bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 13
Numbers 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
1
Awo Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Tuma abantu bagende bakette ensi y'e Kanaani gye mpa Abayisirayeli. Munaatuma omuntu omu okuva mu buli kika, era omuntu oyo nga mukulembeze mu kika kye.”
3
Nga bali mu ddungu ly'e Parani, Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. N'atuma abasajja nga bonna bakulembeze ba bika by'Abayisirayeli.
4
Amannya g'abaatumibwa ge gano: ow'omu Kika kya Rewubeeni, Sammuwa mutabani wa Zakkuri;
5
ow'omu Kika kya Simyoni, Safaati mutabani wa Hoori;
6
ow'omu Kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne;
7
ow'omu Kika kya Yissakaari, Yigali mutabani wa Yosefu;
8
ow'omu Kika kya Efurayimu, Hoseya mutabani wa Nuuni;
9
ow'omu Kika kya Benyamiini, Paluti mutabani wa Raama;
10
ow'omu Kika kya Zebbulooni, Gadiyeeli mutabani wa Soodi;
11
ow'omu Kika kya Yosefu, kye Kika kya Manasse, Gaddi mutabani wa Suusi;
12
ow'omu Kika kya Daani, Ammiyeeli mutabani wa Gemalli;
13
ow'omu Kika kya Aseri, Seturi mutabani wa Mikayeli;
14
ow'omu Kika kya Nafutaali, Nahubi mutabani wa Vofusi;
15
ow'omu Kika kya Gaadi, Geweli mutabani wa Maaki.
16
Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo. Musa n'atuuma Hoseya, mutabani wa Nuuni, erinnya Yoswa.
17
Musa n'abatuma okuketta ensi ye Kanaani. N'abagamba nti: “Mwambuke, muyite mu nsi enkalu, mweyongereyo mu nsozi.
18
Mulabe ensi eyo nga bw'eri, n'abantu abagirimu oba nga bangi, oba nga batono, oba nga ba maanyi, oba nga banafu.
19
Mulabe oba ng'ensi eyo gye balimu nnungi oba nga mbi. Mwetegereze oba nga babeera mu nsiisira, oba mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu.
20
Mwekkaanye oba nga ensi eyo ngimu oba nkalu, oba nga mulimu emiti, oba nga temuli. Era mufube okuleeta ku bibala byamu.” Ekiseera ekyo kyali kya mizabbibu we gisookera okwengera.
21
Ne bambuka ne baketta ensi eyo, okuva ku ddungu ly'e Ziini okutuuka e Rehobu awayingirirwa e Hamati.
22
Ne bambuka ne bayita mu nsi enkalu, ne batuuka mu Heburooni. Eyo nno Abahimani, n'Abasesayi, n'Abatalumayi, bazzukulu ba Anaki gye baali. (Heburooni kyali kimaze emyaka musanvu nga kizimbiddwa, ne Zowani eky'e Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa).
23
Ne batuuka mu Kiwonvu ky'Ekirimba, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'emizabbibu, abantu babiri balamba ne bakireeta nga bakisitulidde ku muti. Ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku bibala by'emitiini.
24
Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya “Ekiwonvu ky'Ekirimba,” olw'ekirimba Abayisirayeli kye baatemayo.
25
Abakessi ne bakomawo nga wayiseewo ennaku amakumi ana, ze baamala nga baketta ensi eyo.
26
Ne bajja eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli e Kadesi mu ddungu ly'e Parani, ne babategeeza bye baalaba, ne babalaga ebibala bye baaleta.
27
Ne battottolera Musa nti: “Twatuuka mu nsi gye watutumamu. Mazima nsi ngimu era ngagga, era bino bye bibala byamu.
28
Naye abantu ababeera mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe binene nnyo era biriko ebigo ebigumu. N'ekirala, twalabayo bazzukulu ba Anaki.
29
Abamaleki be bali mu kitundu ekikalu eky'ensi eyo, Abahiiti n'Abayebusi n'Abaamori, be bali ku nsozi, ate Abakanaani be bali okumpi n'ennyanja, ne ku lubalama lw'Omugga Yorudaani.”
30
Kalebu n'asirisa abantu abaali bakuŋŋaanidde awali Musa, n'agamba nti: “Twambuke awatali kulwa tuwambe ensi eyo, kubanga tusobolera ddala okugiwangula.”
31
Kyokka abantu abaagendayo naye ne bagamba nti: “Tetuyinza kwaŋŋanga kulwanyisa bantu bali, kubanga batusinga nnyo amaanyi.”
32
Ne basaasaanya mu Bayisirayeli ebigambo ebibi eby'obulimba ebifa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta, nsi nkalu, etebaza mmere emala okusobola okubeezaawo abantu abagibeeramu, n'abantu bonna be twalabayo, bantu bawanvu nnyo.
33
Era twalabayo abantu abawagguufu, Abaanaki abasibuka mu Banefiri. Tweraba nga tuli basirikitu nga nseenene, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36