bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 14
Numbers 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 15 →
1
Abakessi ekkumi n'ababiri abaaketta ensi y'e Kanaani bwe baamala okuwa obubaka bwabwe, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kireekaana, abantu ne bakaaba amaziga ekiro ekyo kyonna.
2
Ne beemulugunyiza Musa ne Arooni, ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Singa nno twafiira mu nsi y'e Misiri, oba waakiri mu ddungu muno!
3
Lwaki Mukama atuleeta mu nsi eno? Tujja kuttirwa mu lutalo, bakazi baffe n'abaana baffe abato banyagibwe. Tekyanditusingiddeko obulungi okuddayo e Misiri?”
4
Ne bagambagana nti: “Tulonde omukulembeze, tuddeyo e Misiri.”
5
Awo Musa ne Arooni ne bavuunamira ddala ku ttaka, mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.
6
Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, abaali mu abo abaaketta ensi eyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne beecwacwana,
7
ne bategeeza ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Ensi gye twayitamu ne tugiketta, nsi mpitirivu obulungi.
8
Oba nga Mukama atusiima, ajja kutuyingiza mu nsi eyo engimu era engagga, agituwe.
9
Ekikulu, muleme kujeemera Mukama, wadde okutya abantu abali mu nsi eyo, kubanga kijja kutwanguyira okubawangula, nga bwe twanguyirwa okulya emmere. Bo ekibadde kibakuuma, kimaze okubaggyibwako, naye ffe Mukama ali wamu naffe. N'olwekyo temubatya.”
10
Ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja. Naye mu kaseera ako, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira Abayisirayeli bonna ku Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
11
Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanneesiga, wadde nga nkoze ebyewuunyo ebyo byonna mu bo?
12
Nja kubasindikamu kawumpuli mbazikirize, nsibuse mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo bwe bali.”
13
Naye Musa n'agamba Mukama nti: “Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo,
14
balikibuulira abantu ababeera mu nsi eno. Sso nga bano baamala dda okuwulira nga Ggwe, ayi Mukama, oli wamu n'abantu bano, era nti obalabikira mu lwatu, ekire kyo bwe kiyimirira waggulu ku bo, era ng'obakulembera mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro.
15
Kale bw'onotta abantu bo bano bonna n'obamalawo, ab'amawanga amalala abaawulira ettutumu lyo, baligamba nti:
16
‘Mukama yalemwa okutuusa abantu bano mu nsi gye yabalayirira okubawa, kyeyava abattira mu ddungu.’
17
Kale kaakano nkwegayiridde, ayi Mukama, laga obuyinza bwo obungi, okole kye wasuubiza bwe wagamba nti:
18
‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna olw'ebibi by'abazadde baabwe.’
19
Nkwegayiridde sonyiwa ebibi by'abantu bano olw'okusaasira kwo okungi, era nga bw'obadde obasonyiwa okuva lwe baava mu Misiri n'okutuusa kaakano.”
20
Mukama n'addamu nti: “Mbasonyiye, nga bw'onsabye.
21
Naye mazima ddala, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi yonna bw'ejjula ekitiibwa kyange,
22
kale ku bantu abo abaalaba ekitiibwa kyange n'ebyewuunyo bye nakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bantawaanya emirundi n'emirundi, era ne banjeemera,
23
mazima tewaliba n'omu ku bo, abo abannyooma, aliraba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe.
24
Kyokka omuweereza wange Kalebu, kubanga ye endowooza ye ya njawulo, era annywereddeko n'omutima gwe gwonna, ndimutuusa mu nsi gye yalambula, era ezzadde lye lirigiweebwa.
25
Abamaleki n'Abakanaani nga bwe bali mu kiwonvu, enkya mukyuke mutambule mu ddungu, mu kkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu.”
26
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
27
“Ekibiina kino eky'abantu ababi kirituusa wa okunneemulugunyiza? Nkooye okuwulira okwemulugunya kw'Abayisirayeli kwe banneemulugunyiza.
28
Mubagambe nti: ‘Nze Mukama ndayira nti nga bwe Ndi omulamu, nja kubakolako nga bwe mpulidde ebyo mmwe mwennyini bye mwogedde.
29
Mujja kufa, emirambo gyammwe gigwe mu ddungu muno. Abo bonna mu mmwe, abaabalibwa nga bawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abanneemulugunyizza,
30
mazima tebalituuka mu nsi gye nneerayirira okubawa okubeerangamu, wabula Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, be bokka abaligituukamu.
31
Naye abaana bammwe abato be mugambye nti bajja kunyagibwa, be ndiyingiza mu nsi eyo mmwe gye munyoomye, era be baligyeyagaliramu.
32
Naye mmwe, emirambo gyammwe gya kugwa mu ddungu lino.
33
Abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka amakumi ana, nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo.
34
Mulibonaabona okumala emyaka amakumi ana olw'ebibi byammwe. Buli lunaku ku nnaku amakumi ana ze mwamala nga muketta ensi eyo, mulirusasulamu omwaka mulamba, mulyoke mutegeere nga nabaabulira.
35
Nze Mukama njogedde. Mazima ekyo nja kukikola ku b'Eggwanga lino lyonna ebbi, abakuŋŋaanye okumpakanya. Mu ddungu lino tebalivaamu. Bonna mwe balifiira.’ ”
36
Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama,
37
abantu abo abaayogera ebigambo ebibi eby'obulimba ku nsi eyo, ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama.
38
Naye Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, be baasigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi eyo.
39
Awo Musa n'abuulira Abayisirayeli bonna ebyo Mukama by'agambye. Abantu ne banyolwa nnyo.
40
Enkeera, ne bazuukuka ku makya, ne bagenda okulumba ensi ey'ensozi, nga bagamba nti: “Laba tuutuno twetegese okwambuka okugenda mu kifo Mukama kye yasuubiza. Tutegedde nga twakoze kibi.”
41
Musa n'agamba nti: “Lwaki kaakano mujeemera ekiragiro kya Mukama? Temujja kuwangula.
42
Temugenda, kubanga Mukama tali wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula mmwe.
43
Bwe munaasisinkanirayo n'Abamaleki era n'Abakanaani, mujja kuttirwa mu lutalo. Mukama tajja kuba wamu nammwe, kubanga mwamweggyako, ne mugaana okumugoberera.”
44
Naye bo ne beerema, ne bambuka mu nsi ey'ensozi, newaakubadde ng'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, wadde Musa, teyava mu lusiisira.
45
Awo Abamaleki n'Abakanaani abatuuze b'omu nsi eyo ey'ensozi, ne bakkirira, ne bakuba nnyo Abayisirayeli, ne babawondera okutuusa e Horuma.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36