bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 32
Numbers 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
1
Ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini. Kale ab'ebika ebyo byombi bwe baalaba ensi y'e Yazeri n'ey'e Gileyaadi, nga nnungi okulundiramu ensolo,
2
ne bajja ne bagamba Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli nti:
3
“Atarooti, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimira, ne Hesubooni, ne Eleyaale, ne Sebamu, ne Nebo, ne Bewoni,
4
ensi Mukama gye yawangula ng'Abayisirayeli bonna balaba, nsi nnungi okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.”
5
Awo ne bagamba nti: “Tukusaba okkirize, ensi eno etuweebwe ffe abaweereza bo, ebe obutaka bwaffe. Totusomosa Mugga Yorudaani.”
6
Musa n'agamba ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni nti: “Baganda bammwe banaagenda okutabaala nga mmwe musigadde wano?
7
Lwaki mwagala okuterebula Abayisirayeli okusomoka okuyingira ensi Mukama gye yabawa?
8
Ekyo bakitammwe nabo kye baakola, bwe nabatuma okuva e Kadesi - Baruneya okuketta ensi.
9
Baagenda ne batuuka mu Kiwonvu eky'Ekirimba, ne balaba ensi, ne baterebula Abayisirayeli, baleme kuyingira nsi Mukama gye yabawa.
10
Mukama n'asunguwala nnyo ku lunaku olwo, n'alayira ng'agamba nti:
11
‘Mazima tewaliba n'omu ku basajja abaava e Misiri, awezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, aliyingira nsi gye nalayirira Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo, kubanga tebanneesiga,
12
okuggyako Kalebu, mutabani wa Yefunne Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Abo be banneesize Nze Mukama.’
13
Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa ab'ezzadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baafa ne baggwaawo.
14
Kale kaakano mmwe muzze mu kifo kya bakitammwe, olulyo lw'abakozi b'ebibi, okwongera okuleetera Mukama okusunguwalira Abayisirayeli.
15
Mmwe bwe munaakyuka ne mumuvaako, ajja kuddamu okuleka abantu bano bonna mu ddungu, mubaleetere okuzikirizibwa.”
16
Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni ne basemberera Musa, ne bamugamba nti: “Ka tusooke tuzimbire ensolo zaffe ebisibo, n'abaana baffe abato ebibuga.
17
Olwo tunaaba beetegefu okukwata ebyokulwanyisa tukulemberemu Bayisirayeli bannaffe, okutuusa lwe tulibatuusa mu kitundu ky'ensi ekyabwe, abaana baffe basigale mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu, olw'okwerinda abantu ababeera mu nsi eno.
18
Tetulikomawo mu maka gaffe, okutuusa nga buli Muyisirayeli munnaffe, amaze okufuna obutaka bwe.
19
Tetuligabana wamu nabo ttaka, ku ludda luli olwa Yorudaani n'okweyongerayo, kubanga omugabo ogwaffe tugufunye ku ludda luno, olw'ebuvanjuba bwa Yorudaani.”
20
Musa n'abagamba nti: “Singa ddala munaakola ekyo, ne mukwata ebyokulwanyisa, ne mugenda okutabaala nga mukulembeddemu Mukama,
21
era mwenna abalina ebyokulwanyisa, bwe munaasomoka Omugga Yorudaani nga mukulembeddemu Mukama, okutuusa lw'alimala okuwangula abalabe be b'ayolekedde,
22
ne yeefuga ensi eyo, olwo mulisobola okudda, ne mutabaako kye muvunaanibwa Mukama ne Bayisirayeli bannammwe. Era Mukama alikakasa ensi eno okuba obutaka bwammwe.
23
Naye bwe mutaakole bwe mutyo, mbalabula nti munaaba mukoze ekibi ne munyiiza Mukama, era mumanye nga mulibonerezebwa olw'ebibi byammwe.
24
Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'endiga zammwe ebisibo, era mutuukirize kye mwetemye okukola.”
25
Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne bagamba Musa nti: “Ssebo, tunaakola nga bw'olagidde.
26
Abaana baffe abato ne bakazi baffe banaasigala eno mu bibuga by'e Gileyaadi, awamu n'amagana gaffe ag'endiga n'embuzi, n'ag'ente.
27
Naye ffe abaweereza bo, tujja kusomoka Omugga Yorudaani, nga buli omu ku ffe alina ebyokulwanyisa, tulwane olutalo nga tuduumirwa Mukama, nga ggwe ssebo bw'oyogedde.”
28
Awo Musa ebikwata ku bo n'abiragira Eleyazaari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli.
29
Musa n'abagamba nti: “Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, bwe balisomoka Omugga Yorudaani nga beetegese okugenda okutabaala nga baduumirwa Mukama, ne musobola okuwangula ensi eyo, kale mulibawa ensi y'e Gileyaadi okuba obutaka bwabwe.
30
Naye bwe batalisomoka nga beetegese okugenda okutabaala, olwo obutaka bwabwe balibufuna wamu nammwe mu nsi y'e Kanaani.”
31
Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne baddamu nti: “Nga Mukama bw'atulagidde ffe abaweereza bo, bwe tutyo bwe tunaakola.
32
Tunaasomoka Omugga Yorudaani nga tuduumirwa Mukama, ne tuyingira ensi y'e Kanaani, nga twetegese okutabaala, tulyoke tufune obutaka bwaffe ku ludda luno olwa Yorudaani.”
33
Awo Musa n'awa ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse mutabani wa Yosefu, ensi eyo yonna obwali obwakabaka bwa Sihoni kabaka w'Abaamori, n'obwali obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byamu, n'ebitundu byonna ebibyetoolodde.
34
Ab'Ekika kya Gaadi ne bazimba ebibuga Diboni, Atarooti, Aroweri,
35
Atarooti-Soofaani, Yazeri, Yogubeha;
36
ne Beeti-Nimira, ne Beeti-Harani, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu. Ne bazimba n'ebisibo by'endiga.
37
Ab'Ekika kya Rewubeeni ne bazimba ebibuga Hesubooni, ne Eleyaale, ne Kiriyatayiimu,
38
ne Nebo, ne Baali-Miyoni nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibuma. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala.
39
Ab'olulyo lwa Makiri mutabani wa Manasse, ne bagenda ne balumba ensi y'e Gileyaadi, ne bagyefuga nga bagobyemu Abaamori abaagirimu.
40
Bw'atyo Musa n'awa ab'olulyo lwa Makiri, mutabani wa Manasse, ensi y'e Gileyaadi, ne babeera omwo.
41
Yayiri ow'omu Kika kya Manasse n'alumba era n'awamba ebimu ku byalo by'Abaamori n'abituuma “Ebyalo bya Yayiri.”
42
Nooba n'alumba era n'awamba Kenaati n'ebyalo byakyo, n'akituuma Nooba, erinnya lye.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36