bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 5
Numbers 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Lagira Abayisirayeli baggyenga mu lusiisira buli alina endwadde y'olususu etiisa, na buli alwadde ekikulukuto, na buli atali mulongoofu olw'okukoona ku kintu ekifudde.
3
Abasajja n'abakazi abali bwe batyo, munaabaggyanga mu lusiisira ne mubafulumya ebweru, baleme kwonoona lusiisira lwe mbeeramu Nze wamu n'abantu bange.”
4
Ekyo Abayisirayeli ne bakikola. Ne bafulumya abaali bwe batyo ebweru w'olusiisira, nga Mukama bwe yalagira Musa.
5
Mukama n'agamba Musa nti:
6
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'akola ekibi ku muntu munne, anyiiza Mukama era omusango guba gumusinze.
7
Anakkirizanga ekibi kye ky'akoze, n'aliwa mu bujjuvu ekintu ky'ayonoonye, n'ayongerako n'ekitundu kyakyo ekimu ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
8
Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa ate nga talina waaluganda lwa kumpi ayinza kuliyirwa, ekiriyibwa olw'omusango kinaaliyirwanga Mukama, ne kiba kya kabona, ne kyongerwako n'endiga ennume okusonyiyisa ebibi by'oyo eyazza omusango.
9
Buli kiweebwayo ekyenjawulo Abayisirayeli kye baleetera Mukama, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza.
10
Buli ekiwongeddwa, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza.’ ”
11
Mukama n'agamba Musa
12
ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Muk'omusajja bw'anaddanga ebbali n'ataba mwesigwa eri bba,
13
omusajja omulala ne yeebaka naye mu kyama, bw'atyo omukazi oyo ne yeeyonoona nga bba tamanyi, era nga tewali mujulirwa amulumiriza, kubanga teyakwatirwa mu kikolwa ekyo,
14
bba n'ajjirwa okuteerera nti mukazi we yeeyonoonye, oba n'amuteerera, kyokka nga teyeeyonoonye,
15
omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona. Era anaamuweerangayo ekitone kya kilo emu ey'obuwunga obwa bbaale. Taabufukengako muzigo gwa mizayiti, wadde okubuteekako obubaane, kubanga ekitone ekyo kye kiweebwayo omusajja ateerera mukazi we ne kiteekebwawo, amazima galyoke geeyoleke.
16
“Kabona anaaleetanga omukazi oyo n'amuyimiriza mu maaso ga alutaari.
17
Kabona anaddiranga amazzi agaweereddwa omukisa, n'agateeka mu kibya. N'atoola ku nfuufu eri wansi mu Weema Entukuvu, n'agiteeka mu mazzi ago, okugafuula agakaawa.
18
N'ataggulula enviiri z'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obuwunga, ekiweereddwayo olw'okumalawo okuteerera. Ye kabona n'akwata mu mukono gwe amazzi agakaawa, agaleeta ekikolimo.
19
Awo kabona anaalayizanga omukazi ng'amugamba nti: Oba nga tewabangawo musajja mulala yeebaka naawe, era oba nga toddangako bbali mu bya bwenzi sso ng'olina balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegaakukoleko kabi.
20
Naye oba nga wadda ebbali sso ng'oli mukazi mufumbo, n'oyenda,
21
olwo kabona anaalaamirizanga omukazi ebigambo eby'ekikolimo ng'agamba nti: Mukama akufuule anaajulirwanga mu bantu bo nga bakolima, bw'anaakonzibya ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo.
22
Amazzi gano agaleeta ekikolimo, gayingire mu byenda byo, gatumbiize olubuto lwo, era gakonzibye ekisambi kyo. “Omukazi anaddangamu nti: ‘Yee, nzikirizza kibe bwe kityo. Yee, nzikirizza kibe bwe kityo.’
23
“Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi gali agakaawa.
24
Kabona anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, amazzi ago ne gayingira mu ye, ne gakaawa.
25
Awo kabona anaggyanga mu ngalo z'omukazi ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke eky'okumalawo okuteerera, n'akitwala ku alutaari.
26
N'atoola ku kyo olubatu, nga ke kabonero k'ekiweebwayo ekyo, n'alwokera ku alutaari. Olwo n'alyoka anywesa omukazi amazzi.
27
Omukazi oyo bw'anaabanga yayonoona n'ataba mwesigwa eri bba, amazzi agaleeta ekikolimo ganaamuleeteranga obulumi, olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikonziba, n'afuuka ekikolimo mu bantu be.
28
Kyokka bw'anaabanga talina musango, taabengako kabi kamutuukako, era anaasobolanga okuzaala abaana.
29
“Eryo lye tteeka erinaakozesebwanga, ng'omukazi omufumbo azze ebbali ne yeeyonoona mu bwenzi,
30
oba ng'omusajja ajjiddwa ebirowoozo, n'ateerera mukazi we obwenzi. Omusajja oyo anaaleetanga mu maaso ga Mukama, omukazi gw'ateerera, kabona n'alyoka akozesa etteeka eryo lyonna.
31
Omusajja oyo taabengako kibi ky'avunaanibwa. Naye omukazi bw'anaabanga yayonoona, anaabonerezebwanga olw'ekibi kye.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36