bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 23
Numbers 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 24 →
1
Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano alutaari musanvu, era ondeetere wano ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu.”
2
Balaki n'akola nga Balamu bwe yamugamba. Balaki ne Balamu ne batambira ente ennume emu, n'endiga ennume emu ku buli alutaari.
3
Balamu n'alyoka agamba Balaki nti: “Yimirira okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende ndabe oba nga Mukama anajja okunsisinkana. Era buli ky'anandaga, nnaakikutegeeza.” N'ayambuka yekka ku ntikko y'akasozi, awataali bimera.
4
Katonda n'amusisinkana. Balamu n'agamba Katonda nti: “Ntegese alutaari musanvu, era ku buli emu, ne ntambirirako ente ennume emu n'endiga ennume emu.”
5
Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.”
6
Bw'atyo Balamu n'addayo, n'asanga Balaki ng'ayimiridde okumpi n'ekitambiro ky'awaddeyo ekyokebwa, ng'ali wamu n'abakungu ba Mowaabu bonna.
7
Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Balaki Kabaka wa Mowaabu, yanzigya mu Aramu, mu nsozi z'ebuvanjuba, n'aŋŋamba nti: ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo, jjangu ovumirire Abayisirayeli.’
8
Nnaakolimira ntya oyo, Katonda gw'atakolimidde? Nnaavumirira ntya oyo, Katonda gw'atavumiridde?
9
Mbalabira we ndi ku ntikko z'enjazi, Mbalengerera ku lusozi. Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka, eriteebalira mu mawanga.
10
“Abazzukulu ba Yakobo, bangi nnyo ng'enfuufu. Ayinza okubabala ye ani? Nga kizibu n'okubalako wadde ekyokuna ekimu eky'Abayisirayeli abo! Singa nnyini obulamu bwange buggwaako nga ndi muntu wa Ddunda! Singa n'enkomerero yange eba ng'ey'omutuukirivu!”
11
Balaki n'agamba Balamu nti: “Biki bino by'onkoledde? Nakuleese okolimire abalabe bange, naye ate ggwe ky'okoze, obasabidde mukisa?”
12
Ye n'addamu nti: “Nandiremye okwogera ekyo kyokka Mukama ky'ampadde okwogera?”
13
Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.”
14
N'amutwala mu ttale ly'e Zofiimu, ku ntikko y'Olusozi Pisuga. N'azimbayo alutaari musanvu, n'atambirira ku buli alutaari ente ennume emu, n'endiga ennume emu.
15
Balamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.”
16
Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.”
17
N'addayo, n'asanga Balaki ng'akyayimiridde okumpi n'ekiweebwayo kye ekyokebwa, nga n'abakungu ba Mowaabu bali wamu naye. Balaki n'abuuza Balamu nti: “Mukama agambye ki?”
18
Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Balaki, jjangu owulire, Ntegera okutu ggwe mutabani wa Zippori.
19
“Katonda talimba, naye abantu balimba. Katonda takyuka, naye abantu bakyuka. Ye ky'asuubiza akikola, ky'ayogera akituukiriza.
20
“Katonda andagidde okuwa omukisa. N'olwekyo Katonda bw'awa omukisa, siyinza kugujjulula.
21
Talabye kibi ku ba Yakobo, wadde ekikyamu ku Bayisirayeli. Mukama Katonda waabwe ali nabo. Baatula bw'ali Kabaka waabwe.
22
Ng'embogo bwe yeesiga amayembe gaayo, nabo bwe beesiga Katonda abaggye e Misiri.
23
Tekisoboka okuloga aba Yakobo, wadde okulagula eby'okukola akabi ku Bayisirayeli. Banaayogerwangako nti: ‘Katonda ng'abakoledde!’
24
Yisirayeli lye ggwanga eritaamuuka ng'empologoma enkazi, oba ensajja etebwama kukkalira, okutuusa lw'etuga ky'eyigga, n'enywa omusaayi gw'ekyo ekittiddwa.”
25
Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nga bw'ogaanye okubakolimira, era lema nno n'okubawa omukisa.”
26
Naye Balamu n'addamu Balaki nti: “Saakugambye nti nteekwa okukola byonna Mukama by'anaagamba?”
27
Balaki n'agamba Balamu nti: “Kale jjangu nkwegayiridde, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Mukama anaasiima osinziire eyo okubankolimirira.”
28
Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku Lusozi Pewori, awalengererwa eddungu.
29
Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano alutaari musanvu, era ondeetere wano ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu.”
30
Balaki n'akola nga Balamu bwe yagamba, n'atambira ku buli alutaari ente ennume emu, n'endiga ennume emu.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36