulanda wa Yisirayeli, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
21
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Rewubeeni, baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
22
Ab'omu Kika kya Simyoni, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
23
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Simyoni, baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu.
24
Ab'omu Kika kya Gaadi, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
25
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Gaadi, baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
26
Ab'omu Kika kya Yuda, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
27
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Yuda, baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
28
Ab'omu Kika kya Yissakaari, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
29
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Yissakaari, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina.
30
Ab'omu Kika kya Zebbulooni, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
31
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Zebbulooni, baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina.
32
Mu basibuka mu Yosefu: ab'omu Kika kya Efurayimu, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
33
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Efurayimu, baali emitwalo ena mu bitaano.
34
Ab'omu Kika kya Manasse, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
35
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Manasse, baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
36
Ab'omu Kika kya Benyamiini, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
37
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Benyamiini, baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina.
38
Ab'omu Kika kya Daani, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
39
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Daani, baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
40
Ab'omu Kika kya Aseri, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
41
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Aseri, baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano.
42
Ab'omu Kika kya Nafutaali, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
43
abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Nafutaali, baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina.
44
Abo be baabalibwa Musa ne Arooni, nga bayambibwako abakulembeze ba Yisirayeli, abasajja ekkumi n'ababiri, buli omu ng'akiikirira ennyumba ya bajjajjaabe.
45
Bwe batyo Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala mu ggye lya Yisirayeli, abaabalibwa okusinziira ku buzaale bwabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe,
46
abo bonna abaabalibwa, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
47
Naye bo Abaleevi, tebaabalibwa wamu na ba bika birala,
48
kubanga Mukama yagamba Musa nti:
49
“Naye ab'omu Kika kya Leevi tobabala, era omuwendo gwabwe togugatta ku gwa Bayisirayeli bannaabwe.
50
Wabula Abaleevi bawe omulimu ogw'okulabiriranga Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'okulabiriranga ebintu byayo byonna, ne byonna ebigigenderako. Banaagisitulanga n'ebintu byayo byonna, era be banaabanga abaweereza baayo, era banaasiisiranga okugyetooloola.
51
Buli lwe munaabanga musengula olusiisira, Abaleevi be banaasimbulanga Weema. Era bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga. Atali Muleevi anaagisembereranga, anattibwanga.
52
Abayisirayeli abalala, banaasimbanga eweema zaabwe, buli omu mu lusiisira lwe, ne mu kibinja kye, awali bbendera ye.
53
Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Weema ey'Okunsisinkanirangamu, ekibiina ky'Abayisirayeli kireme kusunguwalirwa. Era Abaleevi be banaabeeranga n'obuvunaanyizibwa ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.”
54
Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36