bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 16
Numbers 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Awo Koora mutabani wa Yizuhaari, Yizuhaari mutabani wa Kohati asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu, ne Oni mutabani wa Peleti, ab'omu Kika kya Rewubeeni,
2
ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abayisirayeli abalala ebikumi bibiri mu ataano, abantu abatutumufu era abakulembeze abaalondebwa mu kibiina.
3
Ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne Arooni, ne babagamba nti: “Muyitirizza okwekuza. Abantu b'Eggwanga lino bonna ba Mukama, era Mukama ali wamu nabo. Kale, lwaki mwegulumiza ku bantu b'Eggwanga lya Mukama?”
4
Awo Musa bwe yakiwulira, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.
5
Awo n'agamba Koora ne banne bonna nti: “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali.
6
Kino kye munaakola: ggwe Koora, ne banno bonna, munaakwata ebyoterezo
7
enkya, ne mubiteekamu omuliro, ne muteekako obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Olwo oyo Mukama gw'analonda, nga ye wuwe. Muyitirizza okwekuza mmwe Abaleevi.”
8
Musa n'agamba Koora nti: “Muwulire mmwe Abaleevi!
9
Mukiyita kitono, Katonda wa Yisirayeli okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abayisirayeli okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza?
10
Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era munoonya n'obwakabona?
11
Mu butuufu, ggwe ne banno bonna, Mukama gwe mujeemedde, kubanga Arooni ye ani, mmwe mulyoke mumwemulugunyize?”
12
Musa n'atumya Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu. Abo b'atumizza ne bagamba nti: “Tetujja kujja.
13
Tekimala okuba nti watuggya mu nsi engimu era engagga, n'otuleeta okututtira mu ddungu? Era oyagala n'okwefuula atufuga?
14
N'ekirala, totutuusizza mu nsi engimu era engagga, wadde okutuwa ebibanja n'ennimiro ez'emizabbibu okuba ezaffe! Kati abantu bano oyagala okubaziba amaaso? Tetujja kujja!”
15
Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti: “Tokkiriza kitone kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkozeeko kabi.”
16
Musa n'agamba Koora nti: “Ggwe ne banno bonna, enkya mujje mu maaso ga Mukama. Ne Arooni ajja kubaayo.
17
Buli omu ku mmwe akwate ekyoterezo kye, akiteekeko obubaane, era buli omu akireete mu maaso ga Mukama, ebyoterezo ebikumi bibiri mu ataano, era naawe ne Arooni, buli omu n'ekyoterezo kye.”
18
Awo buli omu n'akwata ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira wamu ne Musa ne Arooni ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
19
Koora n'akuŋŋaanya ekibiina ky'abantu kyonna, ne kiyimirira nga kitunuulidde Musa ne Arooni ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
20
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
21
“Muve awali abantu bano, bo ndyoke mbazikirize mbagirawo!”
22
Naye Musa ne Arooni ne bagamba nti: “Ayi Katonda, Ggwe osibukamu obulamu bwonna. Omuntu omu ng'akoze ekibi onoosunguwalira abantu bonna?”
23
Mukama n'agamba Musa
24
agambe abantu nti: “Muve okumpi n'eweema eya Koora, n'eya Datani, n'eya Abiraamu.”
25
Musa n'asituka n'agenda ewa Datani ne Abiraamu. Abakulembeze b'Abayisirayeli ne bagenda naye.
26
Musa n'agamba abantu nti: “Mbeegayiridde muve okumpi ne weema z'abantu abo ababi, sikulwa nga muzikirizibwa olw'ebibi byabwe.”
27
Awo abantu ne beesega, ne babeera wala n'eweema ya Koora, n'eya Datani, n'eya Abiraamu ku njuyi zonna. Datani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe, nga bali wamu ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato.
28
Musa n'agamba nti: “Ku kino, kwe munaategeerera nga Mukama ye yantuma okukola emirimu gino gyonna, era nga sigikola nga nzigya mu kutetenkanya kwange.
29
Abantu bano bwe balifa ng'abantu abalala bonna bwe bafa, oba bwe balituukibwako ekitalema kutuuka ku bantu bonna, kale nga Mukama si ye yantuma.
30
Naye Mukama bw'anaakola ekitalabwangako, ettaka ne lyasama ne libamira wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka mu bunnya nga balamu, olwo munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.”
31
Bwe yali amaliriza bw'ati okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka kwe baali ne lyegabanyaamu wabiri,
32
ne libamira awamu n'eby'omu maka gaabwe, n'abagoberezi ba Koora bonna wamu n'ebyabwe byonna.
33
Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne beesolessa mu bunnya nga balamu, ettaka ne libasaanikira, ne basaanawo.
34
Abayisirayeli bonna abaali beetoolodde abantu abo, bwe baawulira ebiwoobe byabwe, ne badduka nga baleekaana nti: “Lekooti, sikulwa nga naffe ettaka litumira!”
35
Mukama n'asindika omuliro, ne gwokya abantu ebikumi ebibiri mu ataano, abaali booteza obubaane.
36
Mukama n'agamba Musa nti:
37
“Gamba Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, aggye ebyoterezo mu bintu ebyokeddwa, kubanga ebyoterezo ebyo bitukuvu, era asaasaanye amanda g'omuliro agabirimu.
38
Ebyoterezo by'aboonoonyi abo abattiddwa olw'ebibi byabwe, bitukuvu, kubanga baabiwaddeyo eri Mukama. Ebyoterezo ebyo, biweesebwemu embaati, zibikkenga ku alutaari, zibeerenga akabonero akalabula Abayisirayeli.”
39
Eleyazaari kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo ebyaweebwayo abo abookeddwa, ne biweesebwamu ekibikka ku alutaari,
40
okujjukizanga Abayisirayeli nti buli muntu atali wa lulyo lwa Arooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koora n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eleyazaari, ng'ayita mu Musa.
41
Ku lunaku olwaddako, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kyemulugunyiza Musa ne Arooni, nga kigamba nti: “Mwasse abantu ba Mukama.”
42
Awo bonna bwe baali nga bakuŋŋaanidde ku Musa ne Arooni, ne bakyuka ne batunula awali Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne balaba ng'ekire kigibisse. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.
43
Musa ne Arooni ne bajja mu maaso ga Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
44
Mukama n'agamba Musa nti:
45
“Muve mu bantu bano, bo ndyoke mbazikirize mbagirawo!” Musa ne Arooni ne beeyala ku ttaka nga beevuunise.
46
Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kwata ekyoterezo kyo, oggye amanda g'omuliro ku alutaari ogateeke mu kyo, oteekeko obubaane, okitwale mangu mu bantu, obasabire ekisonyiwo, kubanga Mukama asunguwadde, kawumpuli atandise.”
47
Arooni n'atwala ekyoterezo kye nga Musa bwe yamulagira, n'adduka n'agenda mu bantu, n'asanga nga kawumpuli atandise mu bantu. N'ateeka obubaane ku kyoterezo, n'asabira abantu ekisonyiwo,
48
nga w'ayimiridde yeetooloddwa abakyali abalamu n'abafudde. Kawumpuli n'akoma.
49
Abo abaafa kawumpuli baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, ng'abo abaafiira mu keediimo ka Koora tobabaliddeemu.
50
Kawumpuli bwe yakomezebwa, Arooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36