bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 4
Numbers 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
2
“Mubale abasajja Abaleevi ab'olulyo lwa Kohati, nga mugoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe.
3
Mubale okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu n'okusingawo, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli asobola okukola omulimu ogw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu.
4
Omulimu Abakohati gwe banaakolanga mu Weema eyo, gwe gw'okulabiriranga ebintu ebitukuvu ennyo.
5
“Ab'omu lusiisira bwe banaabanga banaatera okutandika olugendo, Arooni ne batabani be banaayingiranga mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, ne bawanulayo olutimbe olutimbibwa mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne balubikka ku yo.
6
Ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne baaliirira okwo olugoye olwa bbululu omwereere, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
7
“Ne ku mmeeza ey'emigaati egiweebwayo eri Katonda, banaayaliirirangako olugoye olwa bbululu, ne bateekako essowaani n'ebijiiko, n'ebbakuli, n'ebikopo eby'ekiweebwayo ekinywebwa. Era olubeerera, ku mmeeza kunaabeerangako emigaati egiweebwayo eri Katonda.
8
Ebyo banaabyaliirirangako olugoye olumyufu, ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, olwo emmeeza ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
9
“Ne baddira olugoye olwa bbululu, ne basabika ekikondo ky'ettaala, n'ettaala zaakyo, ne makansi zaakyo, n'ensaniya zaakyo ez'evvu, ne byonna ebiteekebwamu amafuta agakozesebwa mu kyo.
10
Ne bakisiba n'ebintu byakyo byonna mu kisabika eky'amaliba amagonvu, ne bakiteeka ku miti kwe kisitulirwa.
11
“Ne ku alutaari eya zaabu, banaayaliirirangako olugoye olwa bbululu, ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
12
Ne baddira ebintu byonna ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, ne babisiba mu lugoye olwa bbululu, ne babiteekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne babiteeka ku lubaawo kwe bisitulirwa.
13
Ne baggya evvu ku alutaari, ne bagyaliirirako olugoye olwa kakobe,
14
ne bagiteekako ebintu byayo byonna ebikozesebwa ku yo: ensaniya ezinyookezebwako obubaane, ffooka ez'okukwasa ennyama, ebitiiyo eby'okuyooza evvu, n'ekkalaayi ezikozesebwa mu kumansira. Ebintu bya alutaari ebyo byonna ne babiteekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
15
Awo Arooni ne batabani be bwe banaamalirizanga okusabika buli kintu ekitukuvu ne byonna ebikigenderako, ab'omu lusiisira nga banaatera okutandika olugendo, Abakohati ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebaakwatenga butereevu ku bitukuvu, sikulwa nga bafa. Ebyo bye bintu eby'omu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, Abakohati bye banaasitulanga.
16
Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, ye anaabanga n'omulimu ogw'okulabirira amafuta ag'ettaala, n'obubaane obuwunya akaloosa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekitabulawo, n'omuzigo ogufukibwa ku bantu ne ku bintu. Era ye anaalabiriranga Eweema yonna, n'ebigirimu byonna, Ekifo Ekitukuvu n'ebintu byamu byonna.”
17
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
18
“Temuleetera lulyo lwa Bakohati kusaanawo mu Baleevi.
19
Naye kino kye muba mubakolera balemenga kufa, bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo: Arooni ne batabani be, be banaayingiranga ne bawa buli muntu omulimu gw'anaakola, n'ekintu ky'anaasitula.
20
Naye Abakohati tebagezanga ne bayingira okutunuulira obutereevu ku bitukuvu wadde akaseera akatono, baleme kufa.”
21
Mukama n'agamba Musa nti:
22
“Bala abasajja ab'olulyo lwa Gerusooni, ng'ogoberera ennyumba za bajjajjaabwe n'ensibuko zaabwe.
23
Abasajja abawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, b'oba obala, buli asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu.
24
“Guno gwe mulimu Abagerusooni gwe banaakolanga:
25
banaasitulanga entimbe z'Eweema Entukuvu, n'Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'ekigibikkako ekyomunda, n'ekigibikkako ekyokungulu eky'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango oguyingira mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu,
26
n'entimbe ez'oluggya, n'olutimbe olw'omu mulyango oguyingira mu luggya olwetooloola Eweema Entukuvu ne alutaari enjuyi zonna, n'emiguwa, ne byonna ebikozesebwa ku ntimbe ezo. Banaakolanga emirimu gyonna egyetaaga okukolebwa ku bintu ebyo.
27
Arooni ne batabani be, be banaalaganga Abagerusooni emirimu gyonna gye bateekwa okukola, oba gya kusitula migugu, oba gya buweereza bulala. Byonna eby'okusitula mmwe munaabibakwasanga.
28
Egyo gye mirimu ab'olulyo lwa Gerusooni gye banaakolanga mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaagikolanga nga balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona.
29
“Ab'olulyo lwa Merari nabo onoobabala ng'ogoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe.
30
Abawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, b'oba obala, buli asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu.
31
Omulimu gwabwe mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, gunaabanga gwa kusitula mbaawo z'Eweema Entukuvu, n'emikiikiro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo,
32
n'empagi z'oluggya olwetooloola Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu ne byonna ebikozesebwa ku bintu ebyo. Munaawandiikanga amannya gaabwe okulaga buli omu ekintu ky'aweereddwa okusitula.
33
Egyo gye mirimu ab'olulyo lwa Merari gye banaakolanga, nga baweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaagikolanga nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona.”
34
Awo Musa ne Arooni n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli, ne babala abasajja ab'omu lulyo lwa Kohati, nga bagoberera ensibuko z'Abakohati abo, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
35
okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
36
Abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano.
37
Abo be b'omu lulyo lwa Kohati bonna, abaakolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
38
N'abasajja ab'omu lulyo lwa Gerusooni, abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
39
okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama,
40
abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu.
41
Abo be b'omu lulyo lwa Gerusooni bonna, abaakolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira Musa.
42
N'abasajja ab'omu lulyo lwa Merari abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
43
okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama,
44
abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaaabwe, baali enkumi bbiri mu bibiri.
45
Abo be b'omu lulyo lwa Merari, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
46
Abo be Baleevi bonna, Musa ne Arooni n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli be baabala, nga bagoberera ensibuko z'Abaleevi abo, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
47
okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza, n'ogw'okusitula emigugu mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
48
Abo abaabalibwa baali kanaana mu bitaano mu kinaana.
49
Nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa, buli musajja yabalibwa, n'aweebwa omulimu ogw'okukola, oba omugugu ogw'okusitula. Bwe batyo bwe baabalibwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36